YISAAYA 2
2
Emirembe egy'olubeerera
(Laba ne Mi 4:1-3)
1Buno bwe bubaka Katonda bwe yawa Yisaaya mutabani wa Amozi, obufa ku Ggwanga lya Bayudaaya, ne ku Kibuga Yerusaalemu.
2Mu biseera eby'oluvannyuma,
olusozi okuli Essinzizo
lulifuulibwa olusinga zonna obugulumivu,
ne lusoolooba ku busozi bwonna,
era amawanga galikuluumulukukira ku lwo.
3Abantu bangi balijja ne bagamba nti:
“Mujje twambuke ku lusozi lwa Mukama,
mu Ssinzizo lya Katonda wa Yakobo,
atuyigirize empisa z'ayagala tubeere nazo;
naffe tunaayisanga nga bw'ayagala,
kubanga Mukama ayigiriza
ng'asinziira ku Lusozi Siyooni,
era amateeka ge agaweera mu Yerusaalemu.”
4Aliramula amawanga,
abantu bangi n'abatabaganya.
Ebibadde ebyokulwanyisa byabwe
balibiweesa, ne babifuula
ebintu ebirala:
ebibadde ebitala byabwe,
balibiweesa, ne babifuula enkumbi,
n'amafumu gaabwe
ne bagafuula ebiwabyo.
Tewaliba ggwanga likwata byakulwanyisa
kulumba ggwanga linnaalyo,
era tewaliba nate kutendekebwa mu bya ntalo.#Laba ne Yol 3:10; Mi 4:3
5Kale, mmwe bazzukulu ba Yakobo,
mujje tutambulire
mu kitangaala kya Mukama.
Okwekuluntaza kujja kuzikirizibwa
6Ayi Katonda, oyabulidde abantu bo, bazzukulu ba Yakobo, kubanga ensi yaabwe yonna bagijjuzizza eby'obulogo ebiva ebuvanjuba, era bafuuse balaguzi ng'Abafilistiya, era bassa kimu n'abagwira. 7Ensi yaabwe ejjudde ffeeza ne zaabu, era obugagga bwabwe tebuliiko kkomo. Ensi yaabwe ejjudde embalaasi, n'amagaali#2:7 Embalaasi ennyingi n'amagaali: Laba ne Ma 17:18 gaabwe nago tegaliiko kkomo.
8Ensi yaabwe ejjudde ebifaananyi bya balubaale, abantu basinza ebyo, bo bennyini bye bakoze n'emikono gyabwe, 9omuntu owaabulijjo n'avuunama, n'omukungu ne yeetoowaza. N'olwekyo, Ayi Mukama tobasonyiwa n'akatono.
10Mudduke muyingire mu mpuku z'omu njazi, mwekweke mu nfuufu, nga mudduka Mukama ow'entiisa, era oweekitiibwa n'obuyinza.#Laba ne Kub 6:15; 2 Bat 1:9 11Olunaku lujja kutuuka, okwekuluntaza kw'abantu lwe kulimalibwawo, n'okwegulumiza kwabwe lwe kulizikirizibwa. Okuva olwo, Mukama yekka ye aligulumizibwa, 12kubanga walibaawo olunaku, Mukama Nnannyinimagye kw'alitoowaliza bonna abeekuza ne beewanika, na buli eyeekulumbaza ne yeegulumiza. 13Mukama alizikiriza emiti gyonna emiwanvu egy'omu Lebanooni, n'emivule gyonna egy'e Basani. 14Aliseeteeza ensozi zonna empanvu, n'obusozi bwonna obugulumivu, 15buli munaala omuwanvu, na buli kisenge eky'ekigo ekigumu. 16Alibbika mu nnyanja emmeeri zonna ez'e Tarusiisi, n'azikiriza byonna ebyakolebwa, ebisanyusa okulaba. 17Okugulumizibwa kw'abantu kulitoowazibwa, n'okwekulumbaza kwabwe kwonna kulimenyebwa. Ku lunaku olwo, Mukama yekka ye aligulumizibwa. 18N'ebifaananyi byonna bye basinza, biriggweerawo ddala.
19Abantu baliyingira mu mpuku ez'omu njazi, ne mu bunnya obusime mu ttaka, okwekweka Mukama ow'entiisa era n'ekitiibwa n'obuyinza, bw'alyesowolayo okukuba ensi entiisa. 20Olunaku olwo bwe lulituuka, abantu balisuula eri ebifaananyi bye basinza, ebikole mu zaabu ne mu ffeeza, era balibirekera mmese na buwundo, 21ne bayingira mu mpuku ez'omu njazi, ne mu mpompogoma z'amayinja agaayatika, okwekweka Mukama ow'entiisa era oweekitiibwa n'obuyinza, bw'alyesowolayo okukuba ensi entiisa.
22Mulemenga kwesiga bantu. Okuggyako okussiza mu nnyindo, kiki eky'omuwendo kye balina?
Currently Selected:
YISAAYA 2: LBwD03
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.