Bible App logo
Search Icon

HOSEYA 3

3
Hoseya n'omukazi atali mwesigwa
1Mukama n'aŋŋamba nti: “Genda nate, oyagale omukazi omwenzi alina muganzi we, omwagale nga nze bwe njagala Abayisirayeli, newaakubadde nga bakyukira balubaale, ne baagala obugaati#3:1 obugaati: Obwo bwakozesebwanga mu mikolo egy'okusinza balubaale, abaalowoozebwanga okuyamba abalimi okubaza ennyo ebirime byabwe obukoleddwa mu mizabbibu emikalu.”
2Kale namugula ebitundu bya ffeeza kkumi na bitaano ne kilo kikumi mu ataano eza bbaale. 3Ne mmugamba nti: “Oteekwa okubeera awo ng'oli wange, okumala ekiseera kiwanvu, nga teweefuula malaaya wadde okuba n'omusajja omulala. Nange bwe ndyekuuma bwe ntyo ku lulwo.” 4Kubanga Abayisirayeli balimala ekiseera kiwanvu nga tebalina kabaka wadde omukulembeze, nga tebalina kitambiro wadde empagi entukuvu, nga tebalina bifaananyi#3:4 bifaananyi: “Bifaananyi…ab'omu maka” mu Lwebureeyi “Ephod” ne “Teraphim”. bikozesebwa mu kulagula, wadde balubaale ab'omu maka. 5Naye oluvannyuma Abayisirayeli balikyuka ne badda eri Mukama Katonda waabwe. Era mu nnaku ez'oluvannyuma, balijja eri Mukama nga batya, ne bafuna ebirungi, Dawudi Kabaka waabwe by'agaba.

Currently Selected:

HOSEYA 3: LBwD03

Highlight

Copy

Compare

Share

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in