HOSEYA 2
2
1Kale mugambe baganda bammwe nti: “Bantu bange”, ne bannyinammwe nti: “Mbakwatirwa ekisa.”
Omukazi atali mwesigwa
2Mwegayirire nnyammwe, wadde nga takyali mukazi wange, era nga nange sikyali bba, mumwegayirire alekeyo obwenzi bwe n'obukaba bwe, 3nneme okumwambula, okumuleka obwereere nga bwe yali ku lunaku lwe yazaalirwako, ne mmufuula ng'ensi enkalu ey'eddungu, ne mmussa ennyonta. 4Abaana be siribakwatirwa kisa, kubanga nnyaabwe mwenzi. 5Nnyaabwe oyo omwenzi eyawemuka, yagamba nti: “Ndigenda eri baganzi bange abampa emmere n'amazzi, engoye ez'ebyoya by'endiga n'ez'enjaaye, omuzigo n'ebyokunywa.”
6Kale ekkubo lye, ndiriteekamu amaggwa ne ndiziba, era ndikola olukomera abulwe w'ayita. 7Aligoberera baganzi be, naye talibatuukako. Alibanoonya, naye talibazuula. Olwo aligamba nti: “Nja kuddayo ewa baze eyasooka, kubanga luli nali bulungi okusinga bwe ndi kaakano.”
8Teyamanya nga nze namuwanga eŋŋaano n'omwenge n'omuzigo, era nga nze namuwanga ffeeza ne zaabu bye yawangayo mu kusinza Baali. 9Kyendiva mmuggyako eŋŋaano yange n'omwenge mu kiseera eky'amakungula, era ne mmuggyako n'engoye ez'ebyoya by'endiga, n'ez'enjaaye ze namuwa okwambala. 10Ndimwambula n'asigala bwereere mu maaso ga baganzi be, era tewaliba amuggya mu buyinza bwange kumuwonya. 11Ndikomya ennaku ze enkulu n'embaga ze eza buli mwezi n'eza buli mwaka, n'okukuza Sabbaato n'enkuŋŋaana ze zonna ez'eddiini. 12Ndizikiriza emizabbibu gye n'emitiini gye, gye yayogerako nti: “Gino ye mpeera yange, baganzi bange gye bampadde.” Ndigizisa, era ensolo ez'omu ttale zirigirya. 13Ndimubonereza olw'ekiseera kye yamala ng'anneerabidde, ng'ayotereza Baali obubaane era nga yeewoomya n'empeta ez'omu matu n'ebyobuyonjo, n'agenda ne baganzi be. Mukama ye ayogedde.
Mukama ayagala abantu be
14Kale ndimusendasenda ne mmutwala mu ddungu, ne mmugamba ebigambo ebisanyusa. 15Era nga tuli eyo, ndimuddiza ennimiro ze ez'emizabbibu. Ekiwonvu eky'Emitawaana ndikifuula oluggi olw'okusuubira. Era nga tuli eyo, aliddamu okumpulira nga bwe yakolanga mu nnaku ez'omu buvubuka bwe, mu kiseera kye yaviiramu e Misiri.#Laba ne Yos 7:24-26 16Mu biro ebyo alimpita bba#2:16 bba: Mu Lwebureeyi ebigambo “Ish” ne “Ba'al” bitegeeza “Bba” w'omukazi. Naye “Ish” kye kiragira omukwano n'obumu wakati w'omusajja (ish) n'omukazi (ishsha). Laba n'Entandikwa 2:23; 3:6,16. “Ba'al” ye musajja alina obuyinza ku mukazi we n'obwannannyini mu mateeka. “Baal” ye mukama w'omuntu amufuga era lye linnya lya balubaale b'e Kanaani., nga takyampita mukama we, 17kubanga ndiba sikyamukkiriza kwogera wadde okwatula erinnya Baali.
18Mu nnaku ezo ndikola endagaano n'ensolo ez'omu ttale n'ebinyonyi era n'ebyewalula, biremenga kukola kabi ku bantu bange. Era ndiggyawo omutego gw'obusaale n'ekitala n'ebyokulwanyisa ebirala byonna mu nsi, ne mbaleka mubeere mirembe. 19Ndikuwasa ggwe Yisirayeli, n'oba mukazi wange ennaku zonna. Ndikulokola ne mba mwenkanya gy'oli. Ndikulaga ekisa ne nkusaasira. 20Ndiba mwesigwa gy'oli era olimmanya nga nze Mukama. 21Mu biro ebyo nditonnyesa enkuba ku nsi, 22era n'ensi eribaza eŋŋaano n'emizabbibu n'emizayiti. Ndyanukula okusaba kwa Yezireeli.#2:22 Yezireeli: Mu Lwebureeyi “Yezreel” kitegeeza “Katonda asiga”, era kireeta okulowooza ku kukulaakulana n'okuba obulungi. 23Nditeeka Abayisirayeli mu nsi eno, era ndisaasira abo abaali batasaasirwa, era abo abaayitibwanga “Abatali bange” ndibagamba nti: “Muli bantu bange”. Nabo baligamba nti: “Oli Katonda waffe.”#Laba ne Bar 9:25; 1 Peet 2:10
Currently Selected:
HOSEYA 2: LBwD03
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.