ABAGALATIYA 4
4
1Naye ŋŋamba nti omusika bw'aba ng'akyali mwana muto, tayawulwa na muddu, newaakubadde nga byonna ye nnyinibyo. 2Aba mu mikono gya bakuza be, okutuusa ekiseera kitaawe kye yalagira lwe kiggwaako. 3Bwe tutyo naffe, bwe twali tukyali bato mu by'omwoyo, twali baddu abafugibwa emisambwa egy'oku nsi kuno. 4Naye ekiseera bwe kyatuuka, Katonda n'atuma Omwana we n'azaalibwa omukazi, era n'afugibwa Amateeka 5anunule abo abafugibwa Amateeka, tulyoke tufuuke abaana ba Katonda.#Laba ne Bar 8:15-17
6Era olw'okuba abaana ba Katonda, Katonda kyeyava atuma Mwoyo w'Omwana we, mu mitima gyaffe. Mwoyo oyo akoowoola nti: “Aba”, ekitegeeza nti “Kitaffe”! 7Kale kaakano tokyali muddu, wabula oli mwana, era oba ng'oli mwana, Katonda alikuwa ebyo by'awa abaana be.
Pawulo n'ab'e Galatiya
8Edda mwali temumanyi Katonda, n'olwekyo mwali baddu b'ebyo ebitali Katonda. 9Naye kaakano nga bwe mumanyi Katonda, oba ka ŋŋambe nti nga bwe mumanyiddwa Katonda, muyinza mutya okuddayo emabega eri obuyinza bw'emisambwa eminafu era egitagasa? Era mwagala giddemu okubafuga? 10Mukuza ennaku, n'emyezi, n'ebiro, era n'emyaka. 11Ntya nti sikulwa ng'okutegana kwange mu mmwe kufa bwereere.
12Abooluganda, mbeegayirira mubeere nga nze, kubanga nange nafuuka nga mmwe. Temulina kabi ke mwankola. 13Mumanyi nga nze okulwala kye kyanfunyisa omukisa ne mbategeeza mmwe Amawulire Amalungi omulundi ogwasooka. 14Era newaakubadde nga nabakaluubirira olw'obulwadde bwange, naye temwannyooma, wadde okunneekanasa, wabula mwannyaniriza nga bwe mwandyanirizza malayika wa Katonda, nga bwe mwandyanirizza Kristo Yesu. 15Kale essanyu lyammwe eryo lyadda wa? Nze kennyini nnyinza n'okuboogerako nti singa kyali kiyinzika, mwandiggyeemu amaaso gammwe ne mugampa. 16Kaakano nfuuse mulabe wammwe olw'okubategeeza amazima?
17Abo abalabika ng'ababalumirwa, ebigendererwa byabwe si birungi. Kye baagala kwe kubaggya ku nze, mudde ku luuyi lwabwe. 18Naye kirungi okulumirwa abantu, bwe kiba ng'ekigendererwa kirungi. Ekyo kya mazima bulijjo, sso si lwe mba nammwe lwokka. 19Baana bange abaagalwa, ng'omukazi bw'alumwa ng'azaala, nange bwe nnumwa bwe ntyo ku lwammwe, okutuusa Kristo lw'alibumbibwa mu mmwe. 20Singa ndi nammwe kaakano, nandimanye kye nsaanye okwogera, kubanga ndi mweraliikirivu nnyo ku lwammwe.
Ekyokulabirako ekya Hagari ne Saara
21Mumbuulire mmwe abaagala okufugibwa Amateeka. Temuwulira Mateeka kye gagamba? 22Kyawandiikibwa nti Aburahamu yalina abaana babiri: omu yamuzaala mu muzaana, omulala mu wa ddembe.#Laba ne Nta 16:15; 21:2 23Ow'omuzaana yazaalibwa mu ngeri ya bulijjo. Kyokka ye ow'ow'eddembe yazaalibwa lwa kusuubiza kwa Katonda. 24Ebyo biri nga lugero: abakazi abo ababiri z'Endagaano bbiri. Emu yakolerwa ku lusozi Sinaayi, ye azaala abaana ab'omuddu. Endagaano eyo ye Hagari. 25Hagari oyo lwe Lusozi Sinaayi, oluli mu Buwarabu; afaanaanyirizibwa ne Yerusaalemu ekiriwo kaakano, kubanga kyo n'abantu baakyo bali mu buddu. 26Naye Yerusaalemu eky'omu ggulu kya ddembe, era kyo ye nnyaffe. 27Kyawandiikibwa nti:
“Sanyuka ggwe omugumba atazaala:
leekaana nnyo ggwe atalumwanga kuzaala,
kubanga omukazi eyalekebwawo,
alina abaana bangi
okusinga oyo ali ne bba.”#Laba ne Yis 54:1
28Kale mmwe, abooluganda, muli baana abaazaalibwa olw'okusuubiza kwa Katonda, nga Yisaaka bwe yali. 29Era okufaanana nga bwe kyali mu kiseera kiri, oyo eyazaalibwa mu ngeri eyaabulijjo, bwe yayigganya eyazaalibwa olwa Mwoyo wa Katonda, ne kaakano bwe kiri.#Laba ne Nta 21:9 30Naye ekyawandiikibwa kigamba kitya? Kigamba nti: “Goba omuzaana n'omwana we, kubanga omwana w'omuzaana talisikira wamu n'ow'ow'eddembe.”#Laba ne Nta 21:10 31Kale, abooluganda, ffe tetuli baana ba muzaana, wabula ba wa ddembe.
Currently Selected:
ABAGALATIYA 4: LBwD03
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.

: