ABAGALATIYA 3
3
Mateeka oba kukkiriza
1Mmwe ab'e Galatiya ababuyabuya, ani yabaloga? Mwannyonnyolwa bulungi, ne mulaba Yesu Kristo nga bwe yakomererwa ku musaalaba. 2Kino kyokka kye njagala muntegeeze: mwafuna Mwoyo Mutuukirivu lwa kubanga mwatuukiriza ebyo Amateeka bwe galagira, oba lwa kuwulira na kukkiriza Amawulire Amalungi? 3Bwe mutyo temulina magezi? Mmwe abaatandika n'amaanyi aga Mwoyo Mutuukirivu, ate kaakano mwagala mumalirize n'amaanyi agammwe ku bwammwe? 4Ebyo bye mwabonaabonamu bya bwereere? Ddala si bya bwereere. 5Katonda abawa Mwoyo we, era akola ebyamagero mu mmwe, lwa kubanga mutuukiriza ebyo Amateeka bye galagira, oba lwa kubanga mwawulira ne mukkiriza Amawulire Amalungi?
6Mulowooze ku byatuuka ku jjajjaffe Aburahamu. Ekyawandiikibwa kigamba nti: “Aburahamu yakkiriza Katonda, n'abalibwa okuba omutuukirivu.”#Laba ne Nta 15:6; Bar 4:3 7Kale mutegeere nti abalina okukkiriza, be bazzukulu ba Aburahamu.#Laba ne Bar 4:16 8Olw'okulengera ebiri mu maaso nti Katonda aliwa ab'amawanga amalala obutuukirivu olw'okukkiriza kwabwe, ekyawandiikibwa kyekyava kitegeeza edda Aburahamu Amawulire Amalungi nti: “Mu ggwe amawanga gonna mwe galiweerwa omukisa.”#Laba ne Nta 12:3 9Bwe kityo abo bonna abalina okukkiriza, baweebwa omukisa nga Aburahamu eyalina okukkiriza bwe yaguweebwa.
10Abo abeesigama ku kutuukiriza ebyo Amateeka bye galagira, bakolimiddwa, kubanga kyawandiikibwa nti: “Buli ataatuukirizenga byonna ebyawandiikibwa mu kitabo ky'Amateeka, akolimiddwa.”#Laba ne Ma 27:26 11Kimanyiddwa nti tewali n'omu aba mutuukirivu lwa kutuukiriza ebyo Amateeka bye galagira, kubanga, “Omutuukirivu anaabanga mulamu lwa kukkiriza.”#Laba ne Hab 2:4 12Naye Amateeka, go tegeesigama ku kukkiriza. Kale, ekyawandiikibwa kigamba nti: “Buli atuukiriza ebyo Amateeka bye galagira, anaabanga mulamu mu go.”#Laba ne Leev 18:5
13Naye ffe Kristo yatununula, n'atuggya mu kikoligo ekireetebwa Amateeka, bwe yafuuka ekikolimo ku lwaffe. Ekyawandiikibwa kigamba nti: “Buli awanikibwa ku muti, akolimiddwa.”#Laba ne Ma 21:23 14Kristo yessaako ekikolimo ekyo, omukisa Katonda gwe yasuubiza Aburahamu gulyoke guweebwe n'ab'amawanga amalala olwa Kristo Yesu, era olw'okukkiriza, tulyoke tufune Mwoyo Mutuukirivu eyasuubizibwa.
Amateeka tegadibya byasuubizibwa
15Abooluganda, ne mu nkola ey'abantu eya bulijjo, omuntu bw'amala okukola endagaano n'enywera, tewali n'omu akkirizibwa kugiggyawo oba okugyongerako. 16Ebyo ebyasuubizibwa, byasuubizibwa Aburahamu ne muzzukulu we. Ekyawandiikibwa tekigamba nti: “Ne bazzukulu be,” ng'abangi, wabula kigamba nti “Ne muzzukulu we,” ng'ali omu, ye Kristo.#Laba ne Nta 12:7 17Kye ŋŋamba kye kino nti Amateeka agajja nga wayiseewo emyaka ebikumi bina mu asatu, tegaggyaawo ndagaano eyanywezebwa Katonda, era tegadibya ekyasuubizibwa.#Laba ne Kuv 12:40 18Kale oba nga Katonda ky'awa kyesigama ku Mateeka, olwo kiba tekikyesigamye ku kusuubiza kwe; naye Katonda yakiwa Aburahamu kubanga yakimusuubiza.#Laba ne Bar 4:14
19Kale Amateeka gaateekebwawo lwaki? Gaateekebwawo, okwonoona kulyoke kumanyike, era gaali ga kubeerawo okutuusa ku kujja kwa muzzukulu wa Aburahamu eyasuubizibwa. Go Amateeka gaaleetebwa bamalayika, nga gayita ku mutabaganya. 20Kyokka omutabaganya abaawo nga waliwo enjuyi bbiri. Naye Katonda ali omu.
Ekigendererwa mu Mateeka
21Kale Amateeka galwanagana n'ebyo Katonda bye yasuubiza? Nedda, tekisoboka. Singa gaateekebwawo nga ge gayinza okuleeta obulamu, olwo abantu bandibadde batuukirivu olw'okutuukiriza ebyo bye galagira. 22Naye ekyawandiikibwa kigamba nti ekibi kifuga byonna, ekyasuubizibwa kiryoke kiweebwe abo abakkiriza, nga kibaweebwa olw'okukkiriza Yesu Kristo.
23Okukkiriza bwe kwali tekunnajja, Amateeka gaatukuumanga nga tuli basibe, okutuusa okukkiriza lwe kwalagibwa. 24Kale Amateeka gaatukuuma okutuusa Kristo lwe yajja, tulyoke tube batuukirivu olw'okukkiriza. 25Naye kaakano okukkiriza nga bwe kwajja, tetukyafugibwa mukuumi.
26Olw'okukkiriza, mwenna muli baana ba Katonda mu Kristo Yesu, 27kubanga mmwe mwenna ababatizibwa mu Kristo, mwayambala Kristo. 28Tewakyali njawulo wakati w'Omuyudaaya n'ow'eggwanga eddala, wakati w'omuddu n'ow'eddembe, wakati w'omusajja n'omukazi. Mwenna muli omu mu Kristo Yesu. 29Kale nga bwe muli aba Kristo, muli bazzukulu ba Aburahamu, era mulifuna ekyo Katonda kye yasuubiza.#Laba ne Bar 4:13
Currently Selected:
ABAGALATIYA 3: LBwD03
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.

: