ABAGALATIYA 2:15-16
ABAGALATIYA 2:15-16 LBWD03
Ffe twazaalibwa nga tuli Bayudaaya, nga tetuli “Ba mawanga malala aboonoonyi,” nga bo bwe bayitibwa. Naye tumanyi nti omuntu aba omutuukirivu lwa kukkiriza Yesu Kristo, sso si lwa kutuukiriza ebyo Amateeka bye galagira. Naffe twakkiriza Yesu Kristo tulyoke tube abatuukirivu olw'okukkiriza Kristo, naye si lwa kutuukiriza ebyo Amateeka bye galagira, kubanga tewali n'omu ayinza kufuuka mutuukirivu olw'okutuukiriza ebyo Amateeka bye galagira.





