ESITEERI 5
5
Ebijjulo bya Esiteeri
1Ku lunaku olwokusatu, Esiteeri n'ayambala ebyambalo bye eby'Obwannaabagereka, n'agenda n'ayimirira mu luggya olwomunda olw'olubiri lwa kabaka, ng'atunuulidde ennyumba ya kabaka. Kabaka yali atudde ku ntebe ye ey'obwakabaka mu lubiri, ng'atunudde eri omulyango gw'olubiri. 2Kabaka bwe yalaba Nnaabagereka Esiteeri ng'ayimiridde wabweru, n'amusanyukira, n'amugololera omuggo gwe ogwa zaabu gwe yali akutte. Esiteeri n'asembera awali kabaka n'akwata ku musa gw'omuggo gwa kabaka. 3Awo kabaka n'amugamba nti: “Nnaabagereka Esiteeri, kiki ky'oyagala? Era kiki ky'osaba? Kijja kukuweebwa, ne bwe kinaaba ekimu ekyokubiri eky'obwakabaka.”
4Esiteeri n'amuddamu nti: “Singa osiima, ayi Ssaabasajja, kkiriza okujja ne Hamani olwaleero ku kijjulo kye nkufumbidde.”
5Kabaka n'agamba nti: “Mwanguye Hamani, tukole nga Esiteeri bw'agambye.” Awo kabaka ne Hamani ne bagenda ku kijjulo Esiteeri kye yali afumbye. 6Bwe baali banywa omwenge, kabaka n'agamba Esiteeri nti: “Kiki ky'osaba? Kijja kukuweebwa. Era kiki ky'oyagala? Kijja kutuukirizibwa, ne bwe kinaaba ekimu ekyokubiri eky'obwakabaka.”
7Esiteeri n'addamu nti: “Kye njagala era kye nsaba kye kino: 8bw'oba ng'onkwatiddwa ekisa, ayi Ssaabasajja, era oba ng'osiima okumpa kye njagala, n'okutuukiriza kye nsaba, ayi Ssaabasajja, kale kkiriza ggwe ne Hamani okujja enkya ku kijjulo kye nnaabafumbira. Olwo enkya lwe nnaakola nga bw'ogambye, ayi Ssaabasajja.”
Hamani akola olukwe okutta Moruddekaayi
9Hamani n'ava ku kijjulo nga musanyufu era ng'ajaguza mu mutima gwe. Naye bwe yasanga Moruddekaayi ng'ali ku mulyango gw'olubiri, n'atayimuka wadde okulaga akabonero konna akamussaamu ekitiibwa ng'ayitawo, Hamani n'amusunguwalira nnyo. 10Kyokka n'afuga obusungu bwe, n'addayo eka. Awo n'ayita mikwano gye ne bajja mu nnyumba ye, n'agamba ne mukyala we Zeresi okubeegattako. 11Hamani n'abeenyumiririzaako olw'obugagga bwe, n'abaana ab'obulenzi b'alina, n'engeri kabaka gye yali amukuzizzaamu, okumuwa ekifo ekikulu, ekimufudde omuntu omukulu okusinga abakungu abalala bonna. 12Ne yeeyongera okubagamba nti: “N'ekisinga byonna, kwe kulaba nga Nnaabagereka Esiteeri, yayise nze nzekka okugenda ne kabaka ku kijjulo kye yafumbye. Era n'enkya ampise wamu ne kabaka. 13Kyokka bino byonna tebingasa nga nkyalaba Omuyudaaya oyo Moruddekaayi ng'atudde ku mulyango gw'olubiri.”
14Mukyala we Zeresi ne mikwano gye bonna ne bamuwa amagezi nga bagamba nti: “Zimbisa akalabba ka mita amakumi abiri mu bbiri n'ekitundu obugulumivu, enkya ku makya osabe kabaka, Moruddekaayi awanikibweko afe, olwo osobole okugenda ku kijjulo ne kabaka ng'oli musanyufu.” Hamani n'alowooza nti ago gaali magezi malungi. Bw'atyo n'azimbisa akalabba.
Currently Selected:
ESITEERI 5: LBwD03
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.