ABAKOLOSAAYI 3
3
1Mwazuukira wamu ne Kristo. N'olwekyo mulowoozenga ku biri mu ggulu, Kristo gy'atudde ng'aliraanye Katonda, mu kifo ekisinga eby'abalala ekitiibwa.#Laba ne Zab 110:1 2Mulowoozenga ku bya mu ggulu, sso si ku bya ku nsi, 3kubanga mwafa, era obulamu bwammwe bukwekeddwa wamu ne Kristo mu Katonda. 4Kristo, obulamu bwammwe, bw'alirabika, olwo nammwe mulirabikira wamu naye mu kitiibwa.
Obulamu obukadde n'obulamu obuggya
5Kale mutte okwegomba okubi okuli mu mmwe: obwenzi, obugwagwa, obukaba, okwegomba okw'ensonyi, n'omululu, kwe kusinza ebitali Katonda. 6Katonda asunguwalira abamujeemera ne bakola ebyo. 7Era nammwe ebyo bye mwakolanga edda mu bulamu bwammwe.
8Naye kaakano bino byonna mubireke: obusungu, ekiruyi, n'ettima. Okuvvoola era n'emboozi embi biremenga kuva mu kamwa kammwe. 9Temulimbagananga, kubanga mweyambula obulamu obukadde n'ebikolwa byabwo ebibi,#Laba ne Beef 4:22 10ne mwambala obulamu obuggya, oyo eyabatonda bw'agenda ayongera okuzza obuggya mu kifaananyi kye, mulyoke mumutegeere bulungi.#Laba ne Nta 1:26; Beef 4:24 11Olwo waba tewakyali kwawulamu Muyonaani na Muyudaaya, mukomole n'atali mukomole, munnaggwanga, atali mugunjufu, muddu oba ow'eddembe, wabula Kristo ye byonna, era ye ali mu byonna.
12Muli batukuvu, abaagalwa era abalondemu ba Katonda. N'olwekyo mubenga n'omwoyo ogusaasira, mubenga n'ekisa, n'obwetoowaze, n'obuteefu, era n'okugumiikiriza.#Laba ne Beef 4:2 13Mugumiikirizaganenga era musonyiwaganenga buli lwe wabangawo alina kye yeemulugunyiza munne. Muteekwa okusonyiwagana mu ngeri ye emu nga Mukama waffe bwe yabasonyiwa mmwe.#Laba ne Beef 4:32 14Era ku ebyo byonna, mwongereeko okwagalana. Okwo kwe kunyweza ebintu byonna awamu, mu kutabagana okujjuvu.
15Emirembe gya Kristo gy'agaba, era Katonda gye yabayitira okuba awamu ng'ebitundu eby'omubiri ogumu, giramulenga mu mitima gyammwe; era mwebazenga. 16Ekigambo kya Kristo, mu bugagga bwakyo bwonna, kibeerenga mu mitima gyammwe. Muyigirizaganenga era mubuuliriraganenga mu magezi gonna. Nga mujjudde okwebaza mu mitima gyammwe, Katonda mumuyimbire zabbuli, n'ennyimba, n'ebiyiiye, Mwoyo by'abasobozesa okuyiiya.#Laba ne Beef 5:19-20
17Buli kintu kye mwogera oba kye mukola, mukikolenga mu linnya lya Mukama waffe Yesu, nga muyita mu ye okwebaza Katonda Kitaffe.
Ebitugwanira mu bulamu obuggya
18Abakazi muwulirenga babbammwe, ng'abakkiriza Mukama waffe bwe basaana okukola.#Laba ne Beef 5:22; 1 Peet 3:1 19Abasajja mwagalenga bakazi bammwe, era temubakambuwaliranga.#Laba ne Beef 5:25; 1 Peet 3:7 20Abaana, bazadde bammwe mubawulirenga mu byonna, kubanga ekyo kisanyusa Mukama waffe.#Laba ne Beef 6:1 21Bakitaabwe b'abaana, temukaluubirizanga baana bammwe okutuuka okwenyiwa, sikulwa nga baterebuka.#Laba ne Beef 6:4
22Abaddu, bakama bammwe ab'oku nsi mubawulirenga mu byonna, si lwa kulabibwa kyokka, ng'abaagala okusiimibwa abantu, naye mubaweerezenga n'omutima ogutaliimu bukuusa, nga mussaamu Mukama waffe ekitiibwa.#Laba ne Beef 6:5-8 23Buli kye mukola, mukikolenga n'omutima gwammwe gwonna, ng'abakolera Mukama waffe, sso si ng'abakolera abantu. 24Mumanye nti mulifuna empeera, Mukama waffe gye yasuubiza. Kristo ye Mukama wammwe gwe muweereza. 25Oyo akola ekibi, alibonerezebwa olw'ekibi kye yakola, kubanga tewaliba kusaliriza.#Laba ne Ma 10:17; Beef 6:9
Currently Selected:
ABAKOLOSAAYI 3: LBwD03
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.

: