ABAKOLOSAAYI 2
2
1Njagala mumanye nga bwe nfuba ennyo ku lwammwe, ne ku lw'abo ab'omu Lawodiikiya, era ne ku lw'abo bonna abatandabangako. 2Ekyo nkikola, emitima gyabwe giryoke gisanyuke, nga bassa kimu mu kwagalana, bategeerere ddala era bamanyire ddala ekyama kya Katonda. Ekyama ekyo ye Kristo. 3Mu ye mwe mukwekeddwa amagezi gonna, n'okumanya kwonna. 4Ekyo nkibategeeza, waleme kubaawo ababuzaabuza, ng'akozesa ebigambo ebisendasenda. 5Newaakubadde nga siri nammwe mu mubiri, naye ndi wamu nammwe mu mwoyo, era nsanyuka okulaba nti mutebenkedde, nga muli banywevu mu kukkiriza Kristo.
Obulamu obujjuvu mu Kristo
6Kale nga bwe mwaweebwa Kristo Yesu Mukama waffe, mwegatte wamu naye mu bulamu bwammwe. 7Munywerere ddala mu ye, era mukulire mu ye, nga muli banywevu mu kukkiriza nga bwe mwayigirizibwa, era temukoowanga kwebaza.
8Mwekuumenga waleme kubaawo ababuzaabuza, n'abafuula abaddu, ng'akozesa ebigambo eby'amagezi ag'abantu obuntu agataliimu nsa, era ag'obulimba, abantu ge bayigiriza, nga bageesigamya ku buyinza bw'emisambwa, sso si ku Kristo.
9Ddala mu Kristo, obwakatonda bwonna mwe buli. 10Era ye akulira abafuzi n'ab'obuyinza bonna. Nammwe mu ye mwe mwafunira obulamu obujjuvu, 11era mwakomolerwa mu ye. Temwakomolebwa bantu, wabula Kristo ye yabakomola, ng'abambulamu embeera yammwe etetabagana na Katonda.
12Bwe mwabatizibwa mwaziikibwa wamu ne Kristo, era mu kubatizibwa mwazuukira wamu naye olw'okukkiriza obuyinza bwa Katonda eyamuzuukiza.#Laba ne Bar 6:4 13Nammwe abaali bafudde olw'ebibi byammwe n'olw'obutakomolebwa bwammwe mu mubiri, Katonda yabafuula balamu wamu ne Kristo, bwe yatusonyiwa ebibi byaffe byonna.#Laba ne Beef 2:1-5 14Yasazaamu era n'aggyawo endagaano eyatuwalirizanga okutuukiriza ebyo amateeka g'Ekiyudaaya bye galagira, n'agikomerera ku musaalaba.#Laba ne Beef 2:15 15Ku musaalaba ogwo kwe yawangulira abafuzi n'ab'obuyinza, n'abaggyako ebyokulwanyisa, n'abaswaza mu lwatu. 16Kale tewabangawo abanenya olw'ebyo ebifa ku byokulya ne ku byokunywa, oba olw'ebyo ebikwata ku nnaku enkulu, ne ku kuboneka kw'omwezi, wadde ku nnaku za Sabbaato.#Laba ne Bar 14:1-6 17Ebyo byonna kifaananyi bifaananyi eky'ebyo ebigenda okujja. Naye ekirimu ensa ye Kristo.
18Walemenga kubaawo babalimbalimba, nga beesigama ku kwewombeeka okw'obulimba, ne ku kusinza bamalayika, nga beesiga okulabikirwa okutaliimu. Abantu abo beekulumbaliza bwereere olw'ebirowoozo byabwe eby'abantu obuntu, 19era baba tebakyali ku Kristo omutwe, aliisa omubiri gwonna, n'agatta ennyingo n'ebinywa byagwo, ne gukula nga Katonda bw'ayagala gukule.#Laba ne Beef 4:16
Okufiira awamu ne Kristo n'okuba abalamu awamu naye
20Mwafiira wamu ne Kristo ne muwona obuyinza bw'emisambwa, obufuga ensi. Kale lwaki ate muyisa ng'abakyafugibwa ensi, ne mukkiriza okuweebwa ebiragiro nga bino: 21“Tokwatanga ku kino; tokombanga ku ekyo; kiri tokikoonangako”? 22Ebyo byonna okubikola, tekiriiko kye kigasa. Okwo kuba kugoberera biragiro n'okuyigiriza okw'abantu obuntu. 23Weewaawo birabika ng'eby'amagezi mu ngeri y'okusinza Katonda, abantu gye beegunjirawo bokka, ne mu kwewombeeka okw'obulimba, era ne mu kubonereza omubiri. Naye tebiriiko kye bigasa mu kufuga okwegomba kw'omubiri.
Currently Selected:
ABAKOLOSAAYI 2: LBwD03
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.

: