ABAKOLOSAAYI 2:13-14
ABAKOLOSAAYI 2:13-14 LBWD03
Nammwe abaali bafudde olw'ebibi byammwe n'olw'obutakomolebwa bwammwe mu mubiri, Katonda yabafuula balamu wamu ne Kristo, bwe yatusonyiwa ebibi byaffe byonna. Yasazaamu era n'aggyawo endagaano eyatuwalirizanga okutuukiriza ebyo amateeka g'Ekiyudaaya bye galagira, n'agikomerera ku musaalaba.





