BEELI N'OGUSOTA 1
1
Daniyeli ne bakabona ba Beeli
1Kabaka Asitiyage bwe yamala okufa, Kuuro ow'e Perusiya n'atwala obwakabaka bwe. 2Daniyeli yali omu ku baali ku lusegere lwa Kuuro, era Daniyeli kabaka gwe yasinganga okuwuliriza mu mikwano gye bonna.
3Ab'e Babilooni baalina ekifaananyi ekiyitibwa Beeli. Buli lunaku abantu baawongeranga Beeli ebibbo kkumi na bibiri eby'emizabbibu.#Laba ne Yis 46:1; Yer 51:44#Laba ne Dan 6:16-24 4Kabaka Kuuro yassangamu Beeli ekitiibwa era yagendanga buli lunaku okumusinza. Naye Daniyeli yasinzanga Katonda we.
5Olumu kabaka n'abuuza Daniyeli nti: “Lwaki ggwe tosinza Beeli?” Daniyeli n'addamu nti: “Nze sisinza bifaananyi ebikoleddwa abantu. Nsinza Katonda yekka omulamu, eyatonda eggulu n'ensi, era Mukama w'abantu bonna.” 6Kabaka n'amubuuza nti: “Olowooza lubaale waffe Beeli si mulamu? Tolaba by'alya ne by'anywa buli lunaku we byenkana obungi?”
7Daniyeli n'aseka era n'agamba nti: “Leka kuwubwa, ayi Kabaka! Ekyo kye muyita lubaale Beeli, kifaananyi bufaananyi eky'ebbumba, nga kungulu kibikkiddwako ekikomo, era tekiryanga wadde okunywa.”
8Kabaka n'asunguwala, n'ayita bakabona ba Beeli, n'abagamba nti “Muli ba kufa singa temumbuulira alya ebiwongerwa Beeli. Singa munandagira ddala nti Beeli ye abirya, Daniyeli ye anattibwa olw'okuvvoola Beeli.” 9Daniyeli n'agamba nti: “Kale kibe nga bw'ogambye.” 10Bakabona ba Beeli baali nsanvu, nga tobaze bakazi na baana.
11Kabaka ne Daniyeli ne bayingira mu ssabo lya Beeli, bakabona ne bagamba kabaka nti: “Kabaka, ffe tujja kufuluma, tukuleke ggwe oba otegeka ebyokulya n'ebyokunywa. Bw'onooba ofuluma, osibe oluggi era olusseeko akabonero ko ak'oku mpeta yo. 12Bw'onookomawo ku makya, n'osanga nga byonna Beeli tabiridde, onootutta. Naye singa anaaba abiridde, Daniyeli gw'onotta atuwaayirizza.”
13Bakabona tebaalina kweraliikirira, kubanga baali baasima dda omutuli wansi w'emmeeza, ogw'ekyama, mwe baayitanga okuyingira mu ssabo buli kiro, ne balya ebiwonge.
14Bakabona bwe baafuluma, kabaka n'ategekera Beeli ebyokulya. Daniyeli n'alagira abaweereza okuleeta evvu, balimanse wansi wonna mu ssabo, nga ne kabaka alaba. Olwamala ekyo, ne bafuluma bonna, ne basiba oluggi, ne bateekako akabonero ak'oku mpeta ya kabaka, ne bagenda.
15Ekiro ekyo, bakabona ne bakazi baabwe n'abaana ne bayingira mu ssabo nga bulijjo, nga bayita mu mutuli ogw'ekyama, ne basaanyaawo ebyokulya n'ebyokunywa byonna.
16Enkeera ku makya ennyo, kabaka ne Daniyeli ne balaga ku ssabo. 17Kabaka n'abuuza nti: “Obubonero bwakwatiddwako, Daniyeli?” Daniyeli n'addamu nti: “Nedda, Ssaabasajja, tebwakwatiddwako.”
18Olwaggulawo, kabaka n'alaba ng'emmeeza nkalu, n'aleekaana nti: “Oli mukulu, ayi Beeli, era tewali kya bulimba ku ggwe!” 19Naye Daniyeli n'aseka era n'agamba kabaka nti: “Nga tonnaba kuyingira mu ssabo, sooka otunuleko wansi olabe, ebigere ebyo bya baani?” 20Kabaka n'agamba nti: “Ndaba ebigere by'abasajja n'eby'abakazi era n'eby'abaana abato.” 21Era kabaka n'asunguwala nnyo, n'alagira bakabona ne bakazi baabwe n'abaana bakwatibwe. Bo bennyini ne bamulaga omulyango ogw'amankwetu, mwe baayitanga buli kiro okuyingira ne balya byonna ebyabanga ku mmeeza. 22Kabaka n'alagira battibwe. N'aleka Beeli mu mikono gya Daniyeli. Daniyeli n'azikiriza ekifaananyi ekyo, era n'amenyawo essabo lyakyo.
Daniyeli atta ogusota
23Era waaliyo ogusota ogunene, ab'e Babilooni gwe baasinzanga. 24Olumu kabaka n'agamba Daniyeli nti: “Daniyeli, leero toyinza kugamba nti ono si ye Katonda omulamu. Kale musinze.”
25Daniyeli n'addamu nti: “Nze nsinza Mukama. Ye Katonda yekka omulamu. 26Era, ayi kabaka, singa ompa obuyinza, nnyinza okutta ogusota guno nga sikutte kitala wadde omuggo.” Kabaka n'agamba nti: “Kale nkuwadde obuyinza.”
27Daniyeli n'addira ebintu ebiri ng'envumbo n'omuzigo era n'ebyoya, n'abifumbira wamu. N'akola ebitole, n'awa ogusota ne gulya, ne gwewaga, ne gwabika. Daniyeli n'agamba nti: “Mulabe kye mwasinzanga!”
28Ab'e Babilooni bwe baakimanya, ne basunguwala nnyo, ne beediimira kabaka. Ne baleekaana nti: “Kabaka afuuse Muyudaaya! Yasooka kuzikiriza Beeli, n'atta bakabona. Kaakano asse n'ogusota!” 29Ne bagenda eri kabaka ne bamugamba nti: “Tuwe Daniyeli. Bw'onoogaana, ggwe tujja okutta, n'ab'omu nnyumba yo.”
30Kabaka bwe yalaba nga bamwesibiridde, n'awalirizibwa okubawa Daniyeli. 31Ne bamusuula mu kinnya ekirimu empologoma, ne bamulekamu okumala ennaku mukaaga. 32Mu kinnya mwalimu empologoma musanvu, era buli lunaku baaziwanga emirambo ebiri n'endiga bbiri. Naye tebaaziwa kantu mu nnaku ezo omukaaga, nga baagala zirye Daniyeli.
Daniyeli aggyibwa mu kinnya omuli empologoma
33Mu biseera ebyo waaliwo omulanzi Habakuuku mu Buyudaaya. Yali afumbye ennyama nga kuliko n'omugaati. Yali abitadde mu bbakuli, ng'abitwalira abakungula eŋŋaano mu nnimiro. 34Malayika wa Mukama n'amugamba nti: “Ebyokulya by'olina bitwalire Daniyeli e Babilooni, mu kinnya omuli empologoma.” 35Habakuuku n'amugamba nti: “Mukama wange, e Babilooni situukangayo, era ekinnya simanyi gye kiri.” 36Malayika n'akwata Habakuuku mu nviiri n'amusitula, n'amutwala e Babilooni, mu bwangu ng'obw'embuyaga#1:36 mu bwangu ng'obw'embuyaga: Oba “mu maanyi g'omwoyo gwe” n'amuwummuza kumpi n'ekinnya omuli empologoma.#Laba ne Ezek 8:3 37Habakuuku n'akoowoola nti: “Daniyeli, Daniyeli, omuweereza wa Katonda, kwako emmere Mukama gy'akuweerezza.”
38Daniyeli n'agamba nti: “Ayi Katonda, onzijukidde! Ggwe toyabulira bakwagala!” 39N'agolokoka n'alya. Malayika wa Katonda n'azzaayo Habakuuku eka amangwago.
40Nga wayiseewo ennaku musanvu bukya Daniyeli asuulirwa empologoma, kabaka n'ajja ku kinnya okumukungubagira. Bwe yakituukako, n'atunulamu, nga Daniyeli mw'ali atudde. 41Kabaka n'aleekaana nti: “Ayi Mukama, Katonda wa Daniyeli, oli mukulu! Ggwe Katonda wekka!” 42Amangwago n'alagira basikeyo Daniyeli mu kinnya, basuuleyo abo abaayagala okumutta. Empologoma ne zibakavvulirawo nga ne kabaka alaba.
Currently Selected:
BEELI N'OGUSOTA 1: LBwD03
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.