EBIKOLWA 12
12
Okuyigganyizibwa kweyongera
1Mu kiseera ekyo, kabaka Herode n'atandika okuyigganya abamu ku b'ekibiina ky'abakkiriza Kristo. 2N'atta n'ekitala Yakobo muganda wa Yowanne. 3Bwe yalaba ng'Abayudaaya bakisiimye, ne yeeyongera n'akwata ne Peetero. Ekyo kyabaawo mu biseera by'Embaga Eriirwako Emigaati Egitazimbulukusiddwa. 4Bwe yamala okumukwata n'amuteeka mu kkomera, n'amukwasa abaserikale kkumi na mukaaga, bamukuume bana bana, ng'ayagala okumuleeta mu maaso g'abantu, ng'Embaga Ejjuukirirwako Okuyitako ewedde.#Laba ne Kuv 12:1-27 5Bw'atyo Peetero n'akuumirwa mu kkomera. Ekibiina ky'abakkiriza Kristo ne kinyiikira okumusabira eri Katonda.
Peetero aggyibwa mu kkomera
6Mu kiro ekyakeesa olunaku Herode lwe yali ateeseteese okutwalirako Peetero eri ekibiina ky'abantu, Peetero yali yeebase wakati w'abaserikale babiri, ng'asibiddwa n'enjegere bbiri, era nga n'abakuumi bali ku luggi bakuuma ekkomera, 7malayika wa Mukama n'ayimirira w'ali, ekitangaala ne kibuna akasenge konna. Malayika n'akuba ku Peetero mu mbiriizi, n'amuzuukusa ng'agamba nti: “Golokoka mangu!” Awo enjegere ne ziva ku mikono gya Peetero ne zigwa. 8Malayika n'amugamba nti: “Weesibe olukoba lwo era oyambale engatto zo.” N'akola bw'atyo. Era n'amugamba nti: “Suulira omunagiro gwo, ongoberere.” 9Peetero n'afuluma, n'agoberera malayika. Kyokka n'atamanya nti malayika by'akola by'ebyo ddala. Yalowooza nti aloota buloosi.
10Bwe baayita ku bakuumi abasooka, ne ku bookubiri, ne batuuka ku luggi olw'ekyuma, oluyingira mu kibuga. Ne lubeggulirawo lwokka, ne bafuluma, ne batuuka mu luguudo. Ne batambulako akabanga, malayika n'amulekawo.
11Awo Peetero bwe yategeera ebibaddewo, n'agamba nti: “Kaakano ntegedde nga Mukama atumye malayika we, n'anzigya mu mikono gya Herode, era n'amponya ebyo byonna Abayudaaya bye babadde basuubira okunkolako.”
12Peetero ng'akyalowooza ku ekyo, n'agenda ku nnyumba ya Mariya, nnyina wa Yowanne Mariko, abantu bangi gye baali bakuŋŋaanidde nga beegayirira Katonda. 13Peetero bwe yakonkona ku luggi olw'emiryango, omuwala omuweereza erinnya lye Rooda, n'ajja alabe akonkona. 14Olwategeera ng'eddoboozi lya Peetero, yenna n'ajjula essanyu, n'adduka n'addayo nga n'oluggi taluggudde, n'agamba nti: “Peetero ayimiridde wabweru ku luggi.” 15Bo ne bamugamba nti: “Olaluse?” Ye n'akakasa nti ky'agamba kya mazima. Ne bagamba nti: “Oyo malayika we.”
16Kyokka Peetero ne yeeyongera okukonkona. Bwe baggulawo ne bamulaba, ne basamaalirira. 17Ye n'abawenya n'omukono basirike, n'ababuulira nga Mukama bw'amuggye mu kkomera. Era n'abagamba nti: “Bino mubibuulire Yakobo n'abooluganda abalala.” N'avaayo, n'agenda awantu awalala.
18Awo bwe bwakya enkya, ne wabaawo akeetalo ka maanyi mu baserikale, nga beebuuzaganya Peetero gy'alaze. 19Herode bwe yamunoonya n'atamulaba, n'awozesa abakuumi, n'alagira battibwe. Awo n'ava mu Buyudaaya, n'aserengeta e Kayisaariya n'abeera eyo.
Okufa kwa Herode
20Awo Herode n'asunguwalira abantu ab'e Tiiro ne Sidoni. Naye bo ne beetaba wamu ne bajja bamulabe. Ne bawooyawooya Bulasto eyakuumanga olubiri lwe, ne basaba Kabaka Herode emirembe, kubanga ensi ye, ye yaliisanga eyaabwe.
21Awo ku lunaku olwali olulagaanye, Herode n'ayambala ebyambalo bye eby'obwakabaka, n'atuula ku ntebe ey'obwakabaka, n'ayogera gye bali. 22Abantu ne bamuwaana nga bagamba nti: “Si muntu ye ayogera wabula Katonda ye ayogera!” 23Amangwago malayika wa Mukama n'akuba Herode, kubanga tawadde Katonda kitiibwa. N'aliibwa envunyu, n'afa. 24Naye ekigambo kya Katonda ne kyeyongera okunywera n'okubuna mu bantu. 25Awo Barunaba ne Sawulo bwe baamaliriza omulimu gwabwe, ne bava e Yerusaalemu, ne baddayo nga bali ne Yowanne Mariko.
Currently Selected:
EBIKOLWA 12: LBwD03
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.

: