EBIKOLWA 11
11
Peetero yeetaasa eri abakkiriza Kristo ab'e Yerusaalemu
1Awo abatume n'abooluganda abaali mu Buyudaaya, ne bawulira nga n'ab'amawanga amalala bakkirizza ekigambo kya Katonda. 2Peetero bwe yayambuka e Yerusaalemu, abo abaali baagala ab'amawanga amalala bakomolebwe, ne bamunenya nga bagamba nti: 3“Wakyalira ab'amawanga amalala abatali bakomole, n'okulya n'olya nabo!” 4Awo Peetero n'abannyonnyola byonna ebyabaawo nga bwe byaddiriŋŋana, n'agamba nti:
5“Nali mu kibuga Yoppa nga nsinza Katonda, ne mba ng'avudde ku nsi, ne ndabikirwa ekintu ekiri ng'essuuka ennene, ng'ekwatiddwa ku nsonda zaayo ennya, nga kikka okuva mu ggulu, ne kijja gye ndi. 6Bwe nakyetegereza, ne ndabamu ensolo enfuge n'ez'omu nsiko, n'ebyewalula, n'ebinyonyi. 7Ne mpulira eddoboozi eriŋŋamba nti: ‘Peetero, situka otte, olye.’ 8Ne nziramu nti: ‘Nedda, Mukama wange! Siryanga kintu kitali kirongoofu, wadde eky'omuzizo.’
9“Eddoboozi ne liddamu nate nga liva mu ggulu nti: ‘Katonda kye yalongoosa, tokiyitanga kya muzizo.’ 10Ekyo kyabaawo emirundi esatu, oluvannyuma ne kizzibwayo kyonna mu ggulu. 11Mu kiseera ekyo kyennyini, abasajja basatu abaava e Kayisaariya, abaatumibwa gye ndi, ne batuuka mu nnyumba mwe twali. 12Mwoyo Mutuukirivu n'aŋŋamba nti: ‘Genda nabo nga tobuusabuusa.’ Abooluganda bano omukaaga, nabo baagenda nange e Kayisaariya, era twayingira ffenna mu nnyumba ya Koruneeliyo. 13Koruneeliyo oyo n'atubuulira nga bwe yalaba malayika ng'ayimiridde mu nnyumba ye, era ng'amugamba nti: ‘Tuma e Yoppa, oyite Simooni Peetero, 14akutegeeze ebigambo ebinaakulokola ggwe, n'ab'ennyumba yo bonna.’
15“Awo bwe natandika okwogera, Mwoyo Mutuukirivu n'abakkako nga bwe yakka ku ffe ku ntandikwa. 16Awo ne njijukira Mukama kye yagamba nti: ‘Yowanne yabatiza na mazzi, naye mmwe mulibatizibwa na Mwoyo Mutuukirivu.’#Laba ne Bik 1:5 17Kale oba nga Katonda yawa ab'amawanga amalala abo ekirabo ekyo, nga bwe yakiwa ffe bwe twakkiriza Mukama waffe Yesu Kristo, nze ani eyandisobodde okuziyiza Katonda?”
18Bwe baawulira ebyo, ne bakkakkana, ne batendereza Katonda nga bagamba nti: “Ddala n'ab'amawanga amalala Katonda abawadde okwenenya bafune obulamu.”
Ekibiina ky'abakkiriza Kristo eky'e Antiyookiya
19Abakkiriza bwe baasaasaana mu kuyigganyizibwa okwaliwo Siteefano mwe yattirwa, ne batambula, ne batuuka mu Foyinikiya, ne mu Kipuro ne mu Antiyookiya, nga tebayigiriza muntu mulala, wabula Abayudaaya bokka.#Laba ne Bik 8:1-4 20Kyokka waaliwo abamu ku bo, ab'e Kipuro ne Kireene, bwe baali nga bagenda mu Antiyookiya, ne bayigiriza n'abatali Bayudaaya, ne babategeeza Amawulire Amalungi aga Mukama Yesu. 21Amaanyi ga Mukama gaali nabo, era abantu bangi ne bakkiriza, ne badda eri Mukama.
22Ebyo bwe byawulirwa abakkiriza Kristo ab'omu Yerusaalemu, bo ne batuma Barunaba mu Antiyookiya. 23Bwe yatuukayo, n'alaba nga Katonda bw'akwatiddwa abantu abo ekisa, n'asanyuka. N'abakubiriza bonna bamalirire mu mitima gyabwe okunywerera ku Mukama. 24Barunaba oyo, yali muntu mulungi, ng'ajjudde Mwoyo Mutuukirivu n'okukkiriza. Abantu bangi ne bakkiriza, ne basenga Mukama.
25Oluvannyuma Barunaba n'agenda e Taruso okunoonya Sawulo. 26Bwe yamulaba, n'amuleeta mu Antiyookiya. Ne bamala omwaka mulamba nga bali n'ekibiina ky'abakkiriza Kristo. Ne bayigiriza abantu bangi nnyo. Mu Antiyookiya abayigirizwa mwe baasookera okuyitibwa Abakristo.
27Mu kiseera ekyo, abalanzi abamu ne bava e Yerusaalemu, ne baserengeta mu Antiyookiya. 28Omu ku bo, erinnya lye Agabo, Mwoyo Mutuukirivu n'amwogeza, n'alanga nti: “Wajja kubaawo enjala mu nsi yonna.” Enjala eyo yabaawo mu bufuzi bwa Kulawudiyo.#Laba ne Bik 21:10 29Abayigirizwa ne basalawo, buli omu aweeyo nga bw'asobola, baweereze obuyambi eri abooluganda abali mu Buyudaaya. 30Ekyo ne bakikola, ne batuma Barunaba ne Sawulo batwale obuyambi obwo, babukwase abakulembeze b'ekibiina ky'abakkiriza Kristo.
Currently Selected:
EBIKOLWA 11: LBwD03
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.

: