EBIKOLWA 10
10
Peetero ne Koruneeliyo
1Mu Kayisaariya mwalimu omusajja erinnya lye Koruneeliyo, eyali omuduumizi w'ekibinja ky'eggye ly'Abarooma, ekyali kiyitibwa eky'Abayitale, 2Yali mujjumbizi wa ddiini, ye n'abantu be bonna, nga bassaamu Katonda ekitiibwa. Abayudaaya yabagabiranga ku bintu bye, era yasinzanga Katonda bulijjo. 3Lumu ku ssaawa nga mwenda ez'emisana n'alabikirwa, n'alabira ddala bulungi malayika wa Mukama ng'ajja gy'ali, era ng'amuyita nti: “Koruneeliyo!” 4Koruneeliyo n'amusimba amaaso ng'atya, n'amugamba nti: “Kiki Mukama wange?”
Malayika n'amuddamu nti: “Katonda asanyukidde okwegayirira kwo n'okugaba kwo, era akusiimye ggwe. 5Kale kaakano tuma abasajja e Yoppa, baleete omuntu ayitibwa Simooni Peetero, 6asula ewa Simooni omuwazi w'amaliba, nnannyini nnyumba eri okumpi n'ennyanja.”
7Malayika wa Mukama eyamugamba ebyo bwe yagenda, Koruneeliyo n'ayita babiri ku baweereza be, n'omuserikale omu assaamu Katonda ekitiibwa, era nga ye omu ku abo abaamukuumanga. 8Bwe yamala okubategeeza byonna ebibaddewo, n'abatuma e Yoppa.
9Ku lunaku olwaddirira, bwe baali nga bakyali mu kkubo, nga banaatera okutuuka e Yoppa, Peetero n'alinnya waggulu ku nnyumba, ku ssaawa nga mukaaga ez'omu ttuntu, okusinza Katonda. 10Enjala n'emuluma n'ayagala okubaako ky'alya. Baali bakyakitegeka, n'aba ng'avudde ku nsi, n'alabikirwa. 11N'alaba eggulu nga libikkuse, era ekintu ne kissibwa wansi nga kifaanana ng'essuuka ennene, ng'ekwatiddwa ku nsonda zaayo ennya. 12Mu yo nga mulimu buli ngeri yonna ey'ensolo, n'ey'ebyewalula, n'ey'ebinyonyi.
13Ne wabaawo eddoboozi erimugamba nti: “Peetero, golokoka otte, olye.” 14Peetero n'addamu nti: “Nedda, Mukama wange, sisobola, kubanga siryanga kintu kya muzizo, wadde ekitali kirongoofu.” 15Eddoboozi ne limugamba nate nti: “Katonda kye yalongoosa, tokiyitanga kya muzizo.” 16Ekyo kyaddibwamu emirundi esatu, amangwago ekintu ekyo ne kizzibwayo mu ggulu.
17Awo mu kiseera ekyo, Peetero bwe yali ng'akyasobeddwa, nga yeewuunya ky'alabye, abasajja abaatumibwa Koruneeliyo, bwe baamala okubuuza ennyumba ya Simooni gy'eri, ne batuuka, ne bayimirira ku mulyango. 18Ne babuuza nti: “Wano we wali omugenyi ayitibwa Simooni Peetero?”
19Awo Peetero bwe yali ng'akyalowooza ku ekyo ky'alabye, Mwoyo Mutuukirivu n'amugamba nti: “Laba abasajja basatu bakunoonya. 20Situka okke, ogende nabo nga tobuusabuusa, kubanga nze mbatumye.” 21Awo Peetero n'agenda eri abasajja, n'abagamba nti: “Nze nzuuno gwe munoonya. Nsonga ki ebaleese?”
22Ne bamuddamu nti: “Koruneeliyo, omukulu w'ekibinja ky'abaserikale, omusajja omwegendereza assaamu Katonda ekitiibwa, era asiimibwa eggwanga lyonna ery'Abayudaaya, malayika omutuukirivu yamugamba akuyite, ogende ewuwe, awulire by'ogamba.” 23Awo n'abayingiza n'abasuza.
Bwe bwakya enkya, Peetero n'asitula n'agenda nabo. N'abamu ku booluganda abaali e Yoppa ne bamuwerekerako. 24Olunaku olwaddirira ne batuuka e Kayisaariya. Koruneeliyo yali abalindiridde, era ng'akuŋŋaanyizza baganda be ne mikwano gye ennyo.
25Awo Peetero bwe yali anaatera okuyingira, Koruneeliyo n'amusisinkana, n'afukamira kumpi n'ebigere bye, n'amusinza. 26Kyokka Peetero n'amuyimusa nga bw'agamba nti: “Situka, nange ndi muntu buntu.”
27Peetero n'ayingira ng'agenda anyumya naye. N'asanga abantu bangi nga bakuŋŋaanye. 28N'abagamba nti: “Mmwe mwennyini mumanyi bulungi nga bwe kiri eky'omuzizo, Omuyudaaya okutabagana n'ow'eggwanga eddala, wadde okumukyalira. Kyokka Katonda andaze nga sisaana kuyita muntu n'omu nti si mulongoofu, oba nti mubi. 29Kale bwe nayitibwa, kyennava nzikiriza okujja. Kati mbabuuza, nsonga ki gye mumpitidde?”
30Koruneeliyo n'addamu nti: “Ennaku bbiri eziyise, mu kiseera nga kino, ku ssaawa mwenda ez'olweggulo, nali mu nnyumba yange nga nsinza Katonda. Mu kiseera ekyo ne ndaba omuntu ayambadde engoye ezimasamasa, ng'ayimiridde mu maaso gange. 31N'aŋŋamba nti: ‘Koruneeliyo, Katonda awulidde okwegayirira kwo, era asiimye okugaba kwo. 32Kale tuma e Yoppa, oyite omuntu ayitibwa Simooni Peetero, asula mu nnyumba ya Simooni omuwazi w'amaliba aliraanye ku nnyanja.’ 33Amangwago nze kwe kukutumira, era okoze bulungi okujja. Kale kaakano tukuŋŋaanye wano mu maaso ga Katonda, okuwulira byonna Mukama by'akulagidde.”
Okwogera kwa Peetero mu nnyumba ya Koruneeliyo
34Awo Peetero n'atandika okwogera, n'agamba nti: “Kaakano ntegeeredde ddala nga Katonda tasosola mu bantu,#Laba ne Ma 10:17 35era nga mu buli ggwanga ayaniriza buli muntu amussaamu ekitiibwa, n'akola eby'obutuukirivu.
36“Katonda yawa Abayisirayeli ekigambo kye, ng'abategeeza Amawulire Amalungi agaleeta emirembe, ng'ayita mu Yesu Kristo, Mukama wa byonna. 37Mumanyi ebyabaawo mu Buyudaaya bwonna, ebyatandikira e Galilaaya, nga Yowanne amaze okutegeeza abantu babatizibwe. 38Katonda yajjuza Yesu Omunazaareeti Mwoyo Mutuukirivu era n'amaanyi. Yesu oyo, olw'okuba nga Katonda yali naye, yatambulanga wonna, ng'agenda akola ebirungi, era ng'awonya bonna abaajoogebwanga Sitaani. 39Era ffe tukakasa ebyo byonna bye yakola mu nsi y'Abayudaaya ne mu Yerusaalemu. Baamukomerera ku musaalaba, ne bamutta. 40Kyokka Katonda n'amuzuukiza ku lunaku olwokusatu, era n'amusobozesa okulabibwa, 41si mu bantu bonna, wabula mu ffe, Katonda be yali amaze okulonda okukikakasa. Ye ffe abaalya naye era ne tunywa naye ng'amaze okuzuukira.
42“Yatulagira okutegeeza abantu be, era n'okubakakasa nti ye wuuyo, Katonda gwe yateekawo, okuba omulamuzi w'abalamu n'abafu. 43Abalanzi bonna gwe boogerako, nga bagamba nti: ‘Buli amukkiriza, asonyiyibwa ebibi bye olw'obuyinza bw'erinnya lye.’ ”
Bafuna Mwoyo Mutuukirivu
44Awo Peetero yali akyayogera ebyo, Mwoyo Mutuukirivu n'akka ku bonna abaali bamuwuliriza. 45Abayudaaya abakkiriza, abajja ne Peetero okuva e Yoppa, ne basamaalirira, bwe baalaba nga n'ab'amawanga amalala Katonda abawadde ekirabo ekya Mwoyo Mutuukirivu, 46kubanga baabawulira nga boogera ennimi, era nga batendereza Katonda. Peetero n'agamba nti: 47“Abantu bano bafunye Mwoyo Mutuukirivu nga ffe bwe twamufuna. Kale waliwo ayinza okubagaana okubatizibwa n'amazzi?” 48Awo n'alagira babatizibwe mu linnya lya Yesu Kristo. Oluvannyuma ne bamusaba agira abeera nabo ennaku ntonotono.
Currently Selected:
EBIKOLWA 10: LBwD03
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.