2 TIMOTEEWO 3:1-5
2 TIMOTEEWO 3:1-5 LBWD03
Kale manya kino nti mu nnaku ez'oluvannyuma walibaawo ebiseera eby'akabi, kubanga abantu baliba nga beefaako bokka, nga balulunkanira ebyokufuna, nga beenyumiriza, nga beepanka, nga bavvoola, era nga tebawulira babazaala. Baliba tebeebaza, nga tebafa ku bya Katonda, nga tebaagalana, era nga tebatabagana; nga bawaayiriza, nga tebeegendereza, nga bakambwe, nga tebaagala birungi. Baliba nga ba nkwe, nga bakakanyavu, nga beegulumiza, nga baagala amasanyu okusinga bwe baagala Katonda; nga kungulu balabika ng'abassaamu eddiini ekitiibwa, sso nga tebakkiriza maanyi gaayo. Abantu abo beewalenga.





