2 ABAMAKKABEEWO Ennyanjula
Ennyanjula
Ekitabo kya Abamakkabeewo Ekyokubiri kifunza ebyafaayo ebiri mu bitabo ebitaano ebyawandiikibwa Yasoni ow'e Kureene. Kyogera ku byafaayo by'Abayudaaya okuva ku mulembe gwa Ssaabakabona Oniya Owookusatu nga mu mwaka 180 nga Kristo tannazaalibwa, okutuuka ku kufa kwa Nikanori mu mwaka 161 nga Kristo tannazaalibwa. Ebyafaayo ebyo ebimu bikwatagana n'ebyo ebyogerwako mu kitundu ekisookerwako ekya Abamakkabeewo Ekisooka. Ekitabo kino kiggumiza obukulu bw'okunywerera ku Mateeka ga Katonda era n'empeera Katonda gy'awa abeewaayo okufiirira okukkiriza kwabwe.
Ebiri mu kitabo kino mu bufunze
Amabaluwa agaawandiikirwa Abayudaaya ab'omu Misiri era n'ennyanjula 1:1–2:32
Okukaayanira Obwassaabakabona 3:1–4:50
Antiyooko Epiifane n'okuyigganya Abayudaaya 5:1–7:42
Obuwanguzi bw'Abayudaaya 8:1–15:39
Currently Selected:
2 ABAMAKKABEEWO Ennyanjula: LBwD03
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.