2 ABAMAKKABEEWO 1
1
Ebbaluwa eyawandiikirwa Abayudaaya b'e Misiri
1“Ffe Abayudaaya b'omu Yerusaalemu n'ab'omu Buyudaaya, tuwandiikira mmwe baganda baffe abali e Misiri, nga tubalamusa.
2“Katonda abakolere ebirungi, era atuukirize endagaano gye yalagaana ne Aburahamu ne Yisaaka ne Yakobo, abaweereza be abeesigwa. 3Abajjuze mwenna omutima ogwagala okumusinzanga, n'okukolanga by'ayagala n'omwoyo gumu, era nga mwesiimidde. 4Abawe okutegeera Amateeka ge n'ebiragiro bye, era abawe emirembe. 5Awulire bye mumusaba, abasonyiwe ebibi byammwe, era aleme kubaabulira mu biseera eby'akabi. 6Era kaakano ffe eno e Buyudaaya tubasabira.
7“Mu mwaka 169#1:7 omwaka ogwe 169: Gwe mwaka 143 nga Kristo tannazaalibwa. nga Demetiriyo II ye kabaka wa Siriya, ffe Bayudaaya bannammwe twabawandiikira mmwe, nga tuli mu mbeera embi n'ebiseera ebizibu bye twatuukamu, Yasoni n'abagoberezi be bwe baajeemera abafuzi mu Nsi Entukuvu. 8Baayokya emiryango gy'Essinzizo, ne batta abantu abatalina musango, kyetwava twegayirira Mukama, n'atuwulira, ne tusobola okutambira ebisolo, n'okuwaayo ebirabo eby'obuwunga bw'eŋŋaano, ne tukoleeza ettaala mu Ssinzizo, era ne tuteekayo emigaati emitukuvu. 9Kaakano tubasaba nammwe mukuze olunaku olukulu olw'Ensiisira mu mwezi gwa Kisuleevu. Tuwandiise mu mwaka 188.”#1:9 omwaka ogwe 188: Gwe mwaka 124 nga Kristo tannazaalibwa.
Ebbaluwa eyawandiikirwa Arisitobulo
10“Ffe Abayudaaya b'omu Yerusaalemu n'ab'omu Buyudaaya, n'olukiiko olukulu, ne Yuda, tuwandiikira ggwe Arisitobulo ow'omu lulyo lwa bakabona era omuyigiriza wa Kabaka Putoleme, nammwe Abayudaaya b'omu Misiri. Tubalamusa era tubaagaliza okuba abalamu.
11“Twebaza Katonda kubanga yatuwonya akabi akanene. Twali ng'abalwanyisa kabaka, 12kyokka Katonda n'agoba abalabe baffe mu kibuga ekitukuvu. 13Omukulembeze waabwe bwe yatuuka mu Perusiya, eggye lye ne lirabika ng'eritayinza kuwangulwa. Kyokka ye n'abantu be bwe baali mu ssabo lya lubaale Naneya, baasalwasalwa obulere nga bakabona ba lubaale oyo babaliddemu olukwe,#Laba ne 1 Bamak 6:1-4; 2 Bamak 9:1-10 14kubanga Kabaka Antiyooko yajja mu kifo ekyo, ne yeeyisa ng'ayagala okuwasa lubaale oyo omukazi Naneya, atwale ebyobugagga bwamu ng'ekirabo eky'obugole. 15Bakabona ba Naneya, bwe baamala okufulumya ebyobugagga, Antiyooko n'ayingira mu ssabo n'abantu be abatonotono. Amangwago bakabona ne baggalawo. 16Ate ne baggulawo oluggi olukweke olw'omu kitindiro ky'ekisenge, ne bakuba Antiyooko ne basajja be amayinja, ne babatemaatema, emitwe ne bagikasukira abaali basigadde ebweru. 17Katonda eyazikiriza ababi abo atenderezebwe mu byonna.
Omuliro ogwayokya ekitambiro kya Nehemiya
18“Ku lw'amakumi abiri mu ettaano mu mwezi gwa Kisuleevu nga bwe tugenda okukuza olunaku olw'okutukuza Essinzizo, tulabye nti kirungi okubamanyisa, nammwe mukuze olunaku olw'Ensiisira n'olw'omuliro ogwalabika, Nehemiya bwe yawaayo ekitambiro ng'amaze okuzimba Essinzizo obuggya.
19“Mu kiseera bajjajjaffe kye baatwalirwamu e Perusiya mu buwaŋŋanguse, bakabona abassaamu Katonda ekitiibwa abaaliwo, baggya omuliro mu alutaari ey'ebitambiro, ne bagukweka ku ntobo y'oluzzi olukalu, nga beegendereza waleme kubaawo amanya kifo ekyo. 20Katonda bwe yayagala nga wayiseewo emyaka mingi, kabaka w'e Perusiya n'atuma Nehemiya e Yerusaalemu. Nehemiya n'agamba bazzukulu ba bakabona bali, bazuule omuliro ogwo. Bwe baatutegeeza nti tebaguzudde, wabula nti basanzeeyo mazzi agaseerera, Nehemiya n'abalagira baseneko bagaleete. 21Byonna eby'okutambira bwe baamala okubiteeka ku alutaari, Nehemiya n'agamba bakabona okumansira amazzi ago ku nku ne ku by'okutambira. 22Ekyo bwe baakimala, ne wayitawo ekiseera, enjuba eyali ebikkiddwa ebire n'ebikkuka, byonna ebyali ku alutaari ne bikoleera omuliro, bonna ne beewuunya. 23Ekitambiro bwe kyali kiggya omuliro, Yonataani Ssaabakabona n'akulembera abantu mu kusaba Katonda. Nehemiya n'abalala bonna ne baanukula.
Essaala ya Nehemiya
24“Baasaba bwe bati: ‘Ayi Mukama Omutonzi w'ebintu byonna, ggwe ow'amaanyi era atiisa, sso ng'oli wa kisa era omwenkanya. Ggwe Kabaka wekka era ggwe w'ekisa wekka. 25Ggwe wekka ggwe musaasizi era omwenkanya. Oyinza byonna, oli wa mirembe gyonna, bulijjo oggya Yisirayeli mu buli kabi konna. Walonda bajjajjaffe okuba abantu bo ab'enjawulo. 26Siima ekitambiro kino kye tukuweereza ku lw'Abayisirayeli bonna, okuume abantu bo be walondamu era otutukuze. 27Sumulula bannaffe abali mu buddu mu b'amawanga amalala, okuŋŋaanye abasaasaanye. Kwatirwa ekisa abayisibwa obubi era abanyoomebwa, ab'amawanga gonna bamanye nti ggwe Katonda waffe. 28Bonereza abatubonyaabonya era abeekulumbaza ne batunyooma. 29Nyweza abantu bo mu nsi entukuvu nga Musa bwe yagamba nti ekyo ky'olikola.’
30“Awo bakabona ne bayimba ennyimba ezitendereza Mukama. 31Ebitambiddwa bwe byamala okubengeya omuliro, Nehemiya n'alagira nti amazzi agasigaddewo gayiibwe ku mayinja amanene. 32Amangwago ne wasituka ennimi z'omuliro. Naye omuliro ogw'oku alutaari ey'ebitambiro bwe gwayaka, ne gumira guno. 33Ekyo abantu bwe baakimanya, ne bakinyumizaako kabaka wa Perusiya, nga mu kifo bakabona mwe baakweka omuliro nga bagenda mu buwaŋŋanguse, muzuuseemu amazzi, Nehemiya ne banne ge bakozesezza okwokya ebitambirwa. 34Kabaka bwe yamala okubuuliriza n'amanya nti kituufu, ekifo ekyo n'akyetoolooza olukomera era n'alagira kiyitibwe kitukuvu. 35N'akifunamu ebirungi bingi bye yatoolangako okuwa bakabona ebirabo. 36Nehemiya ne banne, amazzi ago ne bagayita Nefutaali, ekitegeeza ‘Okutukuzibwa’ naye abasinga obungi bagayita ‘Nafuta.’
Currently Selected:
2 ABAMAKKABEEWO 1: LBwD03
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.