YouVersion Logo
Search Icon

2 ABAKORINTO 10

10
Pawulo annyonnyola omulimu gwe
1Nze nzennyini Pawulo, ayogerwako nti mba mutiitiizi nga ndi nammwe ne mba wa maanyi nga siri nammwe, mbeegayirira olw'obuwombeefu n'obukkakkamu bwa Kristo. 2Mbasaba nti bwe ndiba nga ndi nammwe, muleme kundeetera kwogeza maanyi, ge nkozesa eri abalala abalowooza nti tugoberera bya nsi. 3Kuba newaakubadde nga tuli mu nsi, naye tetulwana ng'ab'ensi. 4Ebyokulwanyisa byaffe mu lutalo, tebiri ng'eby'ab'ensi, wabula birina amaanyi agava eri Katonda, okusaanyaawo ebigo.
5Tumalirawo ddala empaka era na buli ekyekulumbaza okuziyiza Katonda okumanyibwa. Era tujeemulula buli kirowoozo, kiwulire Kristo. 6Bwe mulimala okugondera ddala, tweteeseteese okubonereza obujeemu bwonna.
7Mulabe ebintu nga bwe biri. Omuntu bwe yeerowooza nti wa Kristo, ajjukire nti naffe tuli ba Kristo nga ye. 8Tekinkwasa nsonyi ne bwe mba nga nsukkirizza okwetenda olw'obuyinza bwa Mukama bwe yatuwa olw'okubazimba, sso si olw'okubazikiriza.
9Sandyagadde kuba ng'abatiisa na bbaluwa zange. 10Abantu bagamba nti: “Ebbaluwa za Pawulo nkambwe era za maanyi, kyokka bw'abeera naffe aba munafu, era ebigambo bye binyoomebwa.” 11Alowooza bw'atyo, ategeere nti bye tugamba mu bbaluwa nga tetuli nammwe, era bye tukola nga tuli nammwe.
12Ffe tetwagala kwebalira mu abo abeetendereza, wadde okwegeraageranya nabo. Bwe beegeraageranya, beegeraageranya ku bo bennyini. Tebalina magezi. 13Naye ffe tetujja kwenyumiriza nga tetuliiko kkomo. Tujja kukoma ku mirimu Katonda gye yatugerera, nga mw'otwalidde n'ogwo gwe twakola mu mmwe. 14Nga mmwe bwe muli mu kitundu Katonda kye yatugerera, tetwakibuuka bwe twajja gye muli nga tubategeeza Amawulire Amalungi agafa ku Kristo.
15Tetwenyumiriza lwa mulimu abalala gwe baakola ebweru w'ekitundu Katonda kye yatugerera. Wabula tusuubira nti okukkiriza kwammwe nga bwe kugenda kweyongera, era n'omulimu gwaffe mu mmwe gweyongera okugaziwa. 16Olwo tulisobola okutuusa Amawulire Amalungi ku bantu abali mu bitundu ebiri eyo okuyisa ewammwe, nga tetwenyumiriza lwa mulimu ogukoleddwa abalala mu kitundu kyabwe.
17Kyokka ng'ekyawandiikibwa bwe kigamba, “Eyeenyumiriza, yeenyumirizenga mu Mukama waffe.”#Laba ne Yer 9:24 18Omuntu eyeetenda, si ye akkirizibwa, wabula oyo Mukama gw'asiima.

Currently Selected:

2 ABAKORINTO 10: LBwD03

Highlight

Copy

Compare

Share

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in