Bible App logo
Search Icon

1 TIMOTEEWO Ennyanjula

Ennyanjula
Timoteewo, omuvubuka akkiriza Kristo era asibuka mu Asiya Entono, nnyina yali Muyudaaya, kitaawe nga Muyonaani. Yafuuka munne era muyambi wa Pawulo mu mulimu ogw'okubuulira Amawulire Amalungi aga Yesu Kristo. Ebbaluwa embereberye Pawulo gye yawandiikira Timoteewo eyogera ku bintu ebikulu bisatu.
Okusookera ddala ebbaluwa eno, erabula ku njigiriza enkyamu mu kibiina ky'abakkiriza Kristo. Enjigiriza eyo eyalimu ekintabuli ky'ebirowoozo by'Ekiyudaaya n'eby'ab'amawanga amalala, yali yeesigamye ku nzikiriza egamba nti ensi eno erabika era kwe tuli, mbi. Okumanya okwenjawulo era okw'ekyama era n'okukola ebikolwa ebimu, okugeza: okwewala okulya ebika by'emmere ebimu era n'obutafumbirwa oba obutawasa, bye byokka ebiyinza okusobozesa omuntu okulokolebwa n'ava mu bibi. Ebbaluwa eno era erimu ebiyigiriza Timoteewo enzirukanya y'emirimu era n'ensinza mu kibiina ky'abakkiriza Kristo. N'ekisembayo ebbaluwa ekubiriza Timoteewo okubeera omuweereza omulungi owa Yesu Kristo, era n'okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwe eri abantu bonna aba buli ngeri mu kibiina ky'abakkiriza Kristo.
Ebiri mu bbaluwa eno mu bufunze
Ennyanjula 1:1-2
Okuyigiriza ebifa ku kibiina ky'abakkiriza Kristo n'abakulembeze baakyo 1:3–3:10
Okuyigiriza Timoteewo ebifa ku mirimu gy'ateekwa okukola 4:1–6:21

Highlight

Copy

Compare

Share

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in