Bible App logo
Search Icon

1 TIMOTEEWO 1

1
Okulamusa
1Nze Pawulo omutume wa Kristo Yesu okusinziira ku kiragiro kya Katonda Omulokozi waffe, ne Kristo Yesu essuubi lyaffe, 2nkuwandiikira ggwe Timoteewo, omwana wange ddala mu kukkiriza. Katonda Kitaffe ne Yesu Kristo Mukama waffe bakukwatirwe ekisa, bakusaasire, era bakuwe emirembe.#Laba ne Bik 16:1
Okwerinda enjigiriza eteri ntuufu
3Njagala osigale mu Efeso, nga bwe nakusaba nga ŋŋenda e Makedooniya, oziyize abantu baleme kuyigiriza njigiriza ndala. 4Bagambe balekere awo okwemaliranga ku nfumo, ne ku kulondoola enkalala empanvu ez'amannya g'abajjajjaabwe. Ebyo byongera mpaka, mu kifo ky'okuyigiriza abantu ebya Katonda, ebiri mu kukkiriza. 5Ekigendererwa mu kiragiro kino kwe kwagala, okusibuka mu mutima omulongoofu, n'omwoyo omulungi, n'okukkiriza okutaliimu bukuusa. 6Ebyo abantu abamu babivaako, ne badda mu mpaka ezitaliimu mugaso. 7Beefuula abayigiriza b'amateeka ga Katonda, sso nga tebategeera bye boogera, wadde bye bakakasa.
8Tumanyi ng'Amateeka malungi, omuntu bw'agakozesa mu ngeri entuufu. 9Tusaanye tutegeere nti amateeka tegaateekerwawo batuukirivu, wabula gaateekerwawo abo abagamenya n'abajeemu, aboonoonyi n'abatatya Katonda, abatali batuukirivu, n'abavvoola ebya Katonda, abatta bakitaabwe ne bannyaabwe, era n'abatta abantu abalala. 10Gaateekerwawo abenzi n'abalya ebisiyaga, ababuzaawo abantu, abalimba, n'abalayirira obwereere, n'abo bonna abakola ebitakkiriziganya na njigiriza ntuufu. 11Enjigiriza eyo entuufu ye yiiyo ekkiriziganya n'Amawulire Amalungi, era ageekitiibwa, aga Katonda atenderezebwa, agankwasibwa.
Okwebaza Katonda olw'ekisa kye
12Neebaza Kristo Yesu Mukama waffe, eyampa amaanyi ag'okumuweereza, era eyalaba nga nsaanira, n'ankwasa omulimu gwe. 13Newaakubadde ng'edda namwogerako bubi, ne mmuyigganya, era ne mmuvoola, kyokka yansaasira, kubanga ebyo nabikolanga mu butamanya, nga sinnaba kumukkiriza.#Laba ne Bik 8:3; 9:4-5 14Mukama waffe yankwatirwa ekisa kingi nnyo, n'ampa okukkiriza, era n'okwagala, bye tufunira mu Kristo Yesu.
15Ekigambo kino kituufu ddala, kisaanye okukkiriza ekigamba nti: “Kristo Yesu yajja mu nsi okulokola aboonoonyi.” Mu bo nze nsingira ddala okuba omwonoonyi. 16Kyokka Katonda yankwatirwa ekisa: mu nze asingira ddala okuba omwonoonyi, Kristo Yesu mw'aba alagira okugumiikiriza kwe okutakoma, era mbe ekyokulabirako eri abo abalimukkiriza, ne bafuna obulamu obutaggwaawo. 17Kabaka ow'olubeerera, atafa era atalabika, Katonda omu yekka, agulumizibwenga era aweebwenga ekitiibwa emirembe n'emirembe. Amiina.
18Mwana wange Timoteewo, nkukubiriza ojjukire ebigambo by'abalanzi bye baakwogerako edda, olyoke olwane olutalo n'obuzira, 19ng'okukkiriza era n'omwoyo omulungi, bye byokulwanyisa byo, kubanga abalala abagaana okuba n'omwoyo ogwo omulungi, bafiirwa okukkiriza kwabwe. 20Mu abo mwe muli Yimenaayo ne Alekizanda be nawaayo eri Sitaani balekere awo okuvumanga Katonda.

Currently Selected:

1 TIMOTEEWO 1: LBwD03

Highlight

Copy

Compare

Share

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in