1 TIMOTEEWO 1:9-10
1 TIMOTEEWO 1:9-10 LBWD03
Tusaanye tutegeere nti amateeka tegaateekerwawo batuukirivu, wabula gaateekerwawo abo abagamenya n'abajeemu, aboonoonyi n'abatatya Katonda, abatali batuukirivu, n'abavvoola ebya Katonda, abatta bakitaabwe ne bannyaabwe, era n'abatta abantu abalala. Gaateekerwawo abenzi n'abalya ebisiyaga, ababuzaawo abantu, abalimba, n'abalayirira obwereere, n'abo bonna abakola ebitakkiriziganya na njigiriza ntuufu.





