1 ESIDERAASI 8
8
Ezera atuuka mu Yerusaalemu
(Laba ne Ezer 7:1-10)
1Ebyo bwe byaggwa, mu mirembe gya Arutazeruzesi kabaka wa Perusiya, omusajja ayitibwa Ezera n'ajja ng'ava e Babilooni. Yamenya bajjajjaabe okutuukira ddala ku Arooni Ssaabakabona. 2Yabamenya bw'ati: Ezera mutabani wa Saraya, Saraya mutabani wa Hilukiya, Hilukiya mutabani wa Sallumu, Sallumu mutabani wa Sadoki, Sadoki mutabani wa Ahituubu, Ahituubu mutabani wa Azariya, Azariya mutabani wa Marayooti, Marayooti mutabani wa Zakariya, Zakariya mutabani wa Ozi, Ozi mutabani wa Bokki, Bokki mutabani wa Abiswa, Abiswa mutabani wa Finehaasi, Finehaasi mutabani wa Eleyazaari, Eleyazaari mutabani wa Arooni.
3Ezera oyo yava e Babilooni ng'ayize nnyo Amateeka Katonda wa Yisirayeli ge yakwasa Musa. 4Kabaka yali amusiima nnyo era ng'akkiriza okumuwa byonna by'amusaba. 5Okujja e Yerusaalemu yali wamu n'abamu ku Bayisirayeli, omwali bakabona, Abaleevi, abayimbi, abakuumi, n'abaweereza b'omu Ssinzizo. 6Baava e Babilooni ku lunaku olusooka, olw'omwezi ogw'olubereberye mu mwaka ogw'omusanvu ogw'obufuzi bwa Kabaka Arutazeruzesi. Katonda yabakuuma ne batambula bulungi, ne batuuka mu Yerusaalemu ku lunaku olusooka olw'omwezi ogwokutaano. 7Ezera yali amanyi bulungi Amateeka ga Mukama, era nga tewali na limu ly'agayaalirira. Kyeyava asobola okuyigiriza Abayisirayeli bonna ebiragiro byonna, n'okusalanga emisango.
Ebbaluwa Kabaka Arutazeruzesi gye yawa Ezera
(Laba ne Ezer 7:11-26)
8Eno ye bbaluwa eyaggyibwa mu eyo Kabaka Arutazeruzesi gye yawa Ezera kabona omukugu mu Mateeka ga Mukama: 9-10“Nze Arutazeruzesi Kabaka, mpandiikira ggwe Ezera kabona, omukugu mu Mateeka ga Mukama. Olw'ekisa kyange nsiimye okulagira nti mu matwale gange gonna, Abayudaaya ne bakabona baabwe n'Abaleevi abaagala okugenda naawe e Yerusaalemu, bagende. 11Nze n'abakungu bange omusanvu be nteesa nabo tukkirizza nti bonna abaagala, bagende naawe. 12Bagende beetegereze oba ng'Amateeka ga Mukama gakuumibwa bulungi mu Yerusaalemu ne mu Buyudaaya bwonna. 13Era Batwale ebirabo nze n'abakungu bange be nteesa nabo bye twetemye okuwa Katonda wa Yisirayeli, omuli ne zaabu yenna ne ffeeza ebya Mukama, ebinaasangibwa mu Babilooniya, 14n'ebyo byonna ebinaaweebwayo abantu ba Yisirayeli olw'Essinzizo lya Mukama waabwe. Ffeeza ne zaabu bikuŋŋaanyizibwe okugula ente ennume n'endiga enkulu ennume, n'endiga ento, na buli kimu ekyetaagibwa, 15okusobozesa ebitambiro okuweebwangayo ku alutaari ya Katonda eri mu Yerusaalemu.
16“Ffeeza oyo ne zaabu, ggwe ne banno mubikozese nga bwe musiima nga mukola nga Katonda wammwe bw'ayagala. 17Ebintu ebikozesebwa mu Ssinzizo lya Katonda wammwe mu Yerusaalemu, mubiwangayo. 18Era n'ebirala byonna ebyetaagibwa okuweebwayo olw'Essinzizo, mubiggye mu ggwanika ly'obwakabaka.
19“Nze Kabaka Arutazeruzesi, ndagira abawanika bonna mu Siriya ne mu Fenikiya okuwa Ezera kabona era omukugu mu mateeka ga Katonda Atenkanika, byonna by'anaabasaba, 20obutasussa talanta#8:20 talanta: Emu omupakasi yagikolereranga emyaka nga kkumi n'etaano. za ffeeza kikumi, ne kilo z'eŋŋaano omutwalo gumu, lita z'omwenge ogw'emizabbibu enkumi bbiri, n'omunnyo gwonna gwe yeetaaga. 21Mwegendereze okutuukiriza byonna ebiragirwa mu Mateeka ga Katonda Atenkanika, aleme kunsunguwalira wadde okusunguwalira abo abalifuga nga nze nvuddewo. 22Mbategeeza nti bakabona n'Abaleevi n'abayimbi n'abakuumi, n'abaweereza era n'abalala abakola mu Ssinzizo, tebaasoloozebwengako musolo na mpooza, wadde okubatikka obuzito obulala.
23“Ggwe Ezera, ng'ogoberera amagezi Katonda g'akuwa, ojja kulonda abaami n'abalamuzi okulamula abantu bonna mu Siriya ne mu Fenikiya, abamanyi Amateeka ga Katonda wo. N'oyo atagamanyi, mugamuyigirizanga. 24Era buli anaagaananga okukwata amateeka ga Katonda wo, oba amateeka ga kabaka, asalirwenga mangu omusango, oba gwa kuttibwa, oba gwa kutanzibwa, oba gwa kuwaŋŋangusibwa, oba gwa kusibwa mu kkomera.”
Ezera Atendereza Katonda
(Laba ne Ezer 7:27-28)
25Awo Ezera n'agamba nti: “Mukama yekka eyayagazisa kabaka okuzzaawo ekitiibwa ky'Essinzizo lya Mukama mu Yerusaalemu, atenderezebwe. 26Ansobozesezza okuweebwa ekitiibwa mu maaso ga kabaka n'ag'abakungu be b'ateesa nabo, n'ag'abakungu be abalala ab'amaanyi. 27Mukama Katonda wange ampadde amaanyi, ne nkuŋŋaanya Abayisirayeli bangi okuddayo nange.”
Abantu abaava mu busibe
(Laba ne Ezer 8:1-14)
28Luno lwe lukalala lw'abakulu mu bika ne mu nnyumba abaali mu busibe e Babilooni ne bakomawo ne Ezera e Yerusaalemu nga Arutazeruzesi ye kabaka. 29Mu b'ennyumba ya Finehaasi, mwalimu Gerusoomu, mu b'ennyumba ya Yitamaari, mwalimu Gamayeeli. Mu b'ennyumba ya Dawudi, mwalimu Hattusi mutabani wa Sekaniya. 30Mu b'ennyumba ya Parosi mwalimu Zekariya n'abasajja kikumi mu ataano ab'ennyumba ye, abaabalibwa ng'okuzaalibwa kwabwe bwe kuli. 31Mu b'ennyumba ya Pahati Mowaabu, mwalimu Eliwenaayi mutabani wa Zekariya wamu n'abasajja ebikumi bibiri. 32Mu b'ennyumba ya Zattu, mwalimu Sekaniya mutabani wa Yezelo wamu n'abasajja abalala ebikumi bisatu. Mu b'ennyumba ya Adini, mwalimu Ebedi mutabani wa Yonataani wamu n'abasajja abalala ebikumi bibiri mu ataano. 33Mu b'ennyumba ya Elamu, mwalimu Yesiya mutabani wa Gotooliya wamu n'abasajja abalala nsanvu. 34Mu b'ennyumba ya Sefatiya, mwalimu Zeraya mutabani wa Mikayeli, n'abasajja abalala nsanvu. 35Mu b'ennyumba ya Yowaabu, mwalimu Obadiya mutabani wa Yehiyeeli n'abasajja abalala ebikumi bibiri mu kkumi na babiri. 36Mu b'omu nnyumba ya Bani, mwalimu Selomiti mutabani wa Yosifiya, n'abasajja abalala kikumi mu nkaaga. 37Mu b'omu nnyumba ya Bebayi, mwalimu Zekariya mutabani wa Bebayi, n'abasajja abalala amakumi abiri mu munaana. 38Mu b'ennyumba ya Azugaadi, mwalimu Yohanaani mutabani wa Hakkatani, n'abasajja abalala kikumi mu kkumi. 39N'oluvannyuma mu b'ennyumba ya Adonikamu mwalimu Elifeleti, Yeweli ne Semaaya, wamu n'abasajja abalala nsanvu. 40Ne mu nnyumba ya Biguvaayi, mwalimu Wutayi mutabani wa Yistaluro, wamu n'abasajja abalala nsanvu.
Ezera anoonya bakabona n'Abaleevi
(Laba ne Ezer 8:15-20)
41Awo ne nkuŋŋaanyiza bonna ku Mugga Tera, ne tusiisira awo ne tumalawo ennaku ssatu. Ne neetegereza abantu, 42ne sizuulamu kabona wadde ow'olulyo lwa Leevi. 43-44Ne ntumya abasajja abakulu, abakulembeze era abayigiriza: Eleyazaari, Yidweli, Maasima, Elunatani, Semaaya, Yaribu, Natani, Elunatani, Zekariya ne Mesullamu. 45Ne mbatuma okugenda eri Yiddo, omukulu w'eggwanika, 46basabe ye ne banne n'abawanika abaliyo, batufunire bakabona ab'okuweereza mu Ssinzizo lya Mukama waffe. 47Katonda yatuyamba, ne batuleetera abasajja ab'omugaso: Serebiya, Omuleevi ow'omu nnyumba ya Mahuli, wamu ne batabani be ne baganda be kkumi na munaana, 48ne Hasabiya, ne Annuno ne muganda we Yesaaya ab'ennyumba ya Kananiya wamu ne batabani baabwe amakumi abiri. 49Waaliwo n'abaweereza b'omu Ssinzizo ebikumi bibiri mu amakumi abiri. Bajjajjaabwe baalondebwa Kabaka Dawudi n'abakungu be okuyambanga ku Baleevi. Amannya gaabwe bonna ne gawandiikibwa ku kitabo.
Ezera alangirira okusiiba n'okusinza Katonda
(Laba ne Ezer 8:21-23)
50Nga tuli ku Mugga Tera, ne nnangirira nti tusiibe, twetoowaze mu maaso ga Katonda waffe, tumusabe atutambuze bulungi ffe, n'abaana baffe n'ebisolo byaffe, 51kubanga ensonyi zankwata okusaba kabaka abaserikale ab'ebigere n'abeebagala embalaasi okutuwerekera n'okututaasa abalabe mu kkubo, 52nga nali mmaze okumugamba nti Katonda waffe wa maanyi era akuuma n'ataasa abo abamwesiga. 53Kyetwava twongera okwegayirira Mukama atukuume, era n'atukwatirwa ekisa.
Ebirabo eby'Essinzizo
(Laba ne Ezer 8:24-30)
54Mu bakulu ba bakabona ne nnondamu Serebiya ne Hasabiya n'abalala kkumi. 55Awo ne mbagerera ffeeza ne zaabu n'ebintu kabaka n'abakungu be, n'abantu ba Yisirayeli bye baawa okukozesebwanga mu Ssinzizo, ne mbibakwasa. 56Nabakwasa ffeeza kilo emitwalo ebiri mu enkumi bbiri, n'ebitundu ebya ffeeza kilo enkumi ssatu mu ebikumi bina, 57zaabu kilo enkumi ssatu mu ebikumi bina, n'ebibya ebya zaabu amakumi abiri, n'ebikopo kkumi na bibiri eby'ekikomo ebizigule obulungi, nga bifaanana ng'ebya zaabu.
58Ne ŋŋamba bakabona nti: “Mwayawulirwa Mukama, n'ebintu bino ne ffeeza ne zaabu nabyo byaweebwayo eri Mukama wa bajjajjaffe. 59Mubikuume n'obwegendereza, mubituuse bulungi mu Ssinzizo mubikwase abakulembeze ba bakabona n'Abaleevi n'abakulembeze b'abantu ba Yisirayeli mu Yerusaalemu.” 60Awo bakabona n'Abaleevi ne bakwata ffeeza ne zaabu n'ebintu ne babitwala mu Ssinzizo e Yerusaalemu.
Batuuka e Yerusaalemu
(Laba ne Ezer 8:31-36)
61Twava ku Mugga Tera ku lunaku olw'ekkumi n'ebbiri olw'omwezi ogw'olubereberye, Katonda n'atuyamba n'atuwonya abalabe mu lugendo, ne tutuuka mirembe e Yerusaalemu. 62Bwe twamalayo ennaku ssatu, ku lunaku olwokuna ne tuyingira mu Ssinzizo, ne bapima ffeeza ne zaabu ne bikwasibwa Meremooti kabona, mutabani wa Wuriya. 63Yali wamu ne Eleyazaari mutabani wa Finehaasi n'Abaleevi babiri: Yazabadi mutabani wa Yoswa, ne Moweeti mutabani wa Sabanno. 64Buli kintu kyabalibwa era ne kipimibwa, obuzito bwakyo ne buwandiikibwa mu kiseera ekyo.
65Awo bonna abaava mu busibe ne bawaayo ebitambiro eri Mukama, Katonda wa Yisirayeli. Baawaayo ente ennume kkumi na bbiri ku lwa Yisirayeli yonna, endiga ennume kyenda mu mukaaga, 66n'endiga ento nsanvu mu bbiri. Baawaayo n'embuzi kkumi na bbiri olw'okusonyiyisa ebibi. Ensolo ezo zonna ne ziba ekitambiro eri Mukama. 67Awo ne baggyayo ebiragiro kabaka bye yabawa, ne babikwasa abafuzi n'abakungu b'e Siriya ne Fenikiya, abeeyongera okussaamu Abayudaaya n'Essinzizo lya Mukama ekitiibwa.
Abayisirayeli okufumbiriganwa n'ab'amawanga amalala
(Laba ne Ezer 9:1-15)
68Ebyo bwe byaggwa, abamu ku bakulembeze b'abantu ba Yisirayeli ne bajja, ne baŋŋamba nti: 69abantu n'abakulembeze ne bakabona n'Abaleevi baali tebeeyawudde ku bantu b'amawanga agaliraanyeewo, ab'e Edomu aba Mowaabu, ab'e Misiri, Abakanaani, Abahiiti, Abaperizi n'Abayebusi, era nga bagoberera empisa zaabwe embi. 70Abantu ba Katonda abatukuvu baayonooneka nga bafumbiriganwa n'ab'amawanga amalala. N'abakulembeze bennyini n'abakungu baali bamenye Amateeka okuviira ddala ku ntandikwa. 71Olwawulira ebyo ne njuza ebyambalo byange n'omunagiro gwange omutukuvu, ne neekuunyuula enviiri n'ekirevu, ne ntuula wansi nga nsobeddwa era nga nnakuwadde. 72Natuula awo nga nnakuwadde olw'ekibi kino, okutuuka akawungeezi mu kiseera eky'okuwaayo ekitambiro. Abantu abalumirwa ebyo Mukama wa Yisirayeli bye yayogera, ne bakuŋŋaanira we ndi.
73Awo ne nsituka mu kifo we nali nga nsiiba, ne nfukamira ne nsaba Mukama nga ngololedde emikono gyange gy'ali. 74Ne ŋŋamba nti: “Ayi Mukama, nkwatiddwa ensonyi, ne nsoberwa mu maaso go. 75Ebibi byaffe bigulumidde okuyisa ku mitwe gyaffe, ne bituuka ku ggulu. 76Okuviira ddala ku bajjajjaffe n'okutuusa kati, ffe abantu bo twayonoona nnyo. 77Olw'ebibi byaffe n'ebya bajjajjaffe, ffe n'ab'eŋŋanda zaffe, bakabaka baffe, ne bakabona baffe, kyetwava tuweebwayo mu mikono gya bakabaka ab'amawanga amalala, ne tubbibwa, era ne tutwalibwa mu busibe, ne tujjula ensonyi, ze tukyalimu kati. 78Kaakano ayi Mukama, otukwatiddwa ekisa kingi okumala akaseera. Okkirizza abatono ku ffe okusigalawo n'okusigazaawo erinnya lya Yisirayeli wano mu Ssinzizo lyo ettukuvu. 79Okkirizza ekitiibwa ky'eggwanga lyaffe okuddamu okulabikako ng'omaze okutuliisa n'okutulabirira mu kiseera eky'obusibe bwaffe. 80Ne bwe twali abasibe, tewatwabulira mu buddu bwaffe. Waleetera bakabaka b'e Perusiya okutwagala, ne batuwa ebyokulya, 81ne bazzaawo ekitiibwa ky'Essinzizo, ne bazimba buggya ekibuga Yerusaalemu ekyali amatongo, era ne batuwa ekifo eky'emirembe wano mu Buyudaaya ne mu Yerusaalemu.
82“Naye kaakano, ayi Mukama, tunaagamba ki, ng'omaze okutukolera bino byonna? Twaddamu okujeemera ebiragiro byo bye watuwa ng'oyita mu baweereza bo abalanzi, ng'ogamba nti: 83ensi gye tuyingira okubeeramu si nnongoofu, kubanga abantu abagirimu si balongoofu era bagijjuzizza empisa zaabwe embi, ez'obugwagwa. 84Watugamba obutafumbiriganwanga nabo,#Laba ne Kuv 34:11-16; Ma 7:1-5 85wadde okuteesanga nabo eby'emirembe bwe tuba nga twagala okuba ab'amaanyi n'okusanyukira mu nsi eno n'okugirekera bazzukulu baffe. 86Wadde nga tumaze okulaba ebyo byonna ebitutuuseeko ng'otubonereza olw'ebibi byaffe, tumanyi nga ggwe Mukama, otubonereza katono okusinga bwe tusaanira, 87era watutaliza ne tutazikirira. Naye twaddamu okujeema, ne tumenya Amateeka go, ne tufumbiriganwa n'abantu bano ababi. 88Naye era tewatusunguwalira nnyo kutusaanyizaawo ddala, obutalekaawo n'omu ku ffe nga mulamu, ne watasigalawo bazzukulu wadde erinnya lyaffe. 89Ayi Mukama,Katonda wa Yisirayeli, oli mwesigwa, kubanga otutalizza ne tutazikirira. 90Twatula mu maaso go nga bwe tuzzizza omusango. Tetuguma na kuyimusa maaso kukutunulako.”
Abayisirayeli obutafumbiriganwa na ba mawanga malala
(Laba ne Ezer 8:31-36)
91Awo Ezera bwe yali nga yeegayirira mu maaso g'Essinzizo, ng'akaaba amaziga ng'ayatula ebibi bino, ekibiina kinene eky'abasajja n'abakazi n'abaana abato ekyava e Yerusaalemu ne kikuŋŋaanira w'ali nga bonna bakaaba nnyo amaziga. 92Awo Sekaniya mutabani wa Yekyeli, omu ku Bayisirayeli, n'agamba Ezera nti: “Tusobezza mu maaso ga Mukama, ne tuwasa abakazi ab'amawanga amalala. Naye ne kaakano essuubi lya Yisirayeli likyaliwo. 93Kale kaakano tulagaanye Mukama okugoba abakazi ab'amawanga amalala n'abaana baabwe, 94nga ggwe n'abalala abawulira Amateeka ga Mukama bwe munaatuwa amagezi. 95Ggwe olina obuvunaanyizibwa. Naffe tukusemba. Guma omwoyo okikole.”
96Awo Ezera n'asituka, n'asookera ku kulayiza abakulembeze ba bakabona, n'ab'Abaleevi, n'abantu abalala abasigaddewo, okugoba bakazi baabwe ab'amawanga amalala.
Currently Selected:
1 ESIDERAASI 8: LBwD03
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.