Mar 10
10
1 #
Mat 19,1f; Luk 9,51. Eyo n'avaayo, n'ajja mu bitundu bya Buyudaaya n'emitala wa Yorudani; ebibiina ne bikuŋŋaanira w'ali nate, era n'abayigiriza nga bwe yali amanyidde okukola. 2#Mat 19,3-9.Abafarisaayo ne basembera w'ali ne bamubuuza nti: “Omusajja akkirizibwa okugoba mukazi we?” 3N'abaanukula nti: “Musa yabalagira ki?” 4#Et 24,1-4; Mat 5,31.Ne bagamba nti: “Musa yakkiriza omusajja okumuwandiikira ebbaluwa ey'obugobe n'okumusiibula.” 5Yezu n'abagamba nti: “Musa yalagira ekiwandiiko ekyo olw'okubeera obukakanyavu bw'emitima gyammwe; 6#Amas 1,27; 5,2.naye okuva mu masooka g'okutondebwa Katonda yabakola omusajja n'omukazi. 7#Amas 2,24.Olw'ekyo omusajja kyaliva alirekanga kitaawe ne nnyina n'agattibwa ne mukazi we, 8ababiri balifuuka omubiri gumu. Olwo nga tebakyali babiri, wabula omuntu omu. 9Awo nno Katonda ky'aggasse awamu, omuntu takigattululanga.” 10Mu nnyumba abayigirizwa be ne baddamu okumubuuza ku kigambo ekyo. 11#Mat 5,32; Luk 16,18; 1 Kor 7,10-11.N'abagamba nti: “Buli agoba mukazi we n'awasa omulala, aba ayenze eri mukazi we; 12n'omukazi singa anoba ku bba, n'afumbirwa omulala, aba ayenze.”
Baleetera Yezu abaana abato
13 #
Mat 19,13-15; Luk 18,15-17. Awo ne bamuleetera abaana abato abakwateko, naye abayigirizwa be ne babakomako. 14Yezu bwe yabalaba, n'anyiiga, n'abagamba nti: “Muleke abaana abato bajje gye ndi, temubaziyiza; kubanga abafaanana nga bano be bannannyini bwakabaka bwa Katonda. 15#Mat 18,3.Mazima mbagamba nti yenna atayaniriza bwakabaka bwa Katonda nga mwana muto, talibuyingiramu n'akamu.” 16N'abakwata mu mikono gye, n'abawa omukisa ng'abassaako emikono.
Omugagga alemwa okugoberera Yezu
17 #
Mat 19,16-30; Luk 18,18-30. Bwe yali yaakessa mu kkubo, omu n'amweyuna, n'amufukaamirira, n'amubuuza nti: “Muyigiriza omulungi, nkole ki okusikira obulamu obutaggwaawo?” 18Yezu n'amugamba nti: “Ompitidde ki omulungi? Teri mulungi okuggyako Katonda yekka. 19#Okuv 20,12-16; Et 5,16-20.Ebiragiro obimanyi: ‘Tottanga; Toyendanga; Tobbanga; Tojuliranga bya bulimba; Tolyakulanga; Ossangamu kitaawo ne nnyoko ekitiibwa.’ ” 20Ye n'ayanukula, n'amugamba nti: “Muyigiriza, ebyo byonna nabikwata okuva mu buto bwange.” 21Yezu n'amwekaliriza, n'amwagala, n'amugamba nti: “Okyabulwako kimu: genda, tunda by'olina owe abaavu, obugagga olibeera nabwo mu ggulu, ojje ongoberere.” 22Naye oli ne yennyika olw'ekigambo ekyo; n'agenda nga munakuwavu, kubanga yalina eby'obugagga bingi.
23Awo Yezu ne yeebunguluza amaaso, n'agamba abayigirizwa be nti: “Nga kiriba kizibu abalina obugagga okuyingira mu bwakabaka bwa Katonda!” 24Abayigirizwa ne beewuunya ebigambo ebyo. Yezu era n'addamu n'abagamba nti: “Obwana, nga kizibu okuyingira mu bwakabaka bwa Katonda! 25Kiba kyangu eŋŋamiya okuyita mu nnyindo y'empiso okusinga omugagga okuyingira mu bwakabaka bwa Katonda.” 26Bo ne bawuniikirira n'okusingawo ne bagambagana nti: “Awo nno ani asobola okulokoka?” 27Yezu n'abatunuulira, n'abagamba nti: “Ku bantu kino tekisoboka, naye si ku Katonda; kubanga ku Katonda byonna bisoboka.”
Empeera y'okweressa
28Petero n'asooka okumugamba nti: “Kale ffe twaleka byonna ne tukugoberera.” 29Yezu n'ayanukula nti: “Mazima mbagamba nti tewali muntu yaleka nnyumba, oba baganda be, oba bannyina, oba nnyina, oba kitaawe, oba baana, oba bibanja okubeera nze n'okubeera Evangili, 30atalifuna mu nsi muno mirundi kikumi nnyumba, baganda be, bannyina, bazadde abakazi, abaana ko n'okuyigganyizibwa, ate mu mirembe egirijja obulamu obutaggwaawo. 31#Mat 20,16; Luk 13,30.Naye bangi ab'olubereberye baliba ab'oluvannyuma, n'ab'oluvannyuma baliba ab'olubereberye.”
Okubonaabona akulanga ogwokusatu
32 #
Mat 20,17-19; Luk 18,31-33. Awo baali mu kkubo, nga bambuka e Yeruzaalemu, Yezu nga y'abakulembedde; nga bawuniikirivu, abamugoberera nga batya. N'azza ebbali Ekkumi n'Ababiri n'asooka okubabuulira ebigenda okumujjira, 33n'agamba nti: “Tuutuno twambuka e Yeruzaalemu; Omwana w'Omuntu ajja kuweebwayo mu bakabona abakulu n'abawandiisi; balimusalira ogw'okufa ne bamukwasa ab'amawanga; 34balimuduulira ne bamufujjira amalusu, balimuswanyuula era balimutta, naye oluvannyuma lw'ennaku ssatu alizuukira.”
Okusaba kw'abaana ba Zebedaayo
35 #
Mat 20,20-23. Awo Yakobo ne Yowanna batabani ba Zebedaayo ne basembera w'ali, ne bagamba nti: “Muyigiriza, twagala otukolere kyonna kye tunaakusaba.” 36Ye n'abagamba nti: “Mwagala mbakolere ki?” 37Ne bagamba nti: “Tuwe tutuule omu ku mukono gwo ogwa ddyo n'omulala ku mukono gwo ogwa kkono mu kitiibwa kyo.” 38#Luk 12,50.Yezu n'abagamba nti: “Kye musaba temukimanyi. Muyinza okunywa ekikompe kye nnywa oba okubatizibwa batismu gye mbatizibwa?” 39Bo ne bamugamba nti: “Tuyinza.” Yezu n'abagamba nti: “Weewaawo ekikompe kye nnywa nammwe mulikinywa, ne batismu gye mbatizibwa nammwe muligibatizibwa, 40naye okutuula ku mukono gwange ogwa ddyo oba ku mukono gwange ogwa kkono okukibawa si mulimu gwange, wabula kiriweebwa abo be kyategekerwa.”
41 #
Mat 20,24-28; Luk 22,24-27. Ekkumi bwe baawulira, ne basooka okunyiigira ab'oluganda Yakobo ne Yowanna. 42#Luk 22,25-26.Yezu n'abayita w'ali, n'abagamba nti: “Mumanyi ng'abo abalowoozebwa okuba abafuzi b'amawanga bagalaga obuyinza, n'abakulu baabwe babafuza maanyi; 43#Mat 23,11; Mar 9,35; Luk 22,26.sso mu mmwe si bwe kiri. Buli ayagala okubeera omukulu mu mmwe, abeere muweereza wammwe; 44ayagala okubeera omubereberye mu mmwe, abeere muddu wa bonna. 45Era ng'Omwana w'Omuntu, teyajja kuweerezebwa, wabula okuweereza n'okuwaayo obulamu bwe ng'omutango ku lw'abangi.”
Muzibe Baritimayo awonyezebwa
46 #
Mat 20,29-34; Luk 18,35-43. Ne batuuka e Yeriko. Bwe yali ava mu Yeriko ng'ali n'abayigirizwa be n'ekibiina kinene, Barutimayo mutabani wa Timayo, omusabiriza muzibe, yali atudde ku kkubo. 47Bwe yawulira nti yali Yezu ow'e Nazareti, n'atandika okukoowoola nti: “Yezu, Omwana wa Dawudi, nsaasira!” 48Bangi ne bamukomako, ne bamugamba asirike, naye ye n'aleekaana nnyo n'okusingawo nti: “Omwana wa Dawudi, nsaasira!” 49Yezu n'ayimirira, n'agamba nti: “Mumuyite.” Ne bayita muzibe, ne bamugamba nti: “Guma omwoyo, situka, akuyita.” 50Ye n'asuula eri omunagiro gwe, n'asituka n'ajja gy'ali. 51Yezu n'amugamba nti: “Oyagala nkukolere ki?” Muzibe n'amugamba nti: “Muyigiriza, ndabe.” 52Yezu n'amugamba nti: “Weetambulire, okukkiriza kwo kukuwonyezza.” Amangu ago n'addamu okulaba, n'agenda ng'amugoberera mu kkubo.
IV. YEZU MU YERUZAALEMU
A. OKUWAKANYIZIBWA
Currently Selected:
Mar 10: BIBU1
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
BIBULIYA ENTUKUVU SECOND EDITION © The Bible Society of Uganda, 2018.