Mat 6:16-18
Mat 6:16-18 BIBU1
“Bwe musiibanga, temwenakuwazanga ng'abakuusa bwe bakola; bafumyafumya amaaso gaabwe abantu balyoke babalabe nti basiiba; ka mbabuulire, empeera yaabwe yonna bagifunye. Naye ggwe ng'osiiba, omutwe gwo ogusiiganga omuzigo, amaaso go n'oganaaba, abantu baleme kukulaba nti osiiba, wabula Kitaawo ali mu nkiso y'aba akulaba; oyo Kitaawo alaba ebiri mu nkiso alikuweera.





