YouVersion Logo
Search Icon

Yis 5

5
1 # Mat 21,33-46; Mar 12,1-12; Luk 20,9-19. Ka nnyimbire mwagalwa wange oluyimba lw'ow'omukwano olukwata ku nnimiro ye:
“Omwagalwa wange yalina ennimiro y'emizabbibu ku lusozi olugimu.
2Yagikabala n'agirondamu amayinja,
n'asimbamu emizabbibu egy'embala.
Yagizimbamu omunaala wakati, n'agisimiramu essogolero,
n'alindirira ebale emizabbibu emirungi,
naye yabala mizabbibu egikambagga.
3“Kale nno mmwe abali mu Yeruzaalemu, nammwe abali mu Yuda,
mutusalirewo, nze n'ennimiro yange.
4Ennimiro yange nandigikoledde ki ekirala kye saakola?
Nali ngisuubira kubala mizabbibu mirungi,
lwaki yabala mizabbibu gikambagga gyokka?
5Kale nno ka mbabuulire kye nnaakolera ennimiro yange:
Nzija kugiggyako olukomera eyonoonebwe;
nzija kugimenyako bbugwe erinnyirirwe.
6Nzija kugizisa, nga tesalirwa yadde okulimibwamu,
emeze enkandwa n'amaggwa;
nzija na kulagira ebire bireme kutonnyesaamu nkuba.”
7Ennimiro y'Omukama w'Amagye ey'emizabbibu ye nnyumba ya Yisirayeli,
abantu ba Yuda bwe bulime bwe obumusanyusa;
yasuubira butuufu, wuuno mulimu kuyiwa musaayi;
yasuubira butuukirivu, wuuno mulimu miranga.
Ebikolimo
8Zibasanze abo abayunga ennyumba ku ginnaayo, abagatta ennimiro ku ndala
okutuusiza ddala nga tewakyaliwo bbanga.
Ne mwefunza ensi mwekka.
9Omukama w'Amagye kino kye yalayira nga mpulira nti:
“Mazima ennyumba nnyingi zirisigala matongo,
ennene n'ennungi ziribula asulamu.
10Yiika ekkumi ez'ennimiro y'emizabbibu zirivaamu bbati emu#5,10 Ze lita 22. yokka ey'evviini;
ne komeri#5,10 Ze lita 220 ey'ensigo erivaamu efa emu#5,10 Ze lita 22. yokka.”
11Zibasanze abakeera ku makya ne bagenda okunoonya omwenge,
ne babeera eyo okutuusa obudde okuziba,
okutuusa ng'evviini ebakoleezezzaamu omuliro.
12Balina ennanga n'entongooli ku binyumu byabwe,
era n'obugoma, endere n'evviini;
naye tebafa ku Mukama by'akola,
yadde okwekkaanya emikono gye bye gikola.
13Abantu bange nno kyebaliva bawaŋŋangusibwa,
kubanga tebategeera; abantu baabwe ab'ekitiibwa balifa enjala,
n'enkumu mu bo balikala olw'ennyonta.
14Olw'ekyo amagombe gaggulawo omumiro gwago,
ne gaasamya akamwa kaago awatali kuddirira;
abakungu ba Yeruzaalemu n'enkumu y'abantu balikkirira omwo
wamu n'abaakyo ababeera mu ndasano n'ebinyumu.
15Omuntu alifeebezebwa, obw'omuntu bulitoowazibwa,
amaaso g'abeekuza gagenda kussibwa wansi.
16Kyokka Omukama w'Amagye aligulumizibwa mu nnamula ye;
Katonda omutukuvu aliraga bwali omutukuvu mu butuukirivu bwe.
17Olwo endiga zirirya ng'eziriira mu malundiro gaazo;
obuliga n'obubuzi buliriira mu by'abagagga ebifuuse amatongo.
18Zibasanze abo abaleetera ebibi ku nkoba z'obulimba,
n'obwonoonefu ku miguwa gy'ebigaali,
19n'abasoomooza nti: “Katonda ayanguwe.
Ky'akola, akikole mangu, tukirabe. Zisembere,
entegeka z'Omutuukirivu wa Yisirayeli zituuke,
naffe tuzimanye!”
20Zibasanze abo ekibi abakiyita ekirungi, n'ekirungi ekibi;
n'abassaawo ekizikiza mu kifo ky'ekitangaala,
n'ekitangaala mu kifo ky'ekizikiza;
abassa ekikaawa mu kifo ky'ekiwoomerera,
n'ekiwoomerera mu kifo ky'ekikaawa!
21Zibasanze abo abeetwala ng'abagezi,
abeeyita abategeevu mu ndaba yaabwe!
22Zibasanze abo abazira mu kunywa evviini,
bakafulu mu kusiwa emyenge,
23kubanga olw'enguzi, abasonyiwa alina omusango,
ataliiko musango ne bamumma okwejjeerera.
24N'olw'ekyo nno ng'olulimi lw'omuliro bwe lulya essubi,
era ng'ebisusunku bwe biggweerera mu nnimi z'omuliro,
n'ekikolo kyabwe bwe kirivunda kityo,
n'ekimuli kyabwe bwe kirifumuuka ng'enfuufu;
kubanga bagaya etteeka ly'Omukama w'Amagye,
ne banyooma ekigambo ky'Omutuukirivu wa Yisirayeli.
25Bwe kityo obusungu bw'Omukama bweseredde ku bantu be;
abagololeddeko omukono gwe n'abakuba.
Ensozi zikankana,
n'emirambo gy'abafu giri ng'obusa mu nguudo.
Era olwa kino obusungu bwe tebunnaggwerayo ddala,
era n'omukono gwe gukyagoloddwa.
26Awanikidde eggwanga eriri ewala akabonero,
alifuuyidde oluwa okuva ku nsonda y'ensi;
liiryo lijjira ku mbiro, ku misinde.
27Mu bo temuli aggwaamu maanyi yadde ayenjebuka;
temuli asumagira yadde ayeebaka;
tewali musipi gwa mu kiwato guddiridde,
na lukoba lwa ngatto lukutuse.
28Obusaale bwabwe bwogi, emitego gyabwe gyonna miwete,
ebinuulo by'embalaasi zaabwe biri nga lwazi,
ne nnamuziga z'ebigaali byabwe ziri ng'embuyaga.
29Okuwuluguma kwabyo kuli ng'okw'empologoma;
biwuluguma ng'obwana bw'empologoma;
buvuuma nga bugwira omunyago gwabwo,
ne bugutwala, tewali agubuwonya.
30Ku olwo balivuumirako ng'ennyanja bw'evuuma;
oli bw'alitunula ku nsi, aliraba nzikiza na nnaku;
n'ekitangaala kiriddugazibwa ekire kyalwo.
B. EKITABO KYA YIMMANWELI
Okuyitibwa kwa Yisaaya

Currently Selected:

Yis 5: BIBU1

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in