Zekkaliya 3
3
1 #
1 Byom 21:1, Zab 109:6, Ezer 3:2 N'anjolesa Yosuwa, kabona asinga obukulu, ng'ayimiridde mu maaso ga malayika wa Mukama, ne Setaani ng'ayimiridde ku mukono gwe ogwa ddyo abe omulabe we. 2#Am 4:11, Yud 9Mukama n'agamba Setaani nti Mukama akunenye, ggwe Setaani; weewaawo, Mukama eyeerobozezza Yerusaalemi akunenye: oyo si kisiriiza ekikwakkulibwa mu muliro? 3Era Yosuwa yali ayambadde engoye ez'ekko n'ayimirira mu maaso ga malayika. 4#Is 6:7; 61:10, Luk 1:19; 15:22, Kub 7:14; 19:8N'addamu n'agamba abo abaali bayimiridde mu maaso ge, n'ayogera nti Mumwambuleko engoye ez'ekko. N'agamba Yosuwa nti Laba, mkuyisizzaako obubi bwo; nange naakwambaza ebyambalo ebitenkanika. 5#Yob 29:14Ne njogera nti Bamutikkire ku mutwe gwe ekiremba ekitukula. Awo ne bamutikkira ku mutwe gwe ekiremba ekitukula ne bamwambaza engoye; malayika wa Mukama n'ayimirira awo. 6Malayika wa Mukama n'alabula nnyo Yosuwa, ng'ayogera 7#Leev 8:35, Ma 17:9nti Bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye nti Bw'onootambuliranga mu makubo gange, era bye nkuutira bw'onoobinywezanga, kale naawe ennyumba yange onoogisaliranga omusango, n'empya zange onoozikuumanga, era ndikuwa ekifo eky'okusembereramu mu banno abayimiridde. 8#Is 11:1; 42:1, Yer 23:5, Ez 12:11, Zek 6:12Kale, wulira, Yosuwa kabona asinga obukulu, ggwe ne banno abatuula mu maaso go; kubanga be bantu ab'akabonero bano; kubanga, laba, ndireeta omuddu wange Ettabi. 9#Ez 3:10, Zek 2:9Kubanga, laba, ejjinja lye nteese mu maaso ga Yosuwa; ku jjinja limu kuliko amaaso musanvu; laba, ndyolako enjola zaalyo, bw'ayogera Mukama w'eggye; ndiggyamu obubi mu nsi eyo ku lunaku lumu. 10#2 Byom 16:9, Kag 2:3, Zek 3:9Ku lunaku luli, bw'ayogera Mukama w'eggye, munaayitanga buli muntu munne okujja wansi w'omuzabbibu ne wansi w'omutiini.
Currently Selected:
Zekkaliya 3: LUG68
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda Bible 1968 Edition © United Bible Societies 1968, and British and Foreign Bible Society, London, England, 1954, 1967, 1972, 1994 and The Bible Society of Uganda, 2013.