YouVersion Logo
Search Icon

Zekkaliya 1

1
1Mu mwezi ogw'omunaana, mu mwaka ogw'okubiri ogwa Daliyo, ekigambo kya Mukama kyajja gy'ali Zekkaliya, omwana wa Berekiya, omwana wa Iddo, nnabbi, nga kyogera 2#Ezer 6:14, Nek 12:4,16, Kag 2:1,10nti Mukama asunguwalidde nnyo bajjajjammwe. 3#Is 31:6, Yer 3:22, Mi 7:19, Mal 3:7Kyova obagamba nti Bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye nti Mudde gye ndi, bw'ayogera Mukama w'eggye, nange ndidda gye muli, bw'ayogera Mukama. 4#2 Byom 36:15,16, Zab 78:8, Zek 7:11, Zek 7:11Muleme okuba nga bajjajjammwe bannabbi ab'edda be baagambiranga waggulu nti Bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye nti Kale muve mu makubo gammwe amabi ne mu bikolwa byammwe ebibi, so tebaawulira so tebampuliriza, bw'ayogera Mukama. 5#Yob 14:10, Yok 8:52Bajjajjammwe bali ludda wa? ne bannabbi baba balamu emirembe gyonna? 6#Ma 28:15, Is 40:8, Kung 2:17, Ez 36:31, Dan 9:6, Yob 1:7Naye ebigambo byange n'amateeka gange, bye nnalagira abaddu bange, bannabbi, tebyabasanga bajjajjammwe? ne bakyuka ne boogera nti Nga Mukama w'eggye bwe yalowooza okutukola ffe, ng'amakubo gaffe bwe gali n'ebikolwa byaffe nga bwe biri, bw'atyo bwe yatukola.
7Olunaku olw'amakumi abiri mu nnya, olw'omwezi ogw'ekkumi n'ogumu, gwe mwezi Sebati, mu mwaka ogw'okubiri ogwa Daliyo, ekigambo kya Mukama kyajja eri Zekkaliya, omwana wa Berekiya, omwana wa Iddo, nnabbi, nga kyogera 8#Kuv 6:4nti Natunula ekiro; era, laba, omuntu nga yeebagadde embalaasi ya lukunyu, era ng'ayimiridde wakati w'emiti emikadasi egyali mu kiwonvu; n'ennyuma we embalaasi, eza lukunyu n'eza kikuusikuusi n'enjeru. 9#Kub 22:6Awo ne njogera nti Ai mukama wange, ebyo biki? Malayika eyali ayogera nange n'aŋŋamba nti Naakwolesa ebyo bwe biri. 10#Yob 1:7, Beb 1:14Omuntu eyali ayimiridde wakati w'emikadasi n'addamu n'ayogera nti Ebyo Mukama by'atumye okutambulatambula ku nsi. 11Ne biddamu malayika wa Mukama eyali ayimiridde wakati w'emikadasi ne byogera nti Tutambuddetambudde ku nsi, era laba, ensi yonna eteredde ewummudde. 12#Zab 80:4; 102:13, Yer 25:11; 29:10Malayika wa Mukama n'addamu n'ayogera nti Ai Mukama w'eggye, olituusa wa obutasaasira Yerusaalemi n'ebibuga bya Yuda, bye waakanyiikaalirira emyaka ensanvu? 13#Yer 29:11, Kub 6:10Mukama n'addamu malayika eyali ayogera nange ebigambo ebirungi, ebigambo eby'essanyu. 14#Yo 2:18, Zek 8:2Malayika eyali ayogerera nange n'aŋŋamba nti Yogerera waggulu ng'ogamba nti Bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye; nkwatiddwa Yerusaalemi ne Sayuuni obuggya, obuggya obungi. 15#Is 47:6N'obusungu obungi nsunguwalidde amawanga abawummula; kubanga nze nnanyiigako katono, bo ne bongera ku kubonaabona okwo. 16#Ezer 6:14, Yer 31:39Mukama kyava ayogera bw'ati nti Nkomyewo e Yerusaalemi n'ekisa; ennyumba yange erizimbibwa omwo, bw'ayogera Mukama w'eggye, n'omugwa gulireegebwa ku Yerusaalemi. 17#Is 40:1; 51:3Yogerera waggulu nate ng'ogamba nti Bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye nti Oliboolyawo ebibuga byange ne byanjaala olw'okulaba ebirungi; oliboolyawo Mukama n'asanyusa Sayuuni, oliboolyawo ne yeeroboza Yerusaalemi.
18 # 1 Bassek 22:11 Ne nnyimusa amaaso gange ne ntunula; era, laba, amayembe ana. 19Ne ŋŋamba malayika eyali ayogera nange nti Ago maki? N'anziramu nti Gano ge mayembe agaasaasaanya Yuda ne Isiraeri ne Yerusaalemi. 20Mukama n'anjolesa abaweesi bana. 21#Zab 75:4,5Ne njogera nti Abo bajja kukola ki? N'ayogera nti Gano ge mayembe agaasaasaanya Yuda omuntu n'okuyimusa n'atayimusa mutwe gwe; naye bano bazze okugasaggula, okusuula amayembe g'amawanga agaayimusizanga ejjembe lyabwe ku nsi ya Yuda okugisaasaanya.

Currently Selected:

Zekkaliya 1: LUG68

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in

YouVersion uses cookies to personalize your experience. By using our website, you accept our use of cookies as described in our Privacy Policy