YouVersion Logo
Search Icon

Luusi 3

3
1 # Luus 1:9 Awo Nawomi nnyazaala we n'amugamba nti Mwana wange, siikunoonyeze kuwummula, obe bulungi? 2#Luus 2:1,8Era kaakano Bowaazi muganda waffe taliiwo gye wabeeranga n'abazaana be? Laba, awewa sayiri ekiro kino mu gguuliro. 3#2 Sam 12:20Kale naaba osaabe amafuta, oyambale ebyambalo byo, oserengete mu gguuliro: naye teweetegeeza eri omusajja oyo okutuusa lw'anaamala okulya n'okunywa. 4Awo olunaatuuka bw'anaagalamira, wekkaanye ekifo mw'anaagalamira, naawe n'oyingira n'obikkula ebigere bye, n'ogalamira; naye anaakubuulira bw'onookola. 5N'amugamba nti Byonna by'oyogedde naabikola. 6N'aserengeta mu gguuliro, n'akola nga byonna bwe bibadde nnyazaala we bw'amulagidde. 7Awo Bowaazi bwe yamala okulya n'okunywa, omutima gwe nga gusanyuse, n'agenda okugalamira ku mabbali g'entuumo y'eŋŋaano: n'ajja ng'asooba, n'abikkula ku bigere bye, n'agalamira. 8Awo olwatuuka mu ttumbi omusajja n'atya ne yeekyusa: era, laba, omukazi ng'agalamidde ku bigere bye. 9#Luus 2:20, Ez 16:8N'ayogera nti Ggwe ani? N'addamu nti Nze Luusi omuzaana wo: kale bikka ekyambalo kyo ku muzaana wo; kubanga oli mununuzi wange. 10#Luus 1:8; 2:11,20N'ayogera nti Oweebwe Mukama omukisa, mwana wange: olaze ekisa ekisinga obungi enkomerero okukira olubereberye, kubanga togobereranga balenzi, oba baavu oba bagagga. 11#Nge 12:4; 31:10 Ne kaakano, mwana wange, totya; naakukola byonna by'oyogera: kubanga ekibuga kyonna eky'abantu bange bamanyi ng'oli mukazi mwegendereza. 12Era kaakano kya mazima nga nze mununuzi wo: naye waliwo omulala asinga nze oluganda. 13#Ma 25:5, Luus 4:5, 1 Sam 14:39, 2 Sam 4:9; 12:5, 2 Bassek 2:2Beera wano ekiro kino, awo olunaatuuka enkya bw'anaakukolera emirimu egy'oluganda, kale; akole emirimu egy'oluganda: naye bw'atakkirize kukukolera mirimu gya luganda, kale nze ndikukolera emirimu egy'oluganda, nga Mukama bw'ali omulamu: galamira okeese obudde. 14N'agalamira ku bigere bye okukeesa obudde: n'agolokoka omuntu nga tannayinza kwekkaanya munne. Kubanga yayogera nti Kireme okumanyibwa ng'omukazi ono azze mu gguuliro. 15N'ayogera nti Leeta omunagiro gw'oyambadde, ogukwate; n'agukwata: n'agera ebigero mukaaga ebya sayiri, n'abimutikka: n'agenda mu kibuga. 16Awo bwe yatuuka eri nnyazaala we, n'ayogera nti Ggwe ani, mwana wange? N'amubuulira byonna omusajja by'amukoledde. 17N'amugamba nti Ebigero bino omukaaga ebya sayiri abimpadde; kubanga ayogedde nti Togenda eri nnyazaala wo nga tolina kantu. 18N'alyoka agamba nti Tuula ng'osirika, mwana wange, okutuusa lw'olimanya ebigambo gye birikkira; kubanga omusajja oyo tajja kuwummula okutuusa lw'anaamalawo ekigambo kino leero.

Currently Selected:

Luusi 3: LUG68

Highlight

Copy

Compare

Share

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in