YouVersion Logo
Search Icon

Okubikkulirwa 1

1
1 # Dan 2:28,29 Okubikkulirwa kwa Yesu Kristo Katonda kwe yamuwa okulaga abaddu be ebigwanira okubaawo amangu: n'abuulirira mu malayika we ng'amutuma eri omuddu we Yokaana, 2#Kub 6:9eyategeeza ekigambo kya Katonda n'okutegeeza kwa Yesu Kristo, byonna bye yalaba. 3#Kub 22:7,10Alina omukisa oyo asoma, n'abo abawulira ebigambo by'obunnabbi buno, era n'abakwata ebiwandiikiddwa mu bwo: kubanga ekiseera kiri kumpi.
4 # Kuv 3:14,15, Is 41:4, Kub 3:1; 5:6 Yokaana eri ekkanisa omusanvu ez'omu Asiya: ekisa kibeerenga nammwe n'emirembe ebiva eri oyo abaawo era eyabaawo era ajja okubaawo; era ebiva eri emyoyo omusanvu egiri mu maaso g'entebe ye; 5#Zab 89:27,37; 130:8, Is 40:2, Yok 18:37, Bak 1:18, Beb 9:14, Kub 3:14; 7:14; 19:16era ebiva eri Yesu Kristo, omujulirwa omwesigwa, omubereberye w'abafu, era afuga bakabaka b'omu nsi. Atwagala, era eyatusumulula mu bibi byaffe olw'omusaayi gwe; 6#Kub 5:10, 1 Peet 2:5,9, Kuv 19:6, Is 61:6n'atufuula obwakabaka, bakabona eri Katonda Kitaawe; ekitiibwa n'obuyinza bibeerenga eri oyo emirembe n'emirembe. Amiina. 7#Dan 7:13, Zek 12:10-14, Yok 19:37, Luk 23:27,28Laba, ajja n'ebire; era buli liiso lirimulaba, n'abo abaamufumita; n'ebika byonna eby'omu nsi birimukubira ebiwoobe. Weewaawo, Amiina.
8 # Kuv 3:14, Is 41:4, Kub 4:8; 21:6 Nze ndi Alufa ne Omega, bw'ayogera Mukama Katonda, abaawo era eyabaawo era ajja okubaawo, Omuyinza w'ebintu byonna.
9Nze Yokaana muganda wammwe era assa ekimu mu kubonaabona ne mu bwakabaka ne mu kugumiikiriza ebiri mu Yesu, nnali ku kizinga ekiyitibwa Patumo, olw'ekigambo kya Katonda era n'olw'okutegeeza kwa Yesu. 10Nnali mu Mwoyo ku lunaku lwa Mukama waffe, ne mpulira ennyuma wange eddoboozi ddene, ng'ery'akagombe, 11#Kub 2:8; 22:13nga koogera nti Ky'olaba, wandiika mu kitabo, okiweereze ekkanisa omusanvu; eri Efeso, n'eri Sumuna, n'eri Perugamo, n'eri Suwatira, n'eri Saadi, n'eri Firaderufiya, n'eri Lawodikiya. 12Ne nkyuka okulaba eddoboozi eryayogera nange. Bwe nnakyuka, ne ndaba ettabaaza musanvu eza zaabu; 13#Ez 1:26; 8:2, Dan 7:13; 10:5ne wakati w'ettabaaza ne ndaba afaanana ng'omwana w'omuntu, ng'ayambadde okutuuka ku bigere, era ng'asibiddwa mu kifuba olukoba olwa zaabu. 14#Dan 7:9; 10:6, Kub 2:18; 19:12N'omutwe gwe n'enviiri ze nga zitukula ng'ebyoya by'endiga ebitukula ng'omuzira; n'amaaso ge ng'ennimi z'omuliro; 15#Ez 1:24; 43:2n'ebigere bye nga bifaanana ng'ekikomo ekizigule, ng'ekirongoosebbwa mu muliro; n'eddoboozi lye nga liri ng'eddoboozi ly'amazzi amangi. 16#Balam 5:31, Kub 2:12,16; 19:15Era ng'akutte mu mukono gwe ogwa ddyo emmunyeenye musanvu: ne mu kamwa ke ne muvaamu ekitala ekisala eky'obwogi obubiri: n'obwenyi bwe nga buli ng'enjuba bw'eyaka mu maanyi gaayo. 17#Is 44:6; 48:12, Dan 8:18; 10:15-19Bwe nnamulaba, ne ngwa ku bigere ng'afudde. N'anteekako omukono gwe ogwa ddyo, ng'ayogera nti Totya; nze w'olubereberye era ow'enkomerero, 18era Omulamu; era nnali nfudde, era, laba, ndi mulamu emirembe n'emirembe, era nnina ebisumuluzo eby'okufa n'eby'Emagombe. 19#Is 48:6, Dan 2:29Kale wandiika by'olabye, n'ebiriwo, n'ebigenda okubaawo oluvannyuma lw'ebyo; 20#Mal 2:7, Dan 2:29, Kub 13:2; 3:8ekyama ky'emmunyeenye omusanvu z'olabye mu mukono gwange ogwa ddyo n'ettabaaza omusanvu eza zaabu. Emmunyeenye omusanvu be bamalayika b'ekkanisa omusanvu: n'ettabaaza ze kkanisa omusanvu.

Currently Selected:

Okubikkulirwa 1: LUG68

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in

YouVersion uses cookies to personalize your experience. By using our website, you accept our use of cookies as described in our Privacy Policy