Zabbuli 6
6
Ya mukulu w'abayimbi: ey'ebintu eby'engoye eby'ekiseminisi. Zabbuli ya Dawudi.
1 #
Zab 38:1, Beb 12:5,6 Ai Mukama, tonnenya mu busungu bwo,
So tombuulirira mu kiruyi kyo ekibuubuuka.
2 #
Zab 41:4, Kos 6:1 Onsaasire, ai Mukama; kubanga mpotokedde ddala:
Ai Mukama, omponye; kubanga amagumba gange geeraliikiridde.
3 #
Yok 12:27, Yob 8:4, Zab 35:23; 94:2, Is 33:10 Era n'emmeeme yange yeeraliikiridde nnyo:
Naawe, ai Mukama, olituusa wa?
4Komawo, ai Mukama, ondokole emmeeme yange:
Omponye olw'ekisa kyo.
5 #
Zab 30:9; 88:10-12; 115:17, Is 38:18 Kubanga tewali akujjuukirira mu kufa:
Ani alikwebaliza mu magombe?
6 #
Zab 69:3
Okusinda kwange kunkooyezza;
Buli kiro nkulukusa ekiriri kyange;
Ekitanda kyange nkitobya n'amaziga.
7 #
Zab 31:9; 88:9 Eriiso lyange likulukuse olw'okunakuwala;
Likaddiye olw'abalabe bange bonna.
8 #
Mat 7:23; 25:41 Muveewo we ndi, mwenna abakola ebitali bituukirivu;
Kubanga Mukama awulidde eddoboozi ly'okukaaba kwange.
9 #
Zab 31:22, Yob 8:3, Nak 1:2 Mukama awulidde okwegayirira kwange;
Mukama anakkirizanga okusaba kwange.
10 #
Zab 40:14
Abalabe bange bonna baliswazibwa, balyeraliikirira nnyo:
Balidda ennyuma, baliswazibwa mangu.
Currently Selected:
Zabbuli 6: LUG68
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda Bible 1968 Edition © United Bible Societies 1968, and British and Foreign Bible Society, London, England, 1954, 1967, 1972, 1994 and The Bible Society of Uganda, 2013.