Zabbuli 110
110
Zabbuli ya Dawudi.
1 #
Mak 12:36, Bik 2:34,35, 1 Kol 15:25, Beb 1:13; 10:12,13 Mukama agamba mukama wange nti
Tuula ku mukono gwange ogwa ddyo,
Okutuusa lwe ndifuula abalabe bo entebe y'ebigere byo.
2 #
Zab 45:6, Dan 7:14 Mukama alisindika omuggo ogw'amaanyi go okuva mu Sayuuni:
Ggwe fugira wakati mu balabe bo.
3 #
Balam 5:2, Zab 96:9 Abantu bo beewaayo n'omwoyo ogutawalirizibwa ku lunaku olw'obuyinza bwo:
Mu bulungi obw'obutukuvu, olina omusulo ogw'obuvubuka bwo,
Oguva mu lubuto lw'enkya.
4 #
Lub 14:18, Kubal 23:19, Zek 6:13, Beb 5:6; 6:17,18,20; 7:17,21 Mukama yalayira, so talyejjusa,
Nti Ggwe oli kabona emirembe gyonna
Ng'engeri ya Merukizeddeeki bw'eri.
5 #
Zab 2:5,12; 16:8, Bar 2:5, Kub 11:18 Mukama ku mukono gwo ogwa ddyo
Alifumita bakabaka ku lunaku olw'obusungu bwe.
6 #
Zab 68:21, Is 2:4, Yo 3:12 Alisala emisango mu mawanga,
Alijjuza ebifo emirambo
Alifumita omutwe mu nsi ennyingi.
7Alinywa ku nsulo eri mu kkubo:
Kyaliva ayimusa omutwe.
Currently Selected:
Zabbuli 110: LUG68
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda Bible 1968 Edition © United Bible Societies 1968, and British and Foreign Bible Society, London, England, 1954, 1967, 1972, 1994 and The Bible Society of Uganda, 2013.