Okubala 4
4
1Mukama n'agamba Musa ne Alooni 2nti Mubale omuwendo gw'abaana ba Kokasi ku baana ba Leevi, ng'enda zaabwe bwe ziri, ng'ennyumba za bakitaabwe bwe ziri, 3#Kubal 4:23,30,35,39,43,47; 8:24, 1 Byom 23:3,24,27abaakamaze emyaka asatu n'okukirawo okutuusa ku myaka ataano, bonna abayingira mu kuweereza okwo, okukolanga omulimu mu weema ey'okusisinkanirangamu. 4#Kubal 4:19Guno gwe mulimu gw'abaana ba Kokasi mu weema ey'okusisinkanirangamu, ogw'ebintu ebitukuvu ennyo: 5#Kuv 25:10,16; 26:31olusiisira bwe lunaasitulanga, Alooni anaayingiranga n'abaana be ne batimbulula eggigi eritimbibwa, ne balibikka ku sanduuko ey'obujulirwa: 6#Kuv 25:13ne bateeka okwo amaliba g'eŋŋonge okubikkako, ne baaliirira okwo olugoye olwa kaniki lwonna, ne bayingiza emisituliro gyayo. 7#Kuv 25:23-30, Leev 24:6,8Ne ku mmeeza ey'emigaati egy'okulaga banaayaliirangako olugoye olwa kaniki ne bateeka okwo essowaani, n'ebijiiko, n'ebibya, n'ebikompe eby'okufukanga nabyo: n'emigaati egitavangawo ginaabanga okwo: 8#Kuv 25:28era banaayaliiranga ku byo olugoye olumyufu, ne balusabikako olwo n'amaliba g'eŋŋonge agasabika, ne bayingiza emisituliro gyayo. 9#Kuv 25:31-38Ne baddira olugoye olwa kaniki, ne basabika ku kikondo ky'ettabaaza, n'eby'ettabaaza byakyo, ne makansi yaakyo, n'essowaani zaakyo ez'ebisiriiza, n'ebintu byakyo byonna eby'amafuta, bye bakiweerezesa: 10ne bakisiba kyo n'ebintu byakyo byonna mu maliba g'eŋŋonge agasabika, ne bakiteeka ku muti. 11#Kuv 30:1,3,5Ne ku kyoto ekya zaabu banaayaliirangako olugoye olwa kaniki, ne balusabikako amaliba g'eŋŋonge agasabika, ne bayingiza emisituliro gyakyo: 12ne baddira ebintu byonna eby'okuweereza, bye baweerezesa mu watukuvu, ne babisiba mu lugoye olwa kaniki, ne babisabikako amaliba g'eŋŋonge agasabika, ne babiteeka ku muti. 13Ne baggya evvu mu kyoto, ne bakyaliirako olugoye olw'effulungu: 14ne bakiteekako ebintu byakyo byonna, bye baweerezesa emirimu gyakyo, emmumbiro, n'eby'okukwasa ennyama, n'ebijiiko, n'ebibya, ebintu byonna eby'ekyoto; ne bakyaliirako amaliba g'eŋŋonge agasabika, ne bayingiza emisituliro gyakyo. 15#Kubal 3:31; 7:9, 2 Sam 6:6,7Awo Alooni ne batabani be bwe banaamaliranga ddala okusabika ku watukuvu, n'ebintu byonna eby'omu watukuvu, olusiisira nga lunaatera okusitula; oluvannyuma batabani ba Kokasi ne balyoka bajja okubisitula: naye tebakomanga ku watukuvu, baleme okufa. Ebyo gwe mugugu gwa batabani ba Kokasi mu weema ey'okusisinkanirangamu. 16#Kuv 25:6; 29:40,41; 30:25,34,35, Kubal 3:32Ne Eriyazaali mutabani wa Alooni kabona by'anaateresebwa binaabanga mafuta ga ttabaaza n'obubaane obw'akaloosa, n'ekiweebwayo eky'obutta ekitavaawo, n'amafuta ag'okufukako, anaateresebwanga eweema yonna, n'ebigirimu byonna, awatukuvu n'ebintu byayo.
17Mukama n'agamba Musa ne Alooni nti 18Ekika eky'ennyumba z'Abakokasi temukisalako okukiggya mu Baleevi: 19naye mubakole bwe mutyo, babenga abalamu, balemenga okufa, ng'abasemberera ebintu ebitukuvu ennyo: Alooni ne batabani be banaayingiranga, ne balagira buli muntu okuweereza kwe n'omugugu gwe: 20#Kuv 19:21, 1 Sam 6:19naye tebayingiranga n'akamu kokka kulaba watukuvu, baleme okufa.
21Mukama n'agamba Musa 22nti Bala omuwendo gw'abaana ba Gerusoni nabo, ng'ennyumba za bakitaabwe bwe ziri, ng'enda zaabwe bwe ziri; 23abaakamaze emyaka asatu n'okukirawo okutuusa ku myaka ataano b'oba obala; bonna abayingira okulwana olutalo olwo, okukola omulimu mu weema ey'okusisinkanirangamu. 24Kuno kwe kuweereza kw'enda ez'Abagerusoni, mu kuweereza ne mu kusitula emigugu: 25#Kuv 26:1-14,36, Kubal 3:25,26banaasitulanga amagigi ag'ennyumba, n'eweema ey'okusisinkanirangamu, ebisabika ku yo, n'amaliba g'eŋŋonge agagisabikako waggulu, n'eggigi ery'oluggi lw'eweema ey'okusisinkanirangamu; 26n'ezitimbibwa ez'oluggya, n'eggigi ery'oluggi lwa wankaaki w'oluggya, oluli ku weema ne ku kyoto enjuyi zonna, n'emigwa gyabyo, n'ebintu byonna eby'okuweereza kwabyo, n'emirimu gyonna gye binaakolanga, ebyo bye banaaweerezanga. 27Alooni ne batabani be be banaalagiranga okuweereza kwonna okwa batabani ba Gerusoni, mu kusitula kwabwe kwonna ne mu kuweereza kwabwe kwonna: era mmwe munaabagabiranga okusitula kwabwe kwonna okubakukwasa. 28Okwo kwe kuweereza kw'enda za batabani ba Gerusoni mu weema ey'okusisinkanirangamu: n'okulagirwa kwabwe kunaabanga wansi w'omukono gwa Isamaali mutabani wa Alooni kabona.
29Batabani ba Merali, onoobabala ng'enda zaabwe bwe ziri, ng'ennyumba za bakitaabwe bwe ziri; 30abaakamaze emyaka asatu n'okukirawo okutuusa emyaka ataano b'oba obala, buli ayingira mu kuweereza, okukolanga omulimu ogw'eweema ey'okusisinkanirangamu. 31#Kubal 3:36Era kino kye kiragiro eky'okusitula kwabwe, ng'okuweereza kwabwe kwonna bwe kuli mu weema ey'okusisinkanirangamu; embaawo ez'ennyumba, n'emisituliro gyayo, n'empagi zaayo, n'ebinnya byayo; 32#Kubal 3:37n'empagi ez'oluggya olwetooloola, n'ebinnya byazo, n'enninga zaazo, n'emigwa gyazo, wamu n'ebintu byazo byonna, n'okuweereza kwazo kwonna: era munaabagabiranga ng'amannya gaabwe bwe gali ebintu bye banaalagirwanga bye banaasitulanga. 33Okwo kwe kuweereza kw'enda za batabani ba Merali, ng'okuweereza kwabwe kwonna bwe kuli, mu weema ey'okusisinkanirangamu, wansi w'omukono gwa Isamaali mutabani wa Alooni kabona.
34Awo Musa ne Alooni n'abakulu b'ekibiina ne babala batabani b'Abakokasi, ng'enda zaabwe bwe zaali, era ng'ennyumba za bakitaabwe bwe zaali, 35abaali baakamaze emyaka asatu n'okukirawo okutuusa emyaka ataano, buli eyayingira mu kuweereza, okukolanga omulimu mu weema ey'okusisinkanirangamu: 36era abo abaabalibwa ku bo ng'enda zaabwe bwe zaali baali enkumi bbiri mu lusanvu mu ataano. 37Abo be baabalibwa ku nda ez'Abakokasi, bonna abaaweerezanga mu weema ey'okusisinkanirangamu, Musa ne Alooni be baabala ng'ekiragiro kya Mukama bwe kyali mu mukono gwa Musa.
38N'abo abaabalibwa ku batabani ba Gerusoni, ng'enda zaabwe bwe zaali, era ng'ennyumba za bakitaabwe bwe zaali, 39abaali baakamaze emyaka asatu n'okukirawo okutuusa emyaka ataano, buli eyayingira mu kuweereza, okukolanga omulimu mu weema ey'okusisinkanirangamu, 40abo abaabalibwa ku bo, ng'enda zaabwe bwe zaali, ng'ennyumba za bakitaabwe bwe zaali, baali enkumi bbiri mu lusanvu mu asatu. 41Abo be baabalibwa ku nda za batabani ba Gerusoni, bonna abaaweerezanga mu weema ey'okusisinkanirangamu, Musa ne Alooni be baabala ng'ekiragiro kya Mukama bwe kyali.
42N'abo abaabalibwa ku nda za batabani ba Merali, ng'enda zaabwe bwe zaali, ng'ennyumba za bakitaabwe bwe zaali, 43abaakamaze emyaka asatu n'okukirawo okutuusa emyaka ataano, buli eyayingira mu kuweereza, okukolanga omulimu mu weema ey'okusisinkanirangamu, 44abo abaabalibwa ku bo ng'enda zaabwe bwe zaali, baali enkumi bbiri mu bibiri. 45Abo be baabalibwa ku nda za batabani ba Merali Musa ne Alooni be baabala ng'ekiragiro kya Mukama bwe kyali mu mukono gwa Musa.
46Abo bonna abaabalibwa ku Baleevi, Musa ne Alooni n'abakulu ba Isiraeri be baabala, ng'enda zaabwe bwe zaali, era ng'ennyumba za bakitaabwe bwe zaali, 47abaali baakamaze emyaka asatu n'okukirawo okutuusa emyaka ataano, buli eyayingira okukolanga omulimu ogw'okuweereza, n'omulimu ogw'okusitula emigugu mu weema ey'okusisinkanirangamu, 48abo abaabalibwa ku bo baali kanaana mu bitaano mu kinaana. 49Ng'ekiragiro kya Mukama bwe kyali, baabalibwa n'omukono gwa Musa buli muntu ng'okuweereza kwe bwe kwali, era ng'okusitula kwe bwe kwali: bw'atyo bwe yababala, nga Mukama bwe yalagira Musa.
Currently Selected:
Okubala 4: LUG68
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda Bible 1968 Edition © United Bible Societies 1968, and British and Foreign Bible Society, London, England, 1954, 1967, 1972, 1994 and The Bible Society of Uganda, 2013.