Okubala 36
36
1 #
Kubal 26:29
Awo emitwe gy'ennyumba za bakitaabwe ez'enda y'abaana ba Gireyaadi, mutabani wa Makiri, mutabani wa Manase, ow'oku nda za batabani ba Yusufu, ne basembera ne boogerera mu maaso ga Musa ne mu maaso g'abakulu, emitwe gy'ennyumba za bakitaabwe ez'abaana ba Isiraeri: 2#Kubal 26:55; 27:1,7, Yos 17:3,4ne boogera nti Mukama yalagira mukama wange okugabira abaana ba Isiraeri ensi n'obululu okuba obusika: era mukama wange yalagirwa Mukama okugabira obusika bwa Zerofekadi muganda waffe bawala be. 3Era bwe banaafumbirwanga yenna ku baana b'ebika by'abaana ba Isiraeri ebirala, kale obusika bwabwe bunaggibwanga ku busika bwa bakitaffe, ne bugattibwa ku busika obw'ekika kye balibaamu: bwe butyo buliggibwa ku mugabo gw'obusika bwaffe. 4#Leev 25:10Awo jjubiri ogw'abaana ba Isiraeri bwe gulituuka, kale obusika bwabwe buligattibwa ku busika obw'ekika ekiriba ekyabwe: bwe butyo obusika bwabwe buliggibwa ku busika obw'ekika kya bakitaffe. 5Musa n'alagira abaana ba Isiraeri ng'ekigambo kya Mukama bwe kyali ng'ayogera nti Ekika kya batabani ba Yusufu boogera bya nsonga. 6Kino kye kigambo Mukama ky'alagira ku bawala ba Zerofekadi, ng'ayogera nti Bafumbirwenga gwe banaasiimanga; kyokka ku nda y'ekika kya kitaabwe kwe banaafumbirwanga. 7#1 Bassek 21:3Bwe kityo tewaabengawo busika bwonna obw'abaana ba Isiraeri obunaakyukanga okuva mu kika okuyingira mu kika kinnaakyo: kubanga abaana ba Isiraeri baneegattanga buli muntu n'obusika obw'ekika kya bakitaabwe. 8#1 Byom 23:22Na buli muwala, anaabanga n'obusika mu kika kyonna eky'abaana ba Isiraeri, anaabanga mukazi w'omu ku nda ey'ekika kya kitaawe, abaana ba Isiraeri balyoke balye buli muntu obusika bwa bakitaabwe. 9Bwe kityo tewaabengawo busika bwonna obunaakyukanga okuva mu kika okuyingira mu kika ekirala; kubanga ebika by'abaana ba Isiraeri baneegattanga buli muntu n'obusika bwe ye. 10Nga Mukama bwe yalagira Musa, bwe batyo bawala ba Zerofekadi bwe baakola: 11kubanga Maala, Tiruza, ne Kogula, ne Mirika, ne Noowa, bawala ba Zerofekadi, ne bafumbirwa batabani ba baganda ba kitaabwe. 12Baafumbirwa ku nda za batabani ba Manase mutabani wa Yusufu, obusika bwabwe ne bubeeranga mu kika eky'enda ya kitaabwe.
13 #
Kubal 22:1; 26:3; 33:50; 35:1 Ebyo bye biragiro n'emisango, Mukama bye yalagira abaana ba Isiraeri n'omukono gwa Musa mu nsenyi za Mowaabu ku Yoludaani e Yeriko.
Currently Selected:
Okubala 36: LUG68
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda Bible 1968 Edition © United Bible Societies 1968, and British and Foreign Bible Society, London, England, 1954, 1967, 1972, 1994 and The Bible Society of Uganda, 2013.