YouVersion Logo
Search Icon

Okubala 34

34
1Mukama n'agamba Musa 2#Lub 17:8, Kuv 3:8, Zab 105:11nti Lagira abaana ba Isiraeri obagambe nti Bwe muliyingira mu nsi ya Kanani, (eyo ye nsi eribagwira okuba obusika, ensi ya Kanani ng'ensalo zaayo bwe ziri,) 3#Yos 15:1,2kale oluuyi lwammwe olw'obukiika obwa ddyo luliva ku ddungu Zini ne luyita ku mabbali ga Edomu, n'ensalo yammwe ey'obukiika obwa ddyo eriva ku nkomerero y'Ennyanja Eyomunnyo ebuvanjuba: 4#Yos 15:3n'ensalo yammwe erikyukira ku luuyi olw'obukiika obwa ddyo olw'ekkubo eririnnya ku Akulabbimu, n'eyita n'etuuka Ezini: n'enkomerero yaayo eriba ku luuyi olw'obukiika olwa ddyo olw'e Kadesubanea; era erifuluma okutuuka e Kazaladali, n'eyita n'etuuka e Yazimoni: 5#Lub 15:18, Yos 15:4era ensalo erikyukira okuva e Yazimoni okutuuka ku mugga ogw'e Misiri, n'enkomerero yaayo eriba ku nnyanja. 6N'okuba ensalo ey'ebugwanjuba, muliba n'ennyanja ennene n'ensalo yaayo: eyo y'eriba ensalo yammwe ey'ebugwanjuba. 7N'eno y'eriba ensalo yammwe ey'obukiika obwa kkono: okuva ku nnyanja ennene mulyerambira olusozi Koola: 8#Kubal 13:21, 2 Bassek 14:25, Ez 47:15,16okuva ku lusozi Koola muliramba okutuuka w'oyingirira e Kamasi; n'enkomerero y'ensalo eriba ku Zedada: 9#Ez 47:17era ensalo erifuluma okutuuka e Zifuloni, n'enkomerero yaayo eriba ku Kazalenaani: eyo y'eriba ensalo yammwe ey'obukiika obwa kkono. 10Era muliramba ensalo yammwe ey'ebuvanjuba okuva e Kazalenaani okutuuka e Sefamu: 11#Ma 3:17, Yos 12:3, 2 Bassek 23:33era ensalo eriva e Sefamu n'ekka e Libula ku luuyi olw'ebuvanjuba olw'e Yaini; era ensalo erikka, n'etuuka ku lubalama lw'ennyanja ey'e Kinneresi ebuvanjuba: 12era ensalo erikka n'etuuka ku Yoludaani, n'enkomerero yaayo eriba ku Nnyanja Eyomunnyo: eyo y'eriba ensi yammwe ng'ensalo zaayo bwe ziriba enjuyi zonna. 13#Yos 14:1,2Musa n'alagira abaana ba Isiraeri ng'ayogera nti Eyo ye nsi gye mulisikira n'obululu, Mukama gy'alagidde okuwa ebika omwenda n'ekika eky'ekitundu: 14#Kubal 32:33, Yos 14:3kubanga ekika ky'abaana ba Lewubeeni ng'ennyumba za bakitaabwe bwe ziri, n'ekika ky'abaana ba Gaadi ng'ennyumba za bakitaabwe bwe ziri, baamala okuweebwa obusika bwabwe n'ekika eky'ekitundu ekya Manase baamala okubuweebwa: 15ebika ebibiri n'ekika eky'ekitundu baamala okuweebwa obusika bwabwe emitala wa Yoludaani e Yeriko ebuvanjuba enjuba gy'eva.
16Mukama n'agamba Musa 17#Yos 14:1nti Gano ge mannya g'abasajja abalibagabira ensi okuba obusika: Eriyazaali kabona ne Yoswa mutabani wa Nuni. 18Era mulitwala omukulu omu ku buli kika, okugaba ensi okuba obusika. 19Era gano ge mannya g'abasajja: ku kika kya Yuda Kalebu mutabani wa Yefune. 20Ne ku kika ky'abaana ba Simyoni Semweri mutabani wa Ammikudi. 21Ku kika kya Benyamini, Eridaadi mutabani wa Kisuloni. 22Ne ku kika ky'abaana ba Ddaani, omukulu omu Buki mutabani wa Yoguli. 23Ku baana ba Yusufu: ku kika ky'abaana ba Manase, omukulu omu Kanieri mutabani wa Efodi; 24ne ku kika ky'abaana ba Efulayimu omukulu omu Kamueri mutabani wa Sifutani. 25#2 Bassek 14:25, Ez 47:15,16Ne ku kika ky'abaana ba Zebbulooni, omukulu omu Erizafani mutabani wa Palunaki. 26Ne ku kika ky'abaana ba Isakaali, omukulu omu Palutieri mutabani wa Azani. 27Ne ku kika ky'abaana ba Aseri, omukulu omu Akikuda mutabani wa Seromi. 28Ne ku kika ky'abaana ba Nafutaali, omukulu omu Pedakeri mutabani wa Ammikudi. 29Abo be baabo Mukama be yalagira okugabira abaana ba Isiraeri obusika mu nsi ya Kanani.

Currently Selected:

Okubala 34: LUG68

Highlight

Copy

Compare

Share

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in

Video for Okubala 34