Okubala 32
32
1 #
Kubal 21:32
Abaana ba Lewubeeni n'abaana ba Gaadi baalina ensolo nnyingi nnyo nnyini: awo bwe baalaba ensi ya Yazeri, n'ensi ye Gireyaadi, nga, laba, ekifo ekyo kifo kya nsolo; 2abaana ba Gaadi n'abaana ba Lewubeeni ne bajja ne bagamba Musa ne Eriyazaali kabona n'abakulu ab'ekibiina 3nti Atalisi ne Diboni ne Yazeri ne Nimula ne Kesuboni ne Ereale ne Sebamu ne Nebo ne Beoni, 4#Kubal 21:23,24,33-35ensi Mukama gye yakuba mu maaso g'ekibiina kya Isiraeri, ensi ya nsolo, n'abaddu bo balina ensolo. 5Ne boogera nti Oba nga tulabye ekisa mu maaso go, ensi eno eweebwe abaddu bo okuba obutaka; totusomosa Yoludaani. 6Musa n'agamba abaana ba Gaadi n'abaana ba Lewubeeni nti Baganda bammwe banaatabaala, mmwe nga mutudde wano? 7Era kiki ekibakeŋŋenterezesa omwoyo gw'abaana ba Isiraeri obutasomoka okuyingira mu nsi Mukama gye yabawa? 8#Kubal 13:3,21-33Bakitammwe bwe baakola bwe batyo bwe nnabatuma nga nnyima e Kadesubanea okulaba ensi. 9Kubanga bwe baayambuka mu kiwonvu e Esukoli, ne balaba ensi, ne bakeŋŋentereza omwoyo gw'abaana ba Isiraeri, baleme okuyingira mu nsi Mukama gye yali abawadde. 10#Kubal 14:23,24,29,30, Ma 1:34-36Obusungu bwa Mukama ne bubuubuuka ku lunaku luli, n'alayira ng'agamba nti 11Mazima tewaliba ku basajja abaalinnya okuva mu Misiri, abaakamaze emyaka abiri n'okukirawo, abaliraba ensi gye nnalayirira Ibulayimu, Isaaka ne Yakobo; kubanga tebangobereredde ddala: 12wabula Kalebu mutabani wa Yefune Omukenizi ne Yoswa mutabani wa Nuni: kubanga abo bagobereredde ddala Mukama. 13#Kubal 14:33; 26:64,65Obusungu bwa Mukama ne bubuubuuka ku Isiraeri, n'abatambulizatambuliza eyo n'eyo mu ddungu emyaka ana, okutuusa ezzadde lyonna abaali bakoze obubi mu maaso ga Mukama lwe baazikirira. 14Era, laba, mmwe muyimiridde mu kifo kya bakitammwe, okwala okw'abantu abalina ebibi, okwongera nate ekiruyi kya Mukama eri Isiraeri. 15#Yos 22:16,18Kubanga bwe munaakyuka obutamugoberera, anaabaleka nate omulundi ogw'okubiri mu ddungu; nammwe munaazikiriza abantu bano bonna. 16Ne bamusemberera ne bagamba nti Tunaazimbira ensolo zaffe ebiraalo wano, n'ebibuga olw'abaana baffe abato: 17#Yos 4:12,13naye ffe bennyini tuliba nga tweteeseteese nga tukutte ebyokulwanyisa okukulembera abaana ba Isiraeri okutuusa lwe tulimala okubayingiza mu kifo kyabwe: n'abaana baffe abato balituula mu bibuga ebiriko enkomera olw'abo abatuula mu nsi. 18#Yos 22:4Tetulikomawo mu nnyumba zaffe, okutuusa abaana ba Isiraeri lwe balimala okusikira buli muntu obusika bwe. 19#Yos 12:1-6; 13:8Kubanga tetulisikira wamu nabo emitala wa Yoludaani n'okweyongerayo; kubanga obusika bwaffe butugwiridde emitala w'eno ewa Yoludaani ebuvanjuba. 20#Ma 3:12,16-18, Yos 1:13-15; 4:12,13; 22:4,9Musa n'abagamba nti Bwe munaakola ekigambo ekyo; bwe munaakwata ebyokulwanyisa okukulembera Mukama okutabaala, 21na buli musajja ku mmwe alina ebyokulwanyisa bw'anaasomoka Yoludaani mu maaso ga Mukama, okutuusa lw'aligobera ddala abalabe be mu maaso ge, 22ensi n'ewangulwa mu maaso ga Mukama: awo oluvannyuma ne mulyoka mukomawo, ne mutabaako musango eri Mukama n'eri Isiraeri; n'ensi eno eneebanga butaka gye muli mu maaso ga Mukama. 23#Lub 44:16, Zab 140:11Naye bwe mutaakole bwe mutyo, laba, nga mwonoonye Mukama: era mutegeerere ddala ng'okwonoona kwammwe kulibayigga. 24#Kubal 32:16,34-38Muzimbire abaana bammwe abato ebibuga, n'ebiraalo olw'endiga zammwe; era mukole ekyo ekifulumye mu kammwa kammwe. 25Abaana ba Gaadi n'abaana ba Lewubeeni ne bagamba Musa nti Abaddu bo banaakola nga mukama wange bw'alagidde. 26#Yos 1:14Abaana baffe abato, bakazi baffe, embuzi zaffe, n'ensolo zaffe zonna binaabeera eyo mu bibuga eby'e Gireyaadi: 27#Yos 4:12,13naye abaddu bo banaasomoka, buli musajja alina ebyokulwanyisa olw'entalo, mu maaso ga Mukama okutabaala, nga mukama wange bw'ayogedde.
28Awo Musa n'alagira Eriyazaali kabona ebigambo byabwe ne Yoswa mutabani wa Nuni n'emitwe gy'ennyumba za bakitaabwe ez'ebika by'abaana ba Isiraeri. 29Musa n'abagamba nti Abaana ba Gaadi n'abaana ba Lewubeeni bwe balisomoka Yoludaani awamu nammwe, buli musajja alina ebyokulwanyisa olw'entalo, mu maaso ga Mukama, ensi n'ewangulwa mu maaso gammwe; kale mulibawa ensi y'e Gireyaadi okuba obutaka: 30naye bwe batalikkiriza kusomoka wamu nammwe nga bakutte ebyokulwanyisa, baliba n'obutaka mu mmwe mu nsi ya Kanani. 31Abaana ba Gaadi n'abaana ba Lewubeeni ne baddamu nti Nga Mukama bw'agambye abaddu bo, bwe tutyo bwe tunaakola. 32Tunaasomoka nga tukutte ebyokulwanyisa mu maaso ga Mukama okuyingira mu nsi ya Kanani, era obutaka obw'obusika bwaffe bulibeera naffe emitala wa Yoludaani. 33#Ma 3:12,13Musa n'abawa bo, abaana ba Gaadi n'abaana ba Lewubeeni, n'ekitundu ky'ekika kya Manase mutabani wa Yusufu, obwakabaka bwa Sikoni kabaka w'Abamoli n'obwakabaka bwa Ogi kabaka w'e Basani, ensi ng'ebibuga byayo bwe byali wamu n'ensalo zaabyo, bye bibuga eby'omu nsi eriraanyeewo. 34#Kubal 32:3,24Abaana ba Gaadi ne bazimba Diboni ne Atalosi ne Aloweri; 35ne Aterosisofani ne Yazeri ne Yogubeka; 36ne Besunimira ne Besukalaani: ebibuga ebiriko enkomera n'ebisibo by'endiga. 37Abaana ba Lewubeeni ne bazimba Kesuboni ne Ereale ne Kiriyasayimu; 38#Kuv 23:13, Yer 48:23ne Nebo ne Baalumyoni, (nga bawaanyisizza amannya gaabyo), ne Sibima: ne babituuma amannya amalala ebibuga bye baazimba. 39#Kuv 23:13, Lub 50:23Abaana ba Makiri mutabani wa Manase ne bagenda e Gireyaadi, ne bakirya, ne bagobamu Abamoli abaali omwo. 40#Ma 3:13,15, Yos 17:1Musa n'awa Makiri mutabani wa Manase Gireyaadi; n'abeera omwo. 41#Ma 3:14, Yos 13:30, Balam 10:4Yayiri mutabani wa Manase n'agenda n'alya ebibuga byayo, n'abiyita Kavosuyayiri. 42Noba n'agenda n'alya Kenasi, n'ebyalo byakyo, n'akituuma Noba, ng'erinnya lye ye bwe lyali.
Currently Selected:
Okubala 32: LUG68
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda Bible 1968 Edition © United Bible Societies 1968, and British and Foreign Bible Society, London, England, 1954, 1967, 1972, 1994 and The Bible Society of Uganda, 2013.