Okubala 30
30
1 #
Kubal 1:4,16 Musa n'agamba emitwe gy'ebika by'abaana ba Isiraeri nti Kino kye kigambo Mukama ky'alagidde. 2#Leev 5:4; 27:2, Ma 23:21, Balam 11:30,35, Zab 66:13,14, Mat 14:7,9Omusajja bw'aneeyamanga obweyamo eri Mukama, oba bw'anaalayiranga ekirayiro okulagaanya obulamu bwe n'endagaano, tavumisanga kigambo kye; anaakolanga nga byonna bwe biri ebifuluma mu kamwa ke. 3Era omukazi bw'aneeyamanga obweyamo eri Mukama, ne yeeragaanya n'endagaano, ng'ali mu nnyumba ya kitaawe, mu buto bwe; 4kitaawe n'awulira obweyamo bwe n'endagaano gy'alagaanyizza obulamu bwe, kitaawe n'amusirikira: kale obweyamo bwe bwonna bunaanyweranga, na buli ndagaano gy'alagaanyizza obulamu bwe eneenyweranga. 5Naye kitaawe bw'anaamugaananga ku lunaku lw'awulirirako; tewabangawo ku bweyamo bwe newakubadde ku ndagaano ze, ze yalagaanya obulamu bwe, eneenyweranga: era Mukama anaamusonyiwanga kubanga kitaawe yamugaana. 6Era bw'anaabanga alina bba, obweyamo bwe nga buli ku ye, oba emimwa gye bye gyogera ng'ayanguyiriza, by'alagaanyizza obulamu bwe; 7bba n'awulira n'amusirikira ku lunaku lw'akiwulirirako: kale obweyamo bwe bunaanyweranga, n'endagaano z'alagaanyizza obulamu bwe zinaanyweranga. 8Naye bba bw'anaamugaananga ku lunaku lw'akiwulirirako; kale anajjululanga obweyamo bwe obuli ku ye, n'emimwa gye bye gyogedde ng'ayanguyiriza, by'alagaanyizza obulamu bwe: era Mukama anaamusonyiwanga. 9Naye obweyamo bwa nnamwandu oba bw'oyo eyagobebwa bba, buli kye yalagaanya obulamu bwe, kinaanyweranga ku ye. 10Era oba nga yeeyamira obweyamo mu nnyumba ya bba, oba yalagaanya obulamu bwe n'endagaano ng'alayira, 11bba n'akiwulira n'amusirikira n'atamugaana; kale obweyamo bwe bwonna bunaanyweranga, na buli ndagaano gye yalagaanya obulamu bwe eneenyweranga. 12Naye bba oba nga yabidibya ku lunaku lwe yabiwulirirako; kale buli ekyafuluma mu mimwa gye mu bigambo by'obweyamo bwe oba mu bigambo by'endagaano y'obulamu bwe tekinyweranga: bba ng'abijjuludde; era Mukama anaamusonyiwanga. 13Buli bweyamo na buli kirayiro eky'endagaano eky'okwebonereza obulamu bwe, bba ayinza okukinyweza, oba bba ayinza okukijjulula. 14Naye bba bw'anaamusirikiriranga ddala bulijjo bulijjo; kale anaanywezanga obweyamo bwe bwonna, oba endagaano ze zonna eziri ku ye: ng'abinywezezza, kubanga yamusirikira ku lunaku lwe yabiwulirirako. 15Naye bw'anaabidibyanga ng'amaze okubiwulira; kale ye anaabangako obutali butuukirivu bw'omukazi. 16Ago ge mateeka Mukama ge yalagira Musa, wakati w'omusajja ne mukazi we, wakati wa kitaawe w'omuwala ne muwala we, ng'akyali mu buto bwe, mu nnyumba ya kitaawe.
Currently Selected:
Okubala 30: LUG68
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda Bible 1968 Edition © United Bible Societies 1968, and British and Foreign Bible Society, London, England, 1954, 1967, 1972, 1994 and The Bible Society of Uganda, 2013.