Okubala 29
29
1 #
Leev 23:24,25, Kubal 10:10 Ne mu mwezi ogw'omusanvu, ku lunaku olw'olubereberye olw'omwezi, munaabanga n'okukuŋŋaana okutukuvu; temukolanga mulimu gwonna ogw'emikono: lwe lunaku olw'okufuuyirako amakondeere gye muli. 2Era munaawangayo ekiweebwayo ekyokebwa okuba evvumbe eddungi eri Mukama; ente envubuka emu, endiga ennume emu, abaana b'endiga abalume omusanvu abatannamala mwaka gumu abataliiko bulema: 3n'ekiweebwayo eky'obutta ekyako, obutta obulungi obutabuddwamu amafuta, ebitundu eby'ekkumi bisatu olw'ente, ebitundu eby'ekkumi bibiri olw'endiga ennume, 4n'ekitundu eky'ekkumi kimu olwa buli mwana gw'endiga ku baana b'endiga omusanvu: 5n'embuzi ennume emu okuba ekiweebwayo olw'ekibi, okubatangirira: 6#Leev 6:9, Kubal 28:3-8,11-15obutassaako ekiweebwayo ekyokebwa eky'omwezi ogwakajja guboneke, n'ekiweebwayo eky'obutta ekyako, n'ekiweebwayo ekyokebwa ekitaliggwaawo n'ekiweebwayo eky'obutta ekyako, n'ebiweebwayo ebyokunywa ebyako, ng'etteeka lyabyo bwe liri, okuba evvumbe eddungi, ekiweebwayo ekikolebwa n'omuliro eri Mukama.
7 #
Leev 16:29; 23:27, Zab 35:13, Is 58:5-7 Ne ku lunaku olw'ekkumi olw'omwezi ogwo ogw'omusanvu munaabanga n'okukuŋŋaana okutukuvu; era munaabonerezanga obulamu bwammwe; temukolanga mulimu gwonna: 8naye munaawangayo ekiweebwayo ekyokebwa eri Mukama okuba evvumbe eddungi; ente envubuka emu, endiga ennume emu, abaana b'endiga abalume musanvu abatannamala mwaka gumu; banaabanga gye muli abataliiko bulema: 9n'ekiweebwayo eky'obutta ekyako, obutta obulungi obutabuddwamu amafuta, ebitundu eby'ekkumi bisatu olw'ente, ebitundu eby'ekkumi bibiri olw'endiga ennume emu, 10ekitundu ekirala eky'ekkumi olwa buli mwana gw'endiga ku baana b'endiga omusanvu: 11#Leev 16:3,5embuzi ennume emu okuba ekiweebwayo olw'ekibi; obutassaako ekiweebwayo olw'ekibi eky'okutangirira, n'ekiweebwayo ekyokebwa ekitaliggwaawo, n'ekiweebwayo eky'obutta ekyako, n'ebiweebwayo ebyokunywa ebyako.
12 #
Leev 23:33-35, Ma 16:13 Ne ku lunaku olw'ekkumi n'ettaano olw'omwezi ogw'omusanvu munaabanga n'okukuŋŋaana okutukuvu; temukolanga mulimu gwonna ogw'emikono, era munaakwatiranga embaga ennaku musanvu eri Mukama: 13#Ezer 3:4era munaawangayo ekiweebwayo ekyokebwa, ekiweebwayo ekikolebwa n'omuliro, eky'evvumbe eddungi eri Mukama; ente envubuka kkumi na ssatu, endiga ennume bbiri, abaana b'endiga abalume kkumi na bana abatannamala mwaka gumu; banaabanga abataliiko bulema: 14n'ekiweebwayo eky'obutta ekyako, obutta obulungi obutabuddwamu amafuta, ebitundu eby'ekkumi bisatu olwa buli nte ku nte ekkumi n'essatu, ebitundu eby'ekkumi bibiri olwa buli ndiga ennume ku ndiga ennume zombi, 15n'ekitundu ekirala eky'ekkumi olwa buli mwana gw'endiga ku baana b'endiga ekkumi n'abana: 16n'embuzi ennume emu okuba ekiweebwayo olw'ekibi; obutassaako ekiweebwayo ekyokebwa ekitaliggwaawo, ekiweebwayo eky'obutta ekyako, n'ekiweebwayo ekyokunywa ekyako.
17Ne ku lunaku olw'okubiri munaawangayo ente envubuka kkumi na bbiri, endiga ennume bbiri, abaana b'endiga abalume kkumi na bana abatannamala mwaka gumu abataliiko bulema: 18n'ekiweebwayo eky'obutta ekyako n'ebiweebwayo ebyokunywa ebyako olw'ente, olw'endiga ennume, n'olw'abaana b'endiga, ng'omuwendo gwabyo bwe gunaabanga, ng'etteeka bwe liri: 19n'embuzi ennume emu okuba ekiweebwayo olw'ekibi; obutassaako ekiweebwayo ekyokebwa ekitaliggwaawo, n'ekiweebwayo eky'obutta ekyako, n'ebiweebwayo ebyokunywa ebyako.
20Ne ku lunaku olw'okusatu ente kkumi n'emu, endiga ennume bbiri, abaana b'endiga abalume kkumi na bana abatannamala mwaka gumu abataliiko bulema; 21n'ekiweebwayo eky'obutta ekyako, n'ebiweebwayo ebyokunywa ebyako olw'ente, olw'endiga ennume, n'olw'abaana b'endiga, ng'omuwendo gwabyo bwe gunaabanga, ng'etteeka bwe liri: 22n'embuzi ennume emu okuba ekiweebwayo olw'ekibi; obutassaako ekiweebwayo ekyokebwa ekitaliggwaawo, n'ekiweebwayo eky'obutta ekyako, n'ekiweebwayo ekyokunywa ekyako.
23Ne ku lunaku olw'okuna ente kkumi, endiga ennume bbiri, abaana b'endiga abalume kkumi na bana abatannamala mwaka gumu abataliiko bulema: 24ekiweebwayo eky'obutta ekyako n'ebiweebwayo ebyokunywa ebyako olw'ente, olw'endiga ennume, n'olw'abaana b'endiga, ng'omuwendo gwabyo bwe gunaabanga, ng'etteeka bwe liri: 25n'embuzi ennume emu okuba ekiweebwayo olw'ekibi; obutassaako ekiweebwayo ekyokebwa ekitaliggwaawo, ekiweebwayo eky'obutta ekyako, n'ekiweebwayo ekyokunywa ekyako.
26Ne ku lunaku olw'okutaano ente mwenda, endiga ennume bbiri, abaana b'endiga abalume kkumi na bana abatannamala mwaka gumu abataliiko bulema: 27n'ekiweebwayo eky'obutta ekyako n'ebiweebwayo ebyokunywa ebyako olw'ente, olw'endiga ennume, n'olw'abaana b'endiga, ng'omuwendo gwabyo bwe gunaabanga, ng'etteeka bwe liri: 28n'embuzi ennume emu okuba ekiweebwayo olw'ekibi; obutassaako ekiweebwayo ekyokebwa ekitaliggwaawo, n'ekiweebwayo eky'obutta ekyako, n'ekiweebwayo ekyokunywa ekyako.
29Ne ku lunaku olw'omukaaga ente munaana, endiga ennume bbiri, abaana b'endiga abalume kkumi na bana abatannamala mwaka gumu abataliiko bulema: 30n'ekiweebwayo eky'obutta ekyako n'ebiweebwayo ebyokunywa ebyako olw'ente, olw'endiga ennume, n'olw'abaana b'endiga, ng'omuwendo gwabyo bwe gunaabanga, ng'etteeka bwe liri: 31n'embuzi ennume emu okuba ekiweebwayo olw'ekibi; obutassaako ekiweebwayo ekyokebwa ekitaliggwaawo, ekiweebwayo eky'obutta ekyako, n'ebiweebwayo ebyokunywa ebyako.
32Ne ku lunaku olw'omusanvu ente musanvu, endiga ennume bbiri, abaana b'endiga abalume kkumi na bana abatannamala mwaka gumu abataliiko bulema: 33n'ekiweebwayo eky'obutta ekyako n'ebiweebwayo ebyokunywa ebyako olw'ente, olw'endiga ennume, n'olw'abaana b'endiga, ng'omuwendo gwabyo bwe gunaabanga, ng'etteeka bwe liri: 34n'embuzi ennume emu okuba ekiweebwayo olw'ekibi; obutassaako ekiweebwayo ekyokebwa ekitaliggwaawo, ekiweebwayo eky'obutta ekyako, n'ekiweebwayo ekyokunywa ekyako.
35 #
Leev 23:36, Yok 7:37 Ku lunaku olw'omunaana munaabanga n'olukuŋŋaana okw'okwewombeeka: temukolanga mulimu gwonna ogw'emikono: 36naye munaawangayo ekiweebwayo ekyokebwa, ekiweebwayo ekikolebwa n'omuliro, eky'evvumbe eddungi eri Mukama: ente emu, endiga ennume emu, abaana b'endiga abalume musanvu abatannamala mwaka gumu abataliiko bulema: 37ekiweebwayo eky'obutta ekyako n'ebiweebwayo ebyokunywa ebyako olw'ente, olw'endiga ennume, n'olw'abaana b'endiga, binaabanga ng'omuwendo gwabyo ng'etteeka bwe liri: 38n'embuzi ennume emu okuba ekiweebwayo olw'ekibi: obutassaako ekiweebwayo ekyokebwa ekitaliggwaawo, n'ekiweebwayo eky'obutta ekyako, n'ekiweebwayo ekyokunywa ekyako.
39 #
Kuv 23:14-17, Leev 7:11,16; 22:21; 23:4-36 Ebyo bye munaawangayo eri Mukama mu mbaga zammwe ezaalagirwa, obutassaako bweyamo bwammwe, n'ebyo bye muwaayo ku bwammwe, okuba bye muwaayo ebyokebwa, ne bye muwaayo eby'obutta, ne bye muwaayo ebyokunywa, ne bye muwaayo olw'emirembe. 40Musa n'abuulira abaana ba Isiraeri nga byonna bwe byali Mukama bye yalagira Musa.
Currently Selected:
Okubala 29: LUG68
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda Bible 1968 Edition © United Bible Societies 1968, and British and Foreign Bible Society, London, England, 1954, 1967, 1972, 1994 and The Bible Society of Uganda, 2013.

: