YouVersion Logo
Search Icon

Okubala 28

28
1Mukama n'agamba Musa 2#Lub 8:21, Leev 3:11nti Lagira abaana ba Isiraeri obagambe nti Ekirabo kyange, ebyange ebyokulya olw'ebyange ebiweebwayo ebikolebwa n'omuliro, eby'evvumbe eddungi gye ndi, munaakwatanga okubiwaayo gye ndi mu ntuuko zaabyo. 3#Kuv 29:38-42Era onoobagamba nti Kino kye kiweebwayo ekikolebwa n'omuliro kye munaawangayo eri Mukama; abaana b'endiga abalume abatannamala mwaka gumu abataliiko bulema, buli lunaku babiri, okuba ekiweebwayo ekyokebwa ekitaliggwaawo. 4Omwana gw'endiga ogumu onoowangayo enkya, n'omwana gw'endiga omulala onoowangayo akawungeezi; 5n'ekitundu eky'ekkumi ekya efa ey'obutta obulungi okuba ekiweebwayo eky'obutta, ekitabuddwamu ekitundu eky'okuna ekya ini ey'amafuta amakube. 6Ekyo kye kiweebwayo ekyokebwa ekitaliggwaawo, ekyalagirwa ku lusozi Sinaayi okuba evvumbe eddungi, ekiweebwayo ekikolebwa n'omuliro eri Mukama. 7N'ekiweebwayo ekyokunywa ekyako kinaabanga kitundu kya kuna kya ini olw'omwana gw'endiga ogumu: mu watukuvu mw'onoofukiranga ekiweebwayo ekyokunywa ekika eri Mukama. 8N'omwana gw'endiga ogw'okubiri onoowangayo akawungeezi: ng'ekiweebwayo ekyokunywa ekyako bwe biri, bw'onoogiwangayo bw'otyo, okuba ekiweebwayo ekikolebwa n'omuliro, eky'evvumbe eddungi eri Mukama.
9Ne ku ssabbiiti abaana b'endiga babiri abalume abatannamala mwaka gumu abataliiko bulema, n'ebitundu eby'ekkumi bibiri ebya efa ey'obutta obulungi okuba ekiweebwayo eky'obutta, obutabuddwamu amafuta, n'ekiweebwayo ekyokunywa ekyako: 10ekyo kye kiweebwayo ekya buli ssabbiiti, obutassaako ekiweebwayo ekyokebwa ekitaliggwaawo, n'ekiweebwayo ekyokunywa ekyako.
11 # Kubal 10:10, 1 Sam 20:5, 1 Byom 23:31, Is 1:13,14, Bak 2:16 Era emyezi gyammwe we ginaasookeranga munaawangayo ekiweebwayo ekyokebwa eri Mukama, ente envubuka bbiri, n'endiga ennume emu, abaana b'endiga abalume musanvu abatannamala mwaka gumu abataliiko bulema; 12#Kubal 15:4-12n'ebitundu eby'ekkumi bisatu ebya efa ey'obutta obulungi okuba ekiweebwayo eky'obutta, obutabuddwamu amafuta, olwa buli nte; n'ebitundu eby'ekkumi bibiri eby'obutta obulungi obutabuddwamu amafuta olw'endiga emu; 13n'ekitundu ekirala eky'ekkumi eky'obutta obulungi obutabuddwamu amafuta okuba ekiweebwayo eky'obutta olwa buli mwana gw'endiga; okuba ekiweebwayo ekyokebwa eky'evvumbe eddungi, ekiweebwayo ekikolebwa n'omuliro eri Mukama. 14N'ebiweebwayo ebyokunywa ebyako binaabanga kitundu kya ini ey'envinnyo olw'ente, n'ekitundu eky'okusatu eky'ekibya olw'endiga ennume, n'ekitundu eky'okuna ekya ini olw'omwana gw'endiga: ekyo kye kiweebwayo ekyokebwa ekya buli mwezi okumalako emyezi egy'omwaka. 15#Kubal 15:24N'embuzi ennume emu okuba ekiweebwayo olw'ekibi eri Mukama; eneeweebwangayo era n'ekiweebwayo ekyokebwa ekitaliggwaawo, n'ekiweebwayo ekyokunywa ekyako.
16 # Kuv 12:3-11 Era mu mwezi ogw'olubereberye, ku lunaku olw'omwezi olw'ekkumi n'ennya, wanaabangawo Okuyitako kwa Mukama. 17#Kuv 12:15-20, Leev 23:6, Mat 26:17Ne ku lunaku olw'ekkumi n'ettaano olw'omwezi ogwo wanaabangawo embaga: emigaati egitazimbulukuswa ginaaliirwanga ennaku musanvu. 18#Leev 23:7Ku lunaku olw'olubereberye wanaabangawo okukuŋŋaana okutukuvu; temukolanga mulimu gwonna ogw'emikono: 19#Leev 22:20, Ma 15:21naye munaawangayo ekiweebwayo ekikolebwa n'omuliro, ekiweebwayo ekyokebwa eri Mukama; ente envubuka bbiri, n'endiga ennume emu, n'abaana b'endiga abalume musanvu abatannamala mwaka gumu: banaabanga gye muli abataliiko bulema: 20n'ekiweebwayo eky'obutta ekyako, obutta obulungi obutabuddwamu amafuta: munaawangayo ebitundu eby'ekkumi bisatu olw'ente, n'ebitundu eby'ekkumi bibiri olw'endiga ennume; 21onoowangayo ekitundu ekirala eky'ekkumi olwa buli mwana gw'endiga ku baana b'endiga omusanvu; 22n'embuzi ennume emu okuba ekiweebwayo olw'ekibi, okubatangirira. 23Munaawangayo ebyo era n'ekiweebwayo ekyokebwa eky'enkya, ekinaabanga ekiweebwayo ekyokebwa ekitaliggwaawo. 24#Leev 23:8Bwe mutyo bwe munaawangayo buli lunaku, okumalako ennaku musanvu, ekyokulya eky'ekiweebwayo ekikolebwa n'omuliro, eky'evvumbe eddungi eri Mukama: kinaaweebwangayo era n'ekiweebwayo ekyokebwa ekitaliggwaawo, n'ekiweebwayo ekyokunywa ekyako. 25Ne ku lunaku olw'omusanvu munaabanga n'okukuŋŋaana okutukuvu; temukolanga mulimu gwonna ogw'emikono.
26 # Kuv 23:16, Leev 23:10,15,16, Ma 16:10 Era ne ku lunaku olw'ebibala ebibereberye, bwe munaawangayo ekiweebwayo eky'obutta obuggya eri Mukama mu mbaga yammwe eya ssabbiiti, kale munaabanga n'okukuŋŋaana okutukuvu; temukolanga mulimu gwonna ogw'emikono: 27#Leev 23:18,19naye munaawangayo ekiweebwayo ekyokebwa okuba evvumbe eddungi eri Mukama; ente envubuka bbiri, endiga ennume emu, abaana b'endiga abalume musanvu abatannamala mwaka gumu; 28n'ekiweebwayo eky'obutta ekyako, obutta obulungi obutabuddwamu amafuta, ebitundu eby'ekkumi bisatu olwa buli nte, ebitundu eby'ekkumi bibiri olw'endiga ennume emu, 29ekitundu ekirala eky'ekkumi olwa buli mwana gw'endiga ku baana b'endiga omusanvu; 30embuzi ennume emu okubatangirira. 31Obutassaako ekiweebwayo ekyokebwa ekitaliggwaawo, n'ekiweebwayo ekyokunywa ekyako, munaawangayo n'ebyo (binaabanga gye muli ebitaliiko bulema), n'ebiweebwayo ebyokunywa ebyako.

Currently Selected:

Okubala 28: LUG68

Highlight

Copy

Compare

Share

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in