Okubala 1
1
1 #
Kuv 19:1; 25:22, Kubal 10:11,12 Awo Mukama n'ayogerera ne Musa mu ddungu lya Sinaayi, mu weema ey'okusisinkanirangamu, ku lunaku olw'olubereberye olw'omwezi ogw'okubiri, mu mwaka ogw'okubiri nga bamaze okuva mu nsi y'e Misiri, ng'ayogera nti 2#Kubal 26:2-51,57-62, 2 Sam 24:1-9, 2 Sam 24:1-9, Kuv 30:12; 38:25,26Mubale omuwendo gw'ekibiina kyonna eky'abaana ba Isiraeri, ng'enda zaabwe bwe ziri, ng'ennyumba za bakitaabwe bwe ziri, ng'omuwendo gw'amannya bwe guli, buli musajja, ng'emitwe gyabwe bwe giri; 3abaakamaze emyaka abiri n'okukirawo, bonna abayinza okutabaala mu Isiraeri, ggwe ne Alooni mulibabala ng'eggye lyabwe bwe liri. 4Era waliba wamu nammwe omusajja ow'omu buli kika; buli muntu omutwe gw'ennyumba ya bakitaawe. 5Era gano ge mannya g'abasajja abaliyimirira awamu nammwe: ku Lewubeeni; Erizuuli mutabani wa Sedewuli. 6Ku Simyoni; Serumiyeeri mutabani wa Zulisadaayi. 7#Luus 4:20, Mat 1:1-4Ku Yuda; Nakusoni mutabani wa Amminadaabu. 8Ku Isakaali; Nesaneri mutabani wa Zuwaali. 9Ku Zebbulooni; Eriyaabu mutabani wa Keroni. 10Ku baana ba Yusufu: ku Efulayimu; Erisaama mutabani wa Ammikudi: ku Manase; Gamalyeri mutabani wa Pedazuuli. 11Ku Benyamini: Abidaani mutabani wa Gidiyooni. 12Ku Ddaani; Akiyezeeri mutabani wa Amisadaayi. 13Ku Aseri; Pagiyeeri mutabani wa Okulaani. 14#Kubal 2:14; 7:42Ku Gaadi; Eriyasaafu mutabani wa Deweri. 15Ku Nafutaali; Akira mutabani wa Enani. 16#Kuv 18:21Abo be baayitibwa ku kibiina, abakulu b'ebika bya bakitaabwe; gye gyali emitwe gy'enkumi za Isiraeri. 17Awo Musa ne Alooni ne batwala abasajja abo abaatuddwa amannya: 18ne bakuŋŋaanya ekibiina kyonna ku lunaku olw'olubereberye olw'omwezi ogw'okubiri, ne baatula okuzaalibwa kwabwe ng'enda zaabwe bwe zaali, ng'ennyumba za bakitaabwe bwe zaali, ng'omuwendo gw'amannya bwe gwali, abaakamaze emyaka abiri n'okukirawo, ng'emitwe gyabwe bwe gyali. 19Nga Mukama bwe yalagira Musa, bw'atyo bwe yababalira mu ddungu lya Sinaayi.
20N'abaana ba Lewubeeni, omubereberye wa Isiraeri, okuzaalibwa kwabwe, ng'enda zaabwe bwe zaali, ng'ennyumba za bakitaabwe bwe zaali, ng'omuwendo gw'amannya bwe gwali, ng'emitwe gyabwe bwe gyali, buli musajja eyaakamaze emyaka abiri n'okukirawo, bonna abaayinza okutabaala; 21abaabalibwa ku bo, ku kika kya Lewubeeni, baali obukumi buna mu kakaaga mu bitaano.
22Ku baana ba Simyoni, okuzaalibwa kwabwe, ng'enda zaabwe bwe zaali, ng'ennyumba za bakitaabwe bwe zaali, abaabalibwa ku bo, ng'omuwendo gw'amannya bwe gwali, ng'emitwe gyabwe bwe gyali, buli musajja eyaakamaze emyaka abiri n'okukirawo, bonna abaayinza okutabaala; 23abaabalibwa ku bo, ku kika kya Simyoni, baali obukumi butaano mu kenda mu bisatu.
24Ku baana ba Gaadi, okuzaalibwa kwabwe, ng'enda zaabwe bwe zaali, ng'ennyumba za bakitaabwe bwe zaali, ng'omuwendo gw'amannya bwe gwali, abaakamaze emyaka abiri n'okukirawo, bonna abaayinza okutabaala; 25abaabalibwa ku bo, ku kika kya Gaadi, baali obukumi buna mu enkumi ttaano mu lukaaga mu ataano.
26Ku baana ba Yuda, okuzaalibwa kwabwe, ng'enda zaabwe bwe zaali, ng'ennyumba za bakitaabwe bwe zaali ng'omuwendo gw'amannya bwe gwali, abaakamaze emyaka abiri n'okukirawo, bonna abaayinza okutabaala; 27abaabalibwa ku bo, ku kika kya Yuda, baali obukumi musanvu mu enkumi nnya mu lukaaga.
28Ku baana ba Isakaali, okuzaalibwa kwabwe, ng'enda zaabwe bwe zaali, ng'ennyumba za bakitaabwe bwe zaali, ng'omuwendo gw'amannya bwe gwali, abaakamaze emyaka abiri n'okukirawo, bonna abaayinza okutabaala; 29abaabalibwa ku bo, ku kika kya Isakaali, baali obukumi butaano mu enkumi nnya mu bina.
30Ku baana ba Zebbulooni, okuzaalibwa kwabwe, ng'enda zaabwe bwe zaali, ng'ennyumba za bakitaabwe bwe zaali, ng'omuwendo gw'amannya bwe gwali, abaakamaze emyaka abiri n'okukirawo, bonna abaayinza okutabaala; 31abaabalibwa ku bo ku kika kya Zebbulooni, baali obukumi butaano mu kasanvu mu bina.
32Ku baana ba Yusufu, ku baana ba Efulayimu, okuzaalibwa kwabwe, ng'enda zaabwe bwe zaali, ng'ennyumba za bakitaabwe bwe zaali, ng'omuwendo gw'amannya bwe gwali, abaakamaze emyaka abiri n'okukirawo, bonna abaayinza okutabaala; 33abaabalibwa ku bo, ku kika kya Efulayimu, baali obukumi buna mu bitaano.
34Ku baana ba Manase, okuzaalibwa kwabwe, ng'enda zaabwe bwe zaali, ng'ennyumba za bakitaabwe bwe zaali, ng'omuwendo gw'amannya bwe gwali, abaakamaze emyaka abiri n'okukirawo, bonna abaayinza okutabaala; 35abaabalibwa ku bo, ku kika kya Manase, baali obukumi busatu mu enkumi bbiri mu bibiri.
36Ku baana ba Benyamini, okuzaalibwa kwabwe, ng'enda zaabwe bwe zaali, ng'ennyumba za bakitaabwe bwe zaali, ng'omuwendo gw'amannya bwe gwali, abaakamaze emyaka abiri n'okukirawo, bonna abaayinza okutabaala; 37abaabalibwa ku bo, ku kika kya Benyamini, baali obukumi busatu mu enkumi ttaano mu bina.
38Ku baana ba Ddaani, okuzaalibwa kwabwe, ng'enda zaabwe bwe zaali, ng'ennyumba za bakitaabwe bwe zaali, ng'omuwendo gw'amannya bwe gwali, abaakamaze emyaka abiri n'okukirawo, bonna abaayinza okutabaala; 39abaabalibwa ku bo, ku kika kya Ddaani, baali obukumi mukaaga mu enkumi bbiri mu lusanvu.
40Ku baana ba Aseri, okuzaalibwa kwabwe, ng'enda zaabwe bwe zaali, ng'ennyumba za bakitaabwe bwe zaali, ng'omuwendo gw'amannya bwe gwali, abaakamaze emyaka abiri n'okukirawo, bonna abaayinza okutabaala; 41abaabalibwa ku bo, ku kika kya Aseri, baali obukumi buna mu lukumi mu bitaano.
42Ku baana ba Nafutaali, okuzaalibwa kwabwe, ng'enda zaabwe bwe zaali, ng'ennyumba za bakitaabwe bwe zaali, ng'omuwendo gw'amannya bwe gwali, abaakamaze emyaka abiri n'okukirawo, bonna abaayinza okutabaala; 43abaabalibwa ku bo, ku kika kya Nafutaali, baali obukumi butaano mu enkumi ssatu mu bina.
44Abo be baabalibwa, Musa ne Alooni be baabala, n'abakulu ba Isiraeri, abasajja kkumi na babiri: buli muntu wa mu nnyumba ya bakitaawe. 45Bwe batyo bonna abaabalibwa ku baana ba Isiraeri ng'ennyumba za bakitaabwe bwe zaali, abaakamaze emyaka abiri n'okukirawo, bonna abaayinza okutabaala mu Isiraeri; 46#Kuv 12:37; 38:26bonna abaabalibwa baali obusiriivu mukaaga mu enkumi ssatu mu bitaano mu ataano.
47 #
Kubal 2:33; 3:39; 4:48; 26:62 Naye Abaleevi ng'ekika kya bakitaabwe bwe kyali tebaabalibwa mu bo. 48Kubanga Mukama yagamba Musa 49nti Kyokka ekika kya Leevi tolikibala, so tolinoonya muwendo gwabwe mu baana ba Isiraeri: 50#Kubal 3—4, Kubal 10:14-16naye Abaleevi obafuule abakulu b'ennyumba ey'obujulirwa, era ab'ebintu byayo byonna, ebigenderako: banaasitulanga ennyumba, n'ebintu byayo byonna; era banaagiweerezanga, era banaasiisiranga okwetooloola ennyumba. 51#1 Sam 6:19, 2 Sam 6:6,7Era ennyumba bw'eneebanga etambula, Abaleevi be banaagisimbulanga: era ennyumba bw'eneebanga esimbibwa, Abaleevi be banaagisimbanga: era munnaggwanga anaasemberanga anattibwanga. 52Era abaana ba Isiraeri banaasimbanga eweema zaabwe, buli muntu okuliraana n'olusiisira lwe ye, era buli muntu okuliraana n'ebendera ye ye, ng'eggye lyabwe bwe liri. 53#Kubal 3:7,8; 8:19; 18:3-5Naye Abaleevi banaasiisiranga okwetooloola ennyumba ey'obujulirwa, walemenga okuba obusungu ku kibiina ky'abaana ba Isiraeri: era Abaleevi banaabanga n'omulimu ogw'okukuuma ennyumba ey'obujulirwa. 54Bwe batyo bwe baakola abaana ba Isiraeri; nga byonna bwe byali Mukama bye yalagira Musa, ne bakola bwe batyo.
Currently Selected:
Okubala 1: LUG68
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda Bible 1968 Edition © United Bible Societies 1968, and British and Foreign Bible Society, London, England, 1954, 1967, 1972, 1994 and The Bible Society of Uganda, 2013.