Makko 13
13
1 #
Mat 24:1-51, Luk 21:5-36 Awo bwe yafuluma mu yeekaalu, omu ku bayigirizwa be n'amugamba nti Omuyigiriza, laba, amayinja gano bwe gali, n'enzimba eno bw'eri. 2Yesu n'amugamba nti Olaba enzimba eno ennene? teririrekebwa wano jjinja eriri ku jjinja eritalisuulibwa wansi.
3Bwe yali atudde ku lusozi olwa Zeyituuni ng'ayolekedde yeekaalu, Peetero ne Yakobo ne Yokaana ne Andereya ne bamubuuza mu kyama nti 4Tubuulire, ebyo biribaawo ddi? n'akabonero ki ak'ebyo nga bigenda okutuukirizibwa byonna? 5Yesu n'asooka okubagamba nti Mwekuume, omuntu yenna tabakyamyanga. 6Bangi abalijja mu linnya lyange nga boogera nti Nze nzuuyo; era balikyamya bangi. 7Awo bwe muwuliranga entalo n'ettutumo ly'entalo, temweraliikiriranga: kibigwanira okubaawo; naye enkomerero ng'ekyali. 8#Is 19:2, 2 Byom 15:6Kubanga eggwanga lirirumba ggwanga linnaalyo, n'obwakabaka obw'akabaka bunnaabwo: walibaawo ebikankano mu bifo bingi; walibaawo enjala: ebyo lwe lubereberye lw'okulumwa.
9 #
Mat 10:17-22, Luk 21:12-17 Naye mwekuume mwekka: kubanga balibawaayo mu nkiiko: mulikubirwa ne mu makuŋŋaaniro; era muliyimirira mu maaso g'abaamasaza ne bakabaka ku lwange, okubeera abajulirwa mu bo. 10#Mak 16:15Enjiri kigigwanira okumala okubuulirwa amawanga gonna. 11Era bwe babatwalanga okubawaayo, temusookanga kweraliikirira bwe munaayogera: naye kyonna kyonna kye muweebwanga mu kiseera ekyo, ekyo kye mwogeranga, kubanga si mmwe mwogera, wabula Omwoyo Omutukuvu. 12#Mi 7:6Ow'oluganda anaawangayo muganda we okumutta, ne kitaawe w'omwana anaamuwangayo; abaana banaajeemeranga abaabazaala, banaabassanga. 13#Yok 15:21Munaakyayibwanga bonna olw'erinnya lyange: naye agumiikiriza okutuusa enkomerero oyo ye alirokoka.
14 #
Dan 9:27; 12:4,10 Naye bwe muliraba eky'omuzizo ekizikiriza nnabbi Danyeri kye yayogerako nga kiyimiridde awatakisaanira (asomamu ategeere), kale abali mu Buyudaaya baddukire ku nsozi; 15ali waggulu ku nju takkanga, so tayingiranga kuggyamu kintu mu nju ye: 16n'ali mu lusuku taddanga kutwala lugoye lwe. 17Naye ziribasanga abali embuto, n'abayonsa mu nnaku ezo. 18Musabe bireme okutuukira mu biro eby'empewo. 19#Dan 12:1, Yo 2:2Kubanga ennaku ezo ziriba za kulabiramu nnaku, nga tezibangawo bwe zityo kasookedde Katonda atonda ebyatondebwa okutuusa kaakano, so teziriba. 20So singa Mukama teyasala ku nnaku ezo, tewandirokose mubiri gwonna: naye olw'abalonde be yalonda yazisalako ennaku. 21Mu biro ebyo omuntu bw'abagambanga nti Laba, Kristo ali wano; oba ali eyo; temukkirizanga: 22#Ma 13:1kubanga bakristo ab'obulimba ne bannabbi ab'obulimba baliyimuka, balikola obubonero n'ebyewuunyo, okukyamya, oba nga kiyinzika, abalonde. 23Naye mwekuume mmwe: laba, mbabuulidde byonna nga tebinnabaawo.
24 #
Is 13:4
Naye mu nnaku ezo, okulaba ennaku okwo nga kuwedde, enjuba erizikizibwa n'omwezi tegulyaka musana gwagwo, 25n'emmunyeenye ziriba nga zigwa okuva mu ggulu, n'amaanyi ag'omu ggulu galikankana. 26#Dan 7:13Kale ne balyoka balaba Omwana w'omuntu ng'ajjira mu bire n'amaanyi amangi n'ekitiibwa. 27#Zek 2:6, Ma 30:4, Mat 13:41Awo n'alyoka atuma bamalayika be, alikuŋŋaanya abalonde be okuva mu mpewo ennya, okuva ku nkomerero y'ensi okutuusa ku nkomerero y'eggulu.
28Era muyigire ku mutiini olugero lwagwo: ettabi lyagwo bwe ligejja n'amalagala ne gatojjera, mutegeera ng'omwaka guli kumpi; 29era nammwe bwe mutyo, bwe mulabanga ebyo nga bituuse, mutegeere ng'ali kumpi, ku luggi. 30Mazima mbagamba nti Emirembe gino tegiriggwaawo n'akatono, okutuusa ebyo byonna lwe birituukirira. 31Eggulu n'ensi biriggwaawo, naye ebigambo byange tebiriggwaawo n'akatono. 32Naye eby'olunaku olwo oba ekiseera ekyo tewali amanyi, newakubadde bamalayika abali mu ggulu, newakubadde Omwana, wabula Kitange. 33Mwekuumenga, mutunulenga, musabenga: kubanga temumanyi biro we birituukira. 34Ng'omuntu eyaleka ennyumba ye n'atambula mu nsi endala ng'awadde abaddu be obuyinza, buli muntu omulimu gwe, n'alagira omuggazi okutunula. 35#Luk 12:38Kale mutunule: kubanga temumanyi mukama w'ennyumba w'alijjira, oba kawungeezi, oba ttumbi, oba ng'enkoko ekookolima, oba nkya; 36atera okujja amangu ago n'abasanga nga mwebase. 37Era kye mbagamba mmwe mbagamba bonna nti Mutunule.
Currently Selected:
Makko 13: LUG68
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda Bible 1968 Edition © United Bible Societies 1968, and British and Foreign Bible Society, London, England, 1954, 1967, 1972, 1994 and The Bible Society of Uganda, 2013.