Mikka 4
4
1 #
Is 2:2-4
Naye mu nnaku ez'oluvannyuma olulituuka olusozi olw'ennyumba ya Mukama luliba lunywevu ku ntikko y'ensozi era luliyimusibwa okusinga obusozi; era amawanga galikulukutiramu. 2Era amawanga mangi agaligenda, ne googera nti Mujje twambuke eri olusozi lwa Mukama, n'eri ennyumba ya Katonda wa Yakobo; naye alituyigiriza eby'enguudo ze, naffe tulitambulira mu makubo ge; kubanga mu Sayuuni mwe muliva amateeka n'ekigambo kya Mukama mu Yerusaalemi. 3#Yo 3:10Naye alisalira omusango amawanga mangi, era alinenya amawanga ag'amaanyi agali ewala; era baliweesa ebitala byabwe okuba enkumbi n'amafumu gaabwe okuba ebiwabyo; eggwanga teririyimusa ekitala ku ggwanga, so tebaayigenga kulwana nate. 4#1 Bassek 4:25, Is 1:20Naye balituula buli muntu mu muzabbibu gwe ne mu mutiini gwe; so tewalibaawo abakanga; kubanga akamwa ka Mukama w'eggye ke kakyogedde. 5#Zek 10:12Kubanga amawanga gonna ganaatambuliranga buli muntu mu linnya lya katonda we, naffe tunaatambuliranga mu linnya lya Mukama Katonda waffe emirembe n'emirembe.
6 #
Ez 11:17; 34:16 Ku lunaku luli, bw'ayogera Mukama, ndikuŋŋaanya omukazi awenyera, era ndireeta oyo agobebwa n'oyo gwe nnalabisa ennaku; 7#Zab 2:6, Is 24:23, Luk 1:33, Beb 12:22era ndifuula oyo eyawenyera ekitundu ekyasigalawo n'oyo eyasuulibwa ewala ndimufuula eggwanga ery'amaanyi; era Mukama anaabafugiranga ku lusozi Sayuuni, okusooka kaakano era n'emirembe gyonna. 8Era naawe, ggwe ekigo eky'ekisibo, akasozi ak'omuwala wa Sayuuni, kulituuka gy'oli; weewaawo, okufuga okw'edda kulidda, obwakabaka obw'omuwala wa Yerusaalemi. 9#Yer 8:19Lwaki nno okukaaba ennyo? tewali kabaka gy'oli, omuteesa wo abula? obubalagaze ne bukukwata, nga omukazi alumwa okuzaala. 10#Is 39:6,7; 44:22,23Lumibwa, sindika, ggwe omuwala wa Sayuuni, nga omukazi alumwa okuzaala; kubanga kaakano oliva mu kibuga, olisiisira ku ttale, era olituuka e Babulooni; eyo gy'olirokokera; eyo Mukama gy'alikununulira mu mukono gw'abalabe bo. 11#Ob 12, Mi 7:10, Zek 12:3Ne kaakano amawanga mangi agakuŋŋaana okulwana naawe, agoogera nti Ayonooneke, era amaaso gaffe gatunuulire ebyo bye gaagala nga bituuse ku Sayuuni. 12#Kaab 3:12, Mat 3:12Naye tebamanyi birowoozo bya Mukama; so tebategeera kuteesa kwe; kubanga abakuŋŋaanyizza ng'ebinywa by'eŋŋaano ku gguuliro lye. 13#Leev 27:28, Zab 97:5, Is 23:18Yimuka, owuule, ggwe omuwala wa Sayuuni; kubanga ndifuula ejjembe lyo ekyuma, era ndifuula ebinuulo byo ebikomo; naawe olimenyaamenya amawanga mangi; era oliwonga amagoba gaabwe eri Mukama, n'ebintu byabwe eri Mukama w'ensi zonna.
Currently Selected:
Mikka 4: LUG68
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda Bible 1968 Edition © United Bible Societies 1968, and British and Foreign Bible Society, London, England, 1954, 1967, 1972, 1994 and The Bible Society of Uganda, 2013.