Matayo 26
26
1 #
Mat 7:28; 11:1; 13:53; 19:1 Awo olwatuuka Yesu bwe yamala ebigambo ebyo byonna, n'agamba abayigirizwa be nti 2#Mat 20:18#Mak 14:1,2, Luk 2:1,2Mumanyi nti olw'ebbiri walibaawo Okuyitako, n'Omwana w'omuntu aliweebwayo okukomererwa. 3Awo bakabona abakulu n'abakadde b'abantu ne bakuŋŋaanira mu kigango kya kabona asinga obukulu, eyayitibwa Kayaafa; 4ne bateeseza wamu Yesu okumukwasa amagezi; bamutte. 5Naye ne bagamba nti Tuleme okumukwatira ku lunaku olukulu, abantu baleme okukaayana.
6 #
Mak 14:3-9, Luk 7:36-50, Yok 12:1-8 Naye Yesu bwe yali mu Bessaniya, mu nju ya Simooni omugenge, 7omukazi n'ajja gy'ali, eyalina eccupa ey'amafuta ag'omugavu ag'omuwendo omungi ennyo, n'agamufuka ku mutwe, ng'atudde alya. 8Naye abayigirizwa bwe baalaba, ne banyiiga ne bagamba nti Gafudde ki gano? 9Kubanga gano singa gatundiddwa gandivuddemu ebintu bingi, okuwa abaavu. 10#Luk 11:7Naye Yesu bwe yategeera n'abagamba nti Munakuwaliza ki omukazi? kubanga ankoze ekigambo ekirungi. 11#Ma 15:11Kubanga abaavu be muli nabo bulijjo; naye temuli nange bulijjo. 12Kubanga bw'afuse amafuta gano ku mubiri gwange, anziraze okunziika. 13Mazima mbagamba nti Enjiri eno buli gy'eneebuulirwanga mu nsi zonna, n'ekyo omukazi ono ky'akoze kinaayogerwangako okumujjukira.
14 #
Mak 14:10,11, Luk 22:3-6 Awo omu ku abo ekkumi n'ababiri, eyayitibwa Yuda Isukalyoti, n'agenda eri bakabona abakulu, 15#Yok 11:57, Zek 11:12n'agamba nti Mukkiriza kumpa ki, nange ndimuwaayo gye muli? Ne bamugerera ebitundu bya ffeeza amakumi asatu. 16#1 Tim 6:9,10N'asookera awo okunoonya ebbanga bw'anaamuwaayo.
17 #
Mak 14:12-16, Luk 22:7-13, Kuv 12:18-20 Naye ku lunaku olusookerwako olw'emigaati egitazimbulukuswa, abayigirizwa ne bajja eri Yesu, ne bagamba nti Oyagala tuteekereteekere wa Okuyitako gy'onookuliira? 18#Mat 21:3N'agamba nti Mugende mu kibuga ewa gundi, mumugambe nti Omuyigiriza agambye nti Ekiseera kyange kinaatera okutuuka; ewuwo gye nnaaliira Okuyitako n'abayigirizwa bange. 19Abayigirizwa ne bakola nga Yesu bw'abalagidde; ne bateekateeka Okuyitako. 20#Mak 14:17-26, Luk 22:14-23, Yok 13:21-26Awo obudde bwe bwawungeera, n'atuula okulya n'abayigirizwa ekkumi n'ababiri; 21era baali balya, n'agamba nti Mazima mbagamba nti omu ku mmwe anandyamu olukwe. 22Ne banakuwala nnyo, ne batanula kinnoomu okumugamba nti Mukama wange, ye nze? 23Naye n'addamu n'agamba nti Oyo akozezza awamu nange mu kibya, ye anandyamu olukwe. 24Omwana w'omuntu agenda, nga bwe yawandiikirwa: naye zisanze omuntu oyo anaalyamu olukwe Omwana w'omuntu! kyandibadde kirungi eri oyo singa teyazaalibwa omuntu oyo. 25Yuda, eyamulyamu olukwe, n'addamu n'agamba nti Labbi, ye nze? N'amugamba nti Ggwe oyogedde. 26#Mat 14:19, 1 Kol 11:23-25Era baali bakyalya, Yesu n'atoola omugaati, ne yeebaza, n'agumenyamu; n'awa abayigirizwa, n'agamba nti Mutoole, mulye; guno gwe mubiri gwange. 27N'atoola ekikompe, ne yeebaza, n'abawa ng'agamba nti Munywe ku kino mwenna; 28#Kuv 24:8, Yer 31:31, Zek 9:11kubanga kino gwe musaayi gwange ogw'endagaano, oguyiika ku lw'abangi olw'okuggyawo ebibi. 29Naye mbagamba nti Sirinywa n'akatono okusooka leero ku guno ogubala ku muzabbibu, okutuusa ku lunaku luli lwe ndigunywa omuggya awamu nammwe mu bwakabaka bwa Kitange.
30 #
Zab 113—118, Luk 22:39, Yok 18:1 Bwe baamala okuyimba ne bafuluma okugenda ku lusozi olwa Zeyituuni. 31#Zek 13:7, Yok 16:32#Mak 14:27-31, Luk 22:31-34Awo Yesu n'abagamba nti Mmwe mwenna muneesittala ku lwange ekiro kino: kubanga kyawandiikibwa nti Ndikuba omusumba, n'endiga ez'omu kisibo zirisaasaanyizibwa. 32#Mat 28:7Naye bwe ndimala okuzuukizibwa, ndibakulembera okugenda e Ggaliraaya. 33Naye Peetero n'addamu n'amugamba nti Bonna bwe baneesittala ku lulwo, nze seesittale n'akatono. 34#Yok 13:38Yesu n'amugamba nti Mazima nkugamba nti Mu kiro kino, enkoko eneeba tennakookolima, ononneegaana emirundi esatu. 35#Mat 26:56Peetero n'amugamba nti Newakubadde nga kiŋŋwanira okufiira awamu naawe, siikwegaane n'akatono. N'abayigirizwa bonna ne boogera bwe batyo. 36#Mak 14:32-42, Luk 22:40-46Awo Yesu n'atuuka nabo mu kifo ekiyitibwa Gesusemane, n'agamba abayigirizwa be nti Mutuule wano, ŋŋende eri nsabe. 37#Beb 5:7N'atwala Peetero n'abaana ba Zebbedaayo bombi, n'atanula okunakuwala n'okweraliikirira ennyo. 38#Zab 42:5, Yok 12:27Awo n'abagamba nti Omwoyo gwange guliko ennaku nnyingi, zigenda kunzita: mubeere wano, mutunule nange. 39#Yok 18:11, Beb 5:8N'atambulako katono, n'avuunama, n'asaba, n'agamba nti Ai Kitange, ekikompe kino kinveeko, oba kiyinzika: naye si nga nze bwe njagala, wabula nga ggwe bw'oyagala. 40N'adda eri abayigirizwa, n'abasanga nga beebase, n'agamba Peetero nti Kazzi temuyinzizza kutunula nange n'essaawa emu? 41#Beb 2:14; 4:15Mutunule musabe, muleme okuyingira mu kukemebwa: omwoyo gwe gwagala naye omubiri gwe munafu. 42Nate n'agenda omulundi ogw'okubiri, n'asaba, ng'agamba nti Ai Kitange, oba nga kino tekiyinza kunvaako, wabula nze okukinywa, ky'oyagala kikolebwe. 43N'ajja nate n'abasanga nga beebase, kubanga amaaso gaabwe gaali gakambagga. 44#2 Kol 12:8N'abaleka nate, n'agenda, n'asaba omulundi ogw'okusatu, n'ayogera nate ebigambo bimu na biri. 45Awo n'ajja eri abayigirizwa, n'abagamba nti Mwebakire ddala kaakano, muwummule: laba, ekiseera kinaatera okutuuka, n'Omwana w'omuntu aweereddwayo mu mikono gy'abalina ebibi. 46#Yok 14:31Muyimuke tugende: laba, andyamu olukwe anaatera okutuuka.
47 #
Mak 14:43-50, Luk 22:47-53, Yok 18:3-12 Yali akyayogera, laba, Yuda, omu ku kkumi n'ababiri, n'ajja ng'alina ebibiina bingi ebirina ebitala n'emiggo, nga bava eri bakabona abakulu n'abakadde b'abantu. 48Naye oyo amulyamu olukwe yabawa akabonero, ng'agamba nti Gwe nnaanywegera, nga ye wuuyo: mumukwate. 49Amangu ago n'ajja awali Yesu, n'agamba nti Mirembe, Labbi; n'amunywegera nnyo. 50Yesu n'amugamba nti Munnange, kola ky'ojjiridde. Awo ne bajja, Yesu ne bamussaako emikono, ne bamukwata. 51Laba, omu ku abo abaali ne Yesu, n'agolola omukono, n'asowola ekitala kye, n'atema omuddu wa kabona asinga obukulu, n'amusalako okutu. 52#Lub 9:6, Kub 13:10Awo Yesu n'amugamba nti Ekitala kyo kizze mu kifo kyakyo: kubanga abo bonna abakwata ekitala balifa kitala. 53#Yo 2:11Oba olowooza nti ssiyinza kwegayirira Kitange, naye n'ampeereza kaakano bamalayika okusinga liigyoni ekkumi n'ebbiri? 54Kale binaatuukirira bitya ebyawandiikibwa nti kigwanira okuba bwe bityo? 55Mu kiseera ekyo Yesu n'agamba ebibiina nti Muli ng'abajjiridde omunyazi n'ebitala n'emiggo okunkwata? Nnatuulanga buli lunaku mu yeekaalu nga njigiriza, ne mutankwata. 56#Mat 26:31Naye kino kyonna kituuse, bannabbi bye baawandiika era bituukirizibwe. Awo abayigirizwa bonna ne bamwabulira, ne badduka.
57 #
Mak 14:53-72, Luk 22:54-71, Yok 18:12-27 Ne bali abaakwata Yesu, ne bamutwala ewa Kayaafa kabona asinga obukulu, abawandiisi n'abakadde gye baakuŋŋaanira. 58Naye Peetero n'amuvaako ennyuma wala, okutuuka mu kigango kya kabona asinga obukulu, n'ayingira munda, n'atuula n'abaweereza, alabe we binakkira. 59Naye bakabona abakulu n'ab'omu lukiiko bonna ne banoonya obujulirwa obw'obulimba ku Yesu, balyoke bamutte; 60ne batabulaba, newakubadde ng'abajulirwa ab'obulimba bangi abajja. Naye oluvannyuma ne bajja babiri, 61#Yok 2:19-21ne bagamba nti Ono yagamba nti Nnyinza okumenya yeekaalu ya Katonda, n'okugizimbira ennaku ssatu. 62Kabona asinga obukulu n'ayimirira, n'amugamba nti Toyanukula n'akatono? kigambo ki bano kye bakulumiriza? 63#Mat 27:12Naye Yesu n'asirika. Kabona asinga obukulu n'amugamba nti Nkulayiza Katonda omulamu, tubuulire oba nga ggwe Kristo, Omwana wa Katonda. 64#Zab 110:1, Mat 16:27; 24:30, Dan 7:13Yesu n'amugamba nti Oyogedde: naye mbagamba nti Okusooka leero muliraba Omwana w'omuntu ng'atudde ku mukono ogwa ddyo ogw'amaanyi, ng'ajjira ku bire eby'eggulu. 65#Mat 9:3, Yok 10:33Awo kabona asinga obukulu n'ayuza ebyambalo bye, n'agamba nti Avvodde Katonda: twagalira ki nate abajulirwa? laba, muwulidde kaakano obuvvoozi bwe: 66#Yok 19:7, Leev 24:16mulowooza mutya? Ne baddamu ne bagamba nti Agwanidde kufa. 67#Is 50:6Awo ne bamuwandira amalusu mu maaso ge, ne bamukuba ebikonde: abalala ne bamukuba empi, 68nga bagamba nti Tulagule, Kristo: ani akukubye? 69Naye Peetero yali atudde bweru mu kigango: omuwala n'ajja gy'ali, n'agamba nti Naawe wali wamu ne Yesu Omugaliraaya. 70Naye ne yeegaanira mu maaso ga bonna, ng'agamba nti Ky'ogamba sikimanyi. 71Naye bwe yafuluma okutuuka mu kisasi, omuwala omulala n'amulaba n'agamba abantu abaali awo nti N'ono yali wamu ne Yesu Omunazaaleesi. 72Ne yeegaana nate, n'alayira nti Omuntu oyo simumanyi. 73Ne wayitawo ebbanga ttono, abaali bayimiridde awo ne bajja ne bagamba Peetero nti Mazima naawe oli munnaabwe; kubanga enjogera yo ekutegeezezza. 74Awo n'atanula okukolima n'okulayira nti Omuntu oyo simumanyi. Amangu ago enkoko n'ekookolima. 75#Mat 26:34Peetero n'ajjukira ekigambo Yesu kye yagamba nti Enkoko eneeba tennaba kukookolima ononneegaanira emirundi esatu. N'afuluma ebweru, n'akaaba nnyo amaziga.
Currently Selected:
Matayo 26: LUG68
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda Bible 1968 Edition © United Bible Societies 1968, and British and Foreign Bible Society, London, England, 1954, 1967, 1972, 1994 and The Bible Society of Uganda, 2013.