YouVersion Logo
Search Icon

Matayo 20

20
1 # Mat 21:33 Kubanga obwakabaka obw'omu ggulu bufaanana omuntu alina ennyumba ye, eyakeera enkya okupakasa abalimi balime mu lusuku lwe olw'emizabbibu. 2Bwe yamala okulagaana n'abalimi eddinaali ey'olunaku olumu, n'abasindika mu lusuku lwe olw'emizabbibu. 3N'afuluma essaawa nga ziri ssatu, n'alaba abalala nga bayimiridde mu katale nga tebaliiko kye bakola; 4nabo n'abagamba nti Nammwe mugende mu lusuku olw'emizabbibu, nange nnaabaweera ekinaatuuka. Ne bagenda. 5N'afuluma nate essaawa nga ziri mukaaga, era n'omwenda, n'akola bw'atyo. 6N'afuluma essaawa nga ziri kkumi n'emu, n'asanga abalala nga bayimiridde; n'abagamba nti Kiki ekibayimiriza wano obudde okuziba nga temuliiko kye mukola? 7Ne bamugamba nti Kubanga tewali muntu eyatupakasizza. N'abagamba nti Nammwe mugende mu lusuku olw'emizabbibu. 8Obudde bwe bwawungeera, omwami w'olusuku olw'emizabbibu n'agamba omukoza we nti Bayite abalimi, obawe empeera, osookere ku b'oluvannyuma, okutuusa ku b'olubereberye. 9N'ab'omu ssaawa ekkumi n'emu bwe bajja, ne baweebwa buli muntu eddinaali emu. 10N'abo abaasooka bwe bajja, ne balowooza nti banaaweebwa okukirawo; naye nabo ne baweebwa buli muntu eddinaali emu. 11Bwe baagiweebwa, ne beemulugunyiza omwami, 12nga bagamba nti Bano ab'oluvannyuma bakoledde essaawa emu, n'obenkanya naffe, abaateganye enkya n'essana nga litwokya. 13Naye n'addamu n'agamba omu ku abo nti Munnange, sikukoze bubi: tewalagaanye nange eddinaali emu? 14Twala eyiyo, ogende; njagala okuwa ono ow'oluvannyuma nga ggwe. 15#Bar 9:16,21, Mat 6:23Siyinza kukola byange nga bwe njagala? oba eriiso lyo bbi kubanga nze ndi mulungi? 16#Mat 19:30Bwe batyo ab'oluvannyuma baliba ab'olubereberye, n'ab'olubereberye baliba ab'oluvannyuma.
17 # Mak 10:32-34, Luk 18:31-33 Yesu bwe yali ng'ayambuka okugenda e Yerusaalemi, n'atwala abayigirizwa ekkumi n'ababiri kyama, n'abagambira mu kkubo nti 18#Mat 16:21; 17:22,23Laba, twambuka tugenda e Yerusaalemi; n'Omwana w'omuntu aliweebwayo mu bakabona abakulu n'abawandiisi; nabo balimusalira omusango okumutta, 19era balimuwaayo mu b'amawanga okumuduulira, n'okumukuba, n'okumukomerera: n'alyoka azuukizibwa ku lunaku olw'okusatu. 20#Mat 10:2#Mak 10:35-45Awo nnyina w'abaana ba Zebbedaayo n'ajja gy'ali, n'abaana be, n'amusinza, n'amusaba ekigambo. 21#Mat 19:28N'amugamba nti Oyagala ki? N'amugamba nti Lagira abaana bange bano bombi batuule, omu ku mukono gwo ogwa ddyo, n'omulala ku mukono gwo ogwa kkono, mu bwakabaka bwo. 22#Mat 26:39, Yok 18:11Naye Yesu n'addamu n'agamba nti Temumanyi kye musaba. Muyinza okunywa ku kikompe nze kye ŋŋenda okunywako? Ne bamugamba nti Tuyinza. 23N'abagamba nti Ku kikompe kyange mulinywerako ddala: naye okutuula ku mukono gwange ogwa ddyo, ne ku mukono ogwa kkono, si nze nkugaba, wabula eri abo Kitange be yakuterekera. 24#Luk 22:24-26Na bali ekkumi bwe baawulira, ne banyiigira ab'oluganda ababiri. 25Naye Yesu n'abayita gy'ali, n'agamba nti Mumanyi ng'abaami b'amawanga babafuga, n'abakulu baabwe babatwala n'amaanyi. 26#Mat 23:11Tekiibenga bwe kityo mu mmwe: naye buli ayagala okuba omukulu mu mmwe anaabanga muweereza wammwe: 27#Mak 9:35na buli ayagala okuba ow'olubereberye mu mmwe anaabanga muddu wammwe: 28#Luk 22:27, Baf 2:7, 1 Tim 2:6nga Omwana w'omuntu bw'atajja kuweerezebwa, wabula okuweereza, n'okuwaayo obulamu bwe ekinunulo eky'abangi.
29 # Mak 10:46-52, Luk 18:35-43 Bwe baali nga bafuluma mu Yeriko, ekibiina ekinene ne kimugoberera. 30#Mat 15:22Laba, abazibe b'amaaso babiri abaali batudde ku mabbali g'ekkubo, bwe baawulira nti Yesu ayitawo, ne boogerera waggulu, nga bagamba nti Mukama waffe, tusaasire, omwana wa Dawudi. 31Ekibiina ne kibaboggolera, okusirika: naye bo ne beeyongera okwogerera waggulu, nga bagamba nti Mukama waffe, tusaasire, omwana wa Dawudi. 32Yesu n'ayimirira, n'abayita, n'agamba nti Mwagala mbakole ki? 33Ne bamugamba nti Mukama waffe, amaaso gaffe gazibuke. 34Yesu n'akwatibwa ekisa, n'akoma ku maaso gaabwe: amangu ago ne balaba, ne bamugoberera.

Currently Selected:

Matayo 20: LUG68

Highlight

Copy

Compare

Share

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in