Malaki 3:11-12
Malaki 3:11-12 LUG68
Era ndinenya omuli ku lwammwe, so talizikiriza bibala bya ttaka lyammwe; so n'omuzabbibu gwammwe tegulikunkumula bibala byagwo mu nnimiro entuuko nga tezinnatuuka, bw'ayogera Mukama w'eggye. Era amawanga gonna galibayita ba mukisa: kubanga muliba nsi esanyusa, bw'ayogera Mukama w'eggye.