YouVersion Logo
Search Icon

Malaki 1

1
1Omugugu ogw'ekigambo kya Mukama eri Isiraeri ekyajjira mu Malaki.
2 # Bar 9:13 Nnabaagala, bw'ayogera Mukama. Era naye mwogera nti Watwagala otya? Esawu teyali muganda wa Yakobo? bw'ayogera Mukama: era naye nnamwagala Yakobo; 3#Yer 49:18, Ez 35:3, Yo 3:19naye Esawu nnamukyawa, ne nfuula ensozi ze okuba amatongo, ne mpa obusika bwe ebibe eby'omu ddungu. 4Kubanga Edomu ayogera nti Tukubiddwa wansi, naye tulidda ne tuzimba ebifo ebyazika; bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye nti Bo balizimba, naye nze ndyabya: era abantu banaabayitanga nti Nsalo ya bubi, era nti Bantu Mukama b'anyiigira ennaku zonna. 5Era amaaso gammwe galiraba, ne mwogera nti Mukama agulumizibwe okusukka ensalo ya Isiraeri.
6 # Kuv 4:22; 20:12, Kos 11:1, Luk 6:46 Omwana assaamu ekitiibwa kitaawe, n'omuddu mukama we: kale oba nga ndi kitammwe, ekitiibwa kyange kiri ludda wa? era oba nga ndi mukama wammwe, okutiibwa kwange kuli ludda wa? Mukama w'eggye bw'agamba mmwe, Ai bakabona abanyooma erinnya lyange, Era mwogera nti Twali tunyoomye tutya erinnya lyo? 7Muweerayo ku kyoto kyange omugaati ogwonoonese. Era mwogera nti Twakwonoona tutya? Kubanga mwogera nti Emmeeza ya Mukama teriimu ka buntu. 8#Leev 22:22Era bwe muwaayo enzibe y'amaaso okuba ssaddaaka, nga si bubi! era bwe muwaayo ewenyera n'endwadde, nga si bubi! Kale nno gitonere oyo akutwala; anaakusanyukira? oba anakkiriza amaaso go? bw'ayogera Mukama w'eggye. 9#Ma 10:17Kale nno mbeegayiridde musabe ekisa kya Katonda, atukwatirwe ekisa: ebyo byabaawo ku bwammwe: waliwo ku mmwe gw'anakkirizaako amaaso ge? bw'ayogera Mukama w'eggye. 10#Is 1:11,13, Yer 6:20, Am 5:21Mu mmwe singa mubaddemu n'omu eyandiggaddewo enzigi, muleme okukuma omuliro ku kyoto kyange obwereere! Sibasanyukira n'akatono, bw'ayogera Mukama w'eggye, so sikkirize kiweebwayo eri omukono gwammwe. 11#Is 56:7; 60:3; 65:1Kubanga okuva enjuba gy'eva okutuusa gy'egwa erinnya lyange kkulu mu b'amawanga; era obubaane buweerwayo mu buli kifo eri erinnya lyange, n'ekiweebwayo ekirongoofu: kubanga erinnya lyange kkulu mu b'amawanga, bw'ayogera Mukama w'eggye. 12Naye mmwe mulivumisa kubanga mwogera nti Emmeeza ya Mukama eyonoonese, n'ebibala byayo, ye mmere ye, teriimu ka buntu. 13#Leev 22:20, Is 43:22, Mi 6:3, Mal 3:14Era mwogera nti Laba, omulimu guno nga guyinze! era mugisoozezza, bw'ayogera Mukama w'eggye; era muleese ekyo ekyanyagibwa olw'amaanyi, n'ekiwenyera, n'ekirwadde; bwe mutyo bwe muleeta ekiweebwayo: nnandikkirizza ekyo mu mukono gwammwe? bw'ayogera Mukama. 14#Kuv 12:5, Leev 22:21, Zab 47:2; 76:12Naye oyo alimba akolimirwe, alina ennume mu kisibo kye, ne yeeyama n'awaayo ssaddaaka eri Mukama ekintu ekiriko obulema: kubanga nze ndi kabaka mukulu, bw'ayogera Mukama w'eggye, n'erinnya lyange lya ntiisa mu b'amawanga.

Currently Selected:

Malaki 1: LUG68

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in

YouVersion uses cookies to personalize your experience. By using our website, you accept our use of cookies as described in our Privacy Policy