Lukka 4
4
1 #
Mat 4:1-11, Mak 1:12,13 Awo Yesu bwe yajjula Omwoyo Omutukuvu n'akomawo ng'ava ku Yoludaani, Omwoyo n'amutwala mu ddungu, 2n'amalayo ennaku amakumi ana, ng'akemebwa Setaani. So teyalyanga kintu mu nnaku ezo; awo bwe zaggwa, enjala n'emuluma. 3Setaani n'amugamba nti Oba oli Mwana wa Katonda, gamba ejjinja lino lifuuke emmere. 4Yesu n'amuddamu nti Kyawandiikibwa nti Omuntu tabanga mulamu na mmere yokka. 5#Ma 8:3N'amulinnyisa, n'amulaga obwakabaka bwonna obw'omu nsi mu kaseera katono. 6Setaani n'amugamba nti Nnaakuwa ggwe obuyinza buno bwonna, n'ekitiibwa kyamu; kubanga nnaweebwa nze: era ngabira buli gwe njagala. 7Kale bw'onoosinza mu maaso gange, buno bwonna bunaaba bubwo. 8#Ma 6:13,14Yesu n'addamu n'amugamba nti Kyawandiikibwa nti Osinzanga Mukama Katonda wo, gw'oweerezanga yekka. 9N'amutwala e Yerusaalemi, n'amuteeka ku kitikkiro kya yeekaalu, n'amugamba nti Oba oli Mwana wa Katonda, yima wano, weesuule wansi; 10kubanga kyawandiikibwa nti
Alikulagiririza bamalayika be bakukuumire ddala;
11Era nti
Balikuwanirira mu mikono gyabwe,
Oleme okwesittala ekigere kyo ku jjinja.
12 #
Mat 6:16
Yesu n'addamu n'amugamba nti Kyayogerwa nti Tokemanga Mukama Katonda wo. 13#Beb 4:15Setaani bwe yamala buli kikemo n'amulekako ekiseera.
14 #
Mat 4:12-17, Mak 1:14,15 Awo Yesu n'akomawo e Ggaliraaya mu maanyi ag'Omwoyo: ettutumu lye ne ligenda nga libuna mu nsi zonna eziriraanyeewo. 15N'ayigirizanga mu makuŋŋaaniro gaabwe bonna nga bamutendereza.
16 #
Mat 13:53-58, Mak 6:1-6 N'ajja e Nazaaleesi gye yakulira; ku lunaku olwa ssabbiiti n'ayingira mu kkuŋŋaaniro nga bwe yali empisa ye, n'ayimirira okusoma. 17#Is 61:1,2; 58:6Ne bamuwa ekitabo kya nnabbi Isaaya, n'abikkula ekitabo, n'alaba ekitundu awaawandiikibwa nti
18Omwoyo gwa Mukama guli ku nze,
Kubanga yanfukako amafuta okubuulira abaavu ebigambo ebirungi:
Antumye okutendera abanyage okuteebwa,
N'okuzibula abazibe b'amaaso,
Okubata ababetentebwa,
19 #
Leev 25:10
Okutendera omwaka gwa Mukama ogwakkirizibwa.
20N'abikkako ekitabo, n'akiddiza omuweereza n'atuula; abantu bonna abaali mu kkuŋŋaaniro ne bamusimbako amaaso. 21N'atanula okubagamba nti Leero ebyawandiikibwa bino bituukiridde mu matu gammwe. 22#Yok 6:42Bonna ne bamutegereza, ne beewuunya olw'ebigambo eby'ekisa ebivudde mu kamwa ke: ne bagamba nti Ono si ye Mwana wa Yusufu? 23#Mat 4:13N'abagamba nti Temulirema kuŋŋamba lugero luno nti Omusawo, weewonye wekka: byonna bye twawulira nga bikolerwa e Kaperunawumu, bikolere na wano mu kyalo kyannyo. 24#Yok 4:44N'agamba nti Mazima mbagamba nti Tewali nnabbi akkirizibwa mu kyalo kyabo. 25#1 Bassek 17:1,9; 18:1, Yak 5:17Naye mazima mbagamba nti Waaliwo bannamwandu bangi mu Isiraeri mu biro bya Eriya, eggulu lwe lyaggalirwa emyaka esatu mu emyezi mukaaga, enjala nnyingi bwe yagwa ku nsi yonna; 26Eriya teyatumibwa eri omu ku bo wabula e Zalefasi, mu nsi ya Sidoni, eri omukazi nnamwandu. 27#2 Bassek 5:14Era waaliwo abantu bangi abagenge mu Isiraeri mu biro bya Erisa nnabbi; tewali n'omu ku bo eyalongoosebwa, wabula Naamani yekka Omusuuli. 28Ne bajjula obusungu bonna abaali mu kkuŋŋaaniro bwe baawulira ebigambo ebyo; 29ne bayimuka, ne bamusindikira ebweru w'ekibuga ne bamutwala ku bbanga ly'olusozi lwe baakubako ekibuga kyabwe, bamusuule wansi. 30Naye n'abayitamu wakati n'agenda.
31 #
Mat 4:13, Yok 2:12 #
Mak 1:21-28
N'aserengeta e Kaperunawumu, ekibuga eky'e Ggaliraaya: n'abayigirizanga ku lunaku olwa ssabbiiti: 32#Mat 7:28,29, Yok 7:46ne bawuniikirira olw'okuyigiriza kwe, kubanga ekigambo kye kyalina obuyinza. 33Awo mu kkuŋŋaaniro mwalimu omuntu eyaliko dayimooni; n'akaaba n'eddoboozi ddene 34nti Woowe, Otuvunaana ki ggwe, Yesu Omunazaaleesi? Ozze kutuzikiriza? Nkumanyi ggwe bw'oli, Omutukuvu wa Katonda. 35Yesu n'amuboggolera ng'agamba nti Sirika, muveeko. Dayimooni bwe yamusuula wakati n'amuvaako nga tamukoze kabi. 36Okuwuniikirira ne kubakwata bonna ne beebuuzaganya bokka na bokka nga bagamba nti Kigambo ki kino? kubanga alagira n'obuyinza n'amaanyi badayimooni ne bavaako. 37Ettutumu lye ne lyatiikirira mu buli kifo eky'ensi eriraanyeewo.
38 #
Mat 8:14-17, Mak 1:29-39 N'ayimuka n'ava mu kkuŋŋaaniro n'ayingira mu nnyumba ya Simooni. Awo nnyina mukazi wa Simooni yali ng'akwatiddwa omusujja mungi, ne bamwegayirira ku lulwe. 39N'ayimirira w'ali, n'aboggolera omusujja; ne gumuwonako: amangu ago n'agolokoka n'abaweereza.
40Awo enjuba bwe yali ng'egwa, bonna abaalina abalwadde ab'endwadde ezitali zimu ne babamuleetera, buli omu ku abo n'amussaako emikono gye, n'abawonya. 41#Mat 8:29, Mak 3:11,12Ne badayimooni ne babavaako bangi, ne bakaaba nga bagamba nti Ggwe oli Mwana wa Katonda. N'ababoggolera, n'atabaganya kwogera, kubanga baamanya nga ye Kristo.
42Awo obudde bwe bwakya, n'avaayo n'agenda mu kifo etali bantu: ebibiina ne bimunoonya ne bajja w'ali, ne baagala okumugaana aleme okubavaako. 43#Luk 8:1Naye n'abagamba nti Kiŋŋwanidde okubuulira enjiri ey'obwakabaka bwa Katonda ne mu bibuga ebirala; kubanga kye kyantumya.
44 #
Mat 4:23
Awo n'abuuliranga mu makuŋŋaaniro g'e Ggaliraaya.
Currently Selected:
Lukka 4: LUG68
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda Bible 1968 Edition © United Bible Societies 1968, and British and Foreign Bible Society, London, England, 1954, 1967, 1972, 1994 and The Bible Society of Uganda, 2013.