Lukka 4:9-12
Lukka 4:9-12 LUG68
N'amutwala e Yerusaalemi, n'amuteeka ku kitikkiro kya yeekaalu, n'amugamba nti Oba oli Mwana wa Katonda, yima wano, weesuule wansi; kubanga kyawandiikibwa nti Alikulagiririza bamalayika be bakukuumire ddala; Era nti Balikuwanirira mu mikono gyabwe, Oleme okwesittala ekigere kyo ku jjinja. Yesu n'addamu n'amugamba nti Kyayogerwa nti Tokemanga Mukama Katonda wo.





