Eby'Abaleevi 21
21
1 #
Ez 44:25
Mukama n'agamba Musa nti Yogera ne bakabona batabani ba Alooni, obagambe nti Tewabangawo muntu eyeeyonoona olw'abo abaafa ku bantu be; 2wabula olwa baganda be, abamuli okumpi mu luganda, nnyina ne kitaawe ne mutabani we ne muwala we ne muganda we; 3n'olwa mwannyina atamanyanga musajja, amuli okumpi mu luganda, atalina bba, olw'oyo ayinza okweyonoona. 4Tayonoonanga, bw'aba omukulu mu bantu be, okwevumisa. 5#Leev 19:27,28, Ma 14:1, Ez 44:20Tebamwanga kiwalaata ku mutwe gwabwe, so tebamwanga nsonda za kirevu kyabwe, so tebeesalanga n'akatono ku mubiri gwabwe. 6#Leev 3:11; 18:21; 19:12Banaabanga batukuvu eri Katonda waabwe, so tebavumisanga linnya lya Katonda waabwe: kubanga bawaayo ebiweebwayo ebya Mukama ebikolebwa n'omuliro, gwe mugaati gwa Katonda waabwe: kyebanaavanga babeera abatukuvu. 7#Leev 21:14, Ez 44:22Tebawasanga mukazi mwenzi, oba aliko empitambi; so tebawasanga mukazi eyagobebwa bba: kubanga mutukuvu eri Katonda we. 8#Leev 20:7,8; 22:9,16Kyonoovanga omutukuza; kubanga awaayo omugaati gwa Katonda wo: anaabanga mutukuvu gy'oli: kubanga nze Mukama abatukuza ndi mutukuvu. 9#Lub 38:24Era muwala wa kabona yenna, bw'aneevumisanga nga yeefuula omwenzi, ng'avumisa kitaawe: anaayokebwanga omuliro.
10 #
Kuv 29:29, Leev 10:6; 16:32, Kubal 35:25 N'oyo anaabanga kabona asinga obukulu mu baganda be, afukibwako ku mutwe amafuta agafukibwako, era ayawulibwa okwambala ebyambalo ebyo, tasumululanga nviiri za ku mutwe gwe, so tayuzanga ngoye ze; 11#Leev 21:1,2, Kubal 19:14so tayingiranga eri omulambo gwonna, so teyeeyonoonanga olwa kitaawe, newakubadde olwa nnyina; 12#Leev 8:12,30; 10:7so tafulumanga mu watukuvu, so tavumisanga watukuvu wa Katonda we; kubanga engule ey'amafuta agafukibwako aga Katonda wegali ku ye: nze Mukama. 13#Ez 44:22Era anaawasanga omukazi nga tannamanya musajja. 14Nnamwandu oba eyagobebwa oba aliko empitambi, omwenzi, abo tabawasanga: naye omuwala atamanyanga musajja ow'oku bantu be gw'anaawasanga. 15So tavumisanga zzadde lye mu bantu be: kubanga nze ndi Mukama amutukuza. 16#Leev 21:8Mukama n'agamba Musa 17#Leev 10:3, Kubal 16:5nti Gamba Alooni nti Buli muntu yenna ow'oku zzadde lyo mu mirembe gyabwe gyonna anaabangako obulema, tasemberanga okuwaayo omugaati gwa Katonda we. 18#Leev 22:22-24, Ma 23:1Kubanga buli muntu yenna anaabangako obulema tasemberanga: omuzibe w'amaaso oba awenyera oba eyayonooneka ennyindo, oba aliko ekintu kyonna ekisukkirira, 19oba eyamenyeka okugulu, oba eyamenyeka omukono, 20oba alina ebbango, oba mututuuli, oba aliko obulema ku liiso lye, oba alina obuwere, oba mubootongo, oba eyayatika enjagi; 21tewabangawo muntu wa ku zzadde lya Alooni kabona, aliko obulema, anaasemberanga okuwaayo ebiweebwayo ebya Mukama ebikolebwa n'omuliro: ng'aliko obulema; tasemberanga okuwaayo omugaati gwa Katonda we. 22#Leev 14:13; 24:9, Kubal 18:9,19Anaalyanga ku mugaati gwa Katonda we, ku mugaati omutukuvu ennyo, era ne ku mutukuvu. 23Kyokka tayingiranga awali eggigi, so tasembereranga kyoto, kubanga aliko obulema; alemenga okuvumisa awatukuvu wange: kubanga nze ndi Mukama atukuzaawo. 24Awo Musa n'agamba Alooni bw'atyo ne batabani be n'abaana bonna aba Isiraeri.
Currently Selected:
Eby'Abaleevi 21: LUG68
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda Bible 1968 Edition © United Bible Societies 1968, and British and Foreign Bible Society, London, England, 1954, 1967, 1972, 1994 and The Bible Society of Uganda, 2013.