Eby'Abaleevi 17
17
1Mukama n'agamba Musa nti 2Yogera ne Alooni ne batabani be n'abaana ba Isiraeri bonna, obagambe nti Ekigambo kino Mukama ky'alagidde, ng'ayogera nti 3Bwe wabangawo omuntu yenna ow'omu nnyumba ya Isiraeri, anattiranga ente, oba omwana gw'endiga, oba embuzi, mu lusiisira, oba anaagittiranga ebweru w'olusiisira, 4#Ma 12:5n'atagiretta ku mulyango gw'eweema ey'okusisinkanirangamu, okugiwaayo okuba ekitone eri Mukama mu maaso g'ennyumba ya Mukama: omusaayi gunaamubalirwanga omuntu oyo; ng'ayiye omusaayi; era omuntu oyo anaazikirizibwanga mu bantu be: 5#Leev 3:2, Ez 20:28abaana ba Isiraeri balyoke baleetenga ssaddaaka zaabwe, ze baweerayo mu ttale mu bbanga bazireetenga eri Mukama, ku mulyango gw'eweema ey'okusisinkanirangamu, eri kabona, ne baziwaayo okuba ssaddaaka ez'ebiweebwayo olw'emirembe eri Mukama. 6#Kuv 29:18Awo kabona anaamansiranga omusaayi ku kyoto kya Mukama ku mulyango gw'eweema ey'okusisinkanirangamu, n'ayokya amasavu okuba evvumbe eddungi eri Mukama. 7#Ma 31:6So tebakyawangayo ssaddaaka zaabwe eri embuzi ennume, ze bagoberera okwenda nazo. Eryo linaabanga tteeka gye bali ennaku zonna mu mirembe gyabwe gyonna.
8Era onoobagamba nti Bwe wanaabangawo omuntu yenna ow'omu nnyumba ya Isiraeri oba ku bagenyi abanaatuulanga mu bo, anaawangayo ekiweebwayo ekyokebwa oba ssaddaaka, 9n'atakireeta ku mulyango gw'eweema ey'okusisinkanirangamu, okukiwaayo eri Mukama; omuntu oyo anaazikirizibwanga mu bantu be.
10 #
Leev 3:17; 20:3,6, 1 Sam 14:33, Yer 44:11, Ez 14:8 Era bwe wanaabangawo omuntu yenna ow'omu nnyumba ya Isiraeri, oba ku bagenyi abanaatuulanga mu bo, anaalyanga ku musaayi gwonna gwonna; n'ateekanga amaaso gange okwolekera omuntu oyo alya ku musaayi, ne mmuzikiriza mu bantu be. 11#Bar 5:9, Bef 1:7, Bak 1:20, Beb 9:22; 13:12, 1 Yok 1:7, Kub 1:5Kubanga obulamu bw'ennyama buba mu musaayi: era ngubawadde ku kyoto okutangiriranga obulamu bwammwe: kubanga omusaayi gwe gutangirira olw'obulamu. 12Kyennava ŋŋamba abaana ba Isiraeri nti Tewabanga ku mmwe muntu anaalyanga ku musaayi, so n'omugenyi yenna anaatuulanga mu mmwe talyanga ku musaayi.
13 #
Ma 12:16, Ez 24:7 Era bwe wanaabangawo omuntu yenna ku baana ba Isiraeri, oba ku bagenyi abanaatuulanga mu bo, anaakwatanga ensolo yonna oba nnyonyi yonna eriika ng'ayigga; anaayiwanga omusaayi gwayo, n'agubikkako n'enfuufu. 14#Lub 9:4Kubanga obulamu bw'ennyama yonna, omusaayi gwayo guba gumu n'obulamu bwayo: kyennava ŋŋamba ba Isiraeri nti Temulyanga ku musaayi gwa nnyama yonna yonna: kubanga obulamu bw'ennyama yonna gwe musaayi gwayo: buli anaagulyangako anaazikirizibwanga. 15#Leev 15:5; 22:8; 24:22, Ma 14:21Era buli muntu anaalyanga ku eyo efa yokka, oba etaaguddwa ensolo, oba nzaalwa oba mugenyi, anaayozanga ebyambalo bye, n'anaaba mu mazzi, n'aba atali mulongoofu okutuusa akawungeezi: n'alyoka aba mulongoofu. 16#Kubal 19:20Naye bw'ataabyozenga, n'atanaaba mubiri gwe, kale anaabangako obutali butuukirivu bwe.
Currently Selected:
Eby'Abaleevi 17: LUG68
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda Bible 1968 Edition © United Bible Societies 1968, and British and Foreign Bible Society, London, England, 1954, 1967, 1972, 1994 and The Bible Society of Uganda, 2013.