Eby'Abaleevi 14
14
1Mukama n'agamba Musa nti 2#Mat 8:2,4, Luk 17:14Lino lye linaabanga etteeka ly'omugenge ku lunaku olw'okulongoosebwa kwe: anaaleetebwanga eri kabona: 3awo kabona anaafulumanga mu lusiisira; kabona n'akebera, kale, laba, endwadde y'ebigenge bw'eneebanga ewonye ku mugenge; 4#Kuv 12:22, Kubal 19:6, Beb 9:19kale kabona anaalagiranga okutwalira oyo agenda okulongoosebwa ennyonyi bbiri ennongoofu ennamu, n'omuti omwerezi, n'olugoye olumyufu, n'ezobu: 5awo kabona anaalagiranga okuttako emu ku nnyonyi mu kintu ky'ebbumba ku mazzi agakulukuta: 6n'ennyonyi ennamu anaagiddiranga n'omuti omwerezi n'olugoye olumyufu n'ezobu, n'annyika ebyo n'ennyonyi ennamu mu musaayi gw'ennyonyi ettiddwa ku mazzi agakulukuta: 7#Leev 16:22, 2 Bassek 5:10,14, Beb 9:13awo anaamansiranga ku oyo agenda okulongoosebwako ebigenge emirundi musanvu, n'amwatulira nga mulongoofu, n'ateera ennyonyi ennamu mu ttale mu bbanga. 8#Leev 11:25; 13:6 N'oyo agenda okulongoosebwa anaayozanga engoye ze, n'amwa enviiri ze zonna, n'anaaba mu mazzi, kale anaabanga mulongoofu: oluvannyuma n'alyoka ayingira mu lusiisira, naye anaamalanga ennaku musanvu ng'ali bweru w'eweema ye. 9Awo olunaatuukanga ku lunaku olw'omusanvu, anaamwanga enviiri ze zonna okuziggya ku mutwe gwe n'ebirevu bye n'ebisige bye, enviiri ze zonna anaazimwanga: era anaayozanga engoye ze, n'anaaba omubiri gwe mu mazzi, kale anaabanga mulongoofu. 10#Kubal 15:4, Mat 8:4Awo ku lunaku olw'omunaana anaddiranga abaana b'endiga abalume babiri abataliiko bulema, n'omwana gw'endiga omuluusi ogumu ogwakamaze omwaka ogumu ogutaliiko bulema n'ebitundu bisatu eby'ekkumi eby'obutta obulungi okuba ekiweebwayo eky'obutta, obutabuddwamu amafuta, n'ekibya kimu eky'amafuta. 11Ne kabona amulongoosa anaateekanga omuntu agenda okulongoosebwa n'ebintu ebyo mu maaso ga Mukama, ku mulyango gw'eweema ey'okusisinkanirangamu: 12#Kuv 29:24, Leev 5:18; 6:6,7awo kabona anaddirangako gumu ku baana b'endiga omulume, n'aguwaayo okuba ekiweebwayo olw'omusango, n'ekibya eky'amafuta, n'abiwuuba okuba ekiweebwayo ekiwuubibwa mu maaso ga Mukama: 13#Leev 1:11; 4:24; 7:6,7awo anattiranga omwana gw'endiga omulume mu kifo mwe battira ekiweebwayo olw'ekibi n'ekiweebwayo ekyokebwa, mu kifo ekiri mu kifo ekitukuvu: kubanga ekiweebwayo olw'ekibi nga bwe kiri ekya kabona, ekiweebwayo olw'omusango bwe kiri bwe kiti: ekyo kitukuvu nnyo; 14#Kuv 29:20, Leev 8:23kale kabona anaddiranga ku musaayi gw'ekiweebwayo olw'omusango, kabona n'aguteeka ku nsonda y'okutu okwa ddyo okw'oyo agenda okulongoosebwa, ne ku kinkumu eky'oku mukono gwe ogwa ddyo, ne ku kisajja eky'okukigere kye ekya ddyo: 15kale kabona anaddiranga ku kibya ky'amafuta, n'agafuka mu kibatu eky'omukono gwe ye ogwa kkono: 16awo kabona anannyikanga olunwe lwe olwa ddyo mu mafuta agali mu mukono gwe ogwa kkono, n'amansira ku mafuta n'olunwe lwe emirundi musanvu mu maaso ga Mukama: 17ne ku mafuta agasigalawo agali mu mukono gwe kabona anaagateekanga ku nsonda y'okutu okwa ddyo okw'oyo agenda okulongoosebwa, ne ku kinkumu eky'oku mukono gwe ogwa ddyo, ne ku kisajja eky'okukigere kye ekya ddyo, ku musaayi gw'ekiweebwayo olw'omusango: 18#Leev 4:26; 14:10n'amafuta agasigalawo agali mu mukono gwa kabona anaagateekanga ku mutwe gw'oyo agenda okulongoosebwa: era kabona anaamutangiriranga mu maaso ga Mukama. 19Era kabona anaawangayo ekiweebwayo olw'ekibi, n'atangirira oyo agenda okulongoosebwa olw'obutali bulongoofu bwe: oluvannyuma n'alyoka atta ekiweebwayo ekyokebwa: 20era kabona anaawangayo ekiweebwayo ekyokebwa n'ekiweebwayo eky'obutta ku kyoto: era kabona anaamutangiriranga, kale anaabanga mulongoofu.
21 #
Leev 5:7; 14:12 Era bw'anaabanga omwavu n'atayinza kufuna ebyenkana awo, kale anaddiranga omwana gw'endiga ogumu omulume okuba ekiweebwayo olw'omusango okuwuubibwa, okumutangirira, n'ekitundu kimu eky'ekkumi eky'obutta obulungi obutabuddwamu amafuta okuba ekiweebwayo eky'obutta, n'ekibya ky'amafuta; 22#Leev 15:14-15; 12:8ne bakaamukuukulu babiri oba amayiba amato abiri, nga bw'anaayinzanga okufuna; erimu linaabanga ekiweebwayo olw'ekibi n'eddala ekiweebwayo ekyokebwa. 23#Leev 14:10-12Ne ku lunaku olw'omunaana anaagaleeteranga kabona olw'okulongoosebwa kwe, ku mulyango gw'eweema ey'okusisinkanirangamu, mu maaso ga Mukama. 24Awo kabona anaddiranga omwana gw'endiga ogw'ekiweebwayo olw'omusango, n'ekibya ky'amafuta, kabona n'abiwuuba mu maaso ga Mukama okuba ekiweebwayo ekiwuubibwa: 25#Leev 14:14-18n'atta omwana gw'endiga ogw'ekiweebwayo olw'omusango, kabona n'atoola ku musaayi ogw'ekiweebwayo olw'omusango, n'aguteeka ku nsonda y'okutu okwa ddyo okw'oyo agenda okulongoosebwa, ne ku kinkumu eky'omukono gwe ogwa ddyo, ne ku kisajja eky'oku kigere kye ekya ddyo: 26awo kabona anaafukanga ku mafuta mu kibatu ky'omukono gwe ye ogwa kkono: 27kabona n'amansira n'olunwe lwe olwa ddyo ku mafuta agali mu mukono gwe ogwa kkono emirundi musanvu mu maaso ga Mukama: 28kabona n'atoola ku mafuta agali mu mukono gwe n'agateeka ku nsonda y'okutu okwa ddyo okw'oyo agenda okulongoosebwa, ne ku kinkumu eky'omukono gwe ogwa ddyo, ne ku kisajja eky'oku kigere kye ekya ddyo, mu kifo eky'omusaayi ogw'ekiweebwayo olw'omusango: 29n'amafuta agasigalawo agali mu mukono gwa kabona anaagateekanga ku mutwe gw'oyo agenda okulongoosebwa, okumutangirira mu maaso ga Mukama. 30#Leev 14:22Era anaawangayo ku bakaamukuukulu omu, oba ku mayiba amato limu, nga bw'anaayinzanga okufuna; 31nga bw'anaayinzanga okufuna, erimu lya kiweebwayo olw'ekibi, n'eddala lya kiweebwayo ekyokebwa, awamu n'ekiweebwayo eky'obutta: era kabona anaatangiriranga oyo agenda okulongoosebwa mu maaso ga Mukama. 32Eryo lye tteeka ly'oyo aliko endwadde y'ebigenge, atayinza kufuna bya kulongoosebwa kwe.
33Era Mukama n'agamba Musa ne Alooni nti 34#Lub 17:8, Ma 32:49Bwe muliba nga mutuuse mu nsi ya Kanani, gye mbawa okuba obutaka, bwe nnaateekanga endwadde y'ebigenge mu nnyumba ey'omu nsi ey'obutaka bwammwe; 35awo nannyini nnyumba anajjanga n'abuulira kabona nti Ennyumba efaanana gye ndi okubaamu endwadde: 36kale kabona anaalagiranga okumalamu ebintu mu nnyumba, kabona nga tannaba kuyingira kulaba ndwadde, byonna ebiri mu nnyumba bireme okufuuka ebitali birongoofu: oluvannyuma kabona n'alyoka ayingira okulaba ennyumba: 37kale anaakeberanga endwadde, era, laba, endwadde bw'eneebanga ku bisenge by'ennyumba nga byewummuddewummudde enguudo oba nga za nnawandagala oba mmyufumyufu, n'ekifaananyi kyayo nga kifulumye munda w'ekisenge; 38awo kabona anaafulumanga mu nnyumba n'agenda ku mulyango gw'ennyumba, n'aggalira ennyumba ennaku musanvu: 39kale kabona anaakomangawo ku lunaku olw'omusanvu, n'akebera: era, laba, endwadde bw'eneebanga ebunye ku bisenge by'ennyumba; 40kale kabona anaalagiranga okuggyamu amayinja agaliko endwadde, n'okugasuula mu kifo ekitali kirongoofu ebweru w'ekibuga: 41era anaalagiranga ennyumba okugikolokota munda enjuyi zonna, era banaafukanga ennoni gye bakolokota ebweru w'ekibuga mu kifo ekitali kirongoofu; 42ne baddira amayinja amalala, ne bagateeka mu kifo ky'amayinja ago; n'addira ennoni endala, n'agisiiga ku nnyumba. 43Awo endwadde bw'eneekomangawo n'efuutuuka ku nnyumba, ng'amaze okuggyamu amayinja, era ng'amaze okukolokota ennyumba, era ng'emaze okusiigibwako; 44#Leev 13:51kale kabona anaayingiranga n'akebera, era, laba endwadde bw'eneebanga ebunye ku nnyumba, ebyo nga bye bigenge ebirya mu nnyumba: nga si nnongoofu. 45Awo anaayabyanga ennyumba, amayinja gaayo, n'emiti gyayo, n'ennoni yonna ey'ennyumba; era anaabisitulanga n'abiggya mu kibuga n'abitwala mu kifo ekitali kirongoofu. 46Era nate buli anaayingiranga mu nnyumba ekiseera kyonna ng'ekyali nzigale anaabanga atali mulongoofu okutuusa akawungeezi. 47Era buli anaasulanga mu nnyumba eyo anaayozanga engoye ze; n'oyo anaaliiranga mu nnyumba eyo anaayozanga engoye ze. 48Era kabona bw'anaayingiranga, n'akebera, era, laba, endwadde nga tebunye ku nnyumba, ennyumba ng'emaze okusiigibwako; kale kabona anaayatuliranga ennyumba nga nnongoofu, kubanga endwadde ng'ewonye. 49#Leev 14:4-6Awo anaddiranga olw'okulongoosa ennyumba ennyonyi bbiri, n'omuti omwerezi, n'olugoye olumyufu, n'ezobu: 50n'attako emu ku nnyonyi mu kintu ky'ebbumba ku mazzi agakulukuta: 51n'addira omuti omwerezi n'ezobu n'olugoye olumyufu n'ennyonyi ennamu, n'abinnyika mu musaayi gw'ennyonyi ettidwa, ne mu mazzi ago agakulukuta, n'amansira ku nnyumba emirundi musanvu: 52era anaalongoosanga ennyumba n'omusaayi gw'ennyonyi, n'amazzi ago agakulukuta, n'ennyonyi ennamu, n'omuti omwerezi, n'ezobu, n'olugoye olumyufu: 53#Leev 14:7,19,20naye anaateeranga ennyonyi ennamu mu ttale mu bbanga okuva mu kibuga: bw'atyo bw'anaatangiriranga ennyumba: awo eneebanga nnongoofu.
54 #
Leev 13:30
Eryo lye tteeka ly'engeri yonna ey'endwadde y'ebigenge, era ery'ekikakampa; 55#Leev 13:47; 14:34era ery'ebigenge eby'okukyambalo, era ery'ennyumba; 56#Leev 13:2era ery'ekizimba, era ery'ekikuta, era ery'embalabe erungudde: 57#Leev 10:10,11, Ma 24:8okuyigirizanga bwe kinaabanga ekitali kirongoofu, era bwe kinaabanga ekirongoofu: eryo lye tteeka ly'ebigenge.
Currently Selected:
Eby'Abaleevi 14: LUG68
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda Bible 1968 Edition © United Bible Societies 1968, and British and Foreign Bible Society, London, England, 1954, 1967, 1972, 1994 and The Bible Society of Uganda, 2013.